Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekika ky’Emmere Ekippya

Ekika ky’Emmere Ekippya

OLUGERO 34

Ekika ky’Emmere Ekippya

OSOBOLA okutegeera abantu kye balonda okuva ku ttaka? Kifaanana ng’omuzira. Buntu bweru, butonotono, era bufaanana ng’omuzira. Naye si muzira; bya kulya.

Waakayitawo omwezi nga gumu gwokka kasookedde Abaisiraeri bava mu Misiri. Bali mu ddungu. Emmere ntono nnyo ekulayo, era abantu beemulugunya, nga bagamba: ‘Singa Yakuwa yatuttira mu Misiri. Kuba eyo twalyanga emmere yonna gye twayagalanga.’

N’olwekyo Yakuwa agamba: ‘Ŋŋenda okutonnyesa emmere okuva mu ggulu.’ Era ekyo Yakuwa ky’akola. Enkeera Abaisiraeri bwe balaba obuntu buno obweru, buli omu abuuza munne: ‘Kino kiki?’

Musa agamba: ‘Eno ye mmere Yakuwa gy’abawadde okulya.’ Abantu bagiyita MMAANU. Ewoomerera nga bukeeki obutono obuteekeddwamu omubisi gw’enjuki.

‘Munaakuŋŋaanyanga buli muntu gy’asobola okulya,’ bw’atyo Musa bw’abagamba. N’olwekyo buli nkya ekyo kye bakola. Awo, akasana bwe kaaka, mmaanu esigaddewo ku ttaka esaanuuka.

Era Musa agamba: ‘Tewabaawo atereka mmaanu okutuusa olunaku oluddako’ Naye abantu abamu tebawuliriza. Omanyi kiki ekibaawo? Enkeera mmaanu gye baba baterese eba ejjudde envunyu, era etandika okuwunya!

Kyokka, waliwo olunaku lumu mu wiiki Yakuwa lw’alagira abantu okukuŋŋaanya mmaanu ekubisaamu emirundi ebiri. Luno lwe lunaku olw’omukaaga. Era Yakuwa abalagira okufissaawo gye banaalya olunaku oluddako, kubanga tajja kutonyesayo mmaanu yonna ku lunaku olw’omusanvu. Bwe bafissaawo mmaanu okutuusa enkeera ku lunaku olw’omusanvu, tejjula nvunyu era tewunya! Kino kyamagero ekirala!

Emyaka gyonna Abaisiraeri gye babeera mu ddungu Yakuwa abaliisa mmaanu.

Okuva 16:1-36; Okubala 11:7-9; Yoswa 5:10-12.

Ebibuuzo