Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enjuba Esigala mu Kifo

Enjuba Esigala mu Kifo

OLUGERO 49

Enjuba Esigala mu Kifo

TUNUULIRA Yoswa. Agamba: ‘Enjuba, sigala w’oli!’ Era enjuba esigala mu kifo kimu. Esigala wakati mu bbanga olunaku lwonna. Yakuwa y’akikola! Naye ka tulabe lwaki Yoswa ayagala enjuba esigale ng’eyaka.

Bakabaka abataano ababi ab’omu nsi y’e Kanani bwe batandika okulwanyisa Abagibyoni, Abagibyoni batuma omusajja okusaba Yoswa obuyambi. ‘Mujje mangu gye tuli!’ bw’atyo bw’agamba. ‘Mutuyambe! Bakabaka bonna ab’omu nsozi bazze okulwanyisa abaddu bo.’

Amangu ago Yoswa n’abasajja be abalwanyi bagenda. Batambula ekiro kyonna. Bwe batuuka mu Gibyoni, abaserikale ba bakabaka abataano batya era batandika okudduka. Awo Yakuwa atonnyesa omuzira okuva mu ggulu, era abaserikale bangi battibwa omuzira ogwo okusinga abo abattibwa abasajja ba Yoswa abalwanyi.

Yoswa akiraba nti mangu enjuba ejja kugwa. Obudde bujja kuziba, era abaserikale ba bakabaka abataano bangi bajja kudduka. Eno ye nsonga lwaki Yoswa asaba Yakuwa ng’agamba: ‘Enjuba, sigala w’oli!’ Era enjuba bw’esigala ng’eyaka, Abaisiraeri basobola okuwangula olutalo.

Mu Kanani mulimu bakabaka abalala bangi abatayagala bantu ba Katonda. Kitwalira Yoswa n’amagye ge emyaka nga mukaaga okuwangula bakabaka 31 ab’omu nsi eyo. Nga kino kiwedde, Yoswa alaba nti ensi ya Kanani egabanyizibwamu ebika ebyali byetaaga ekifo aw’okubeera.

Emyaka mingi giyitawo, era Yoswa afa ng’aweza emyaka 110. Ye ne mikwano gye nga bakyali balamu, abantu bagondera Yakuwa. Naye abasajja bano abalungi bwe bafa, abantu batandika okukola ebintu ebibi era ne bagwa mu mitawaana. Kino kye kiseera we beetaagira obuyambi bwa Katonda.

Yoswa 10:6-15; 12:7-24; 14:1-5; Ekyabalamuzi 2:8-13.

Ebibuuzo