Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Gidyoni n’Abasajja Be 300

Gidyoni n’Abasajja Be 300

OLUGERO 52

Gidyoni n’Abasajja Be 300

OLABA ekigenda mu maaso wano? Bano bonna basajja balwanyi ab’omu Isiraeri. Abasajja abakutamye banywa mazzi. Omulamuzi Gidyoni ayimiridde kumpi nabo. Yeetegereza engeri gye banywamu amazzi.

Weetegereze engeri ez’enjawulo abasajja bano ze bakozesa okunywa amazzi. Abamu obwenyi bwabwe babuteeredde ddala ku mazzi. Naye omu anywera amazzi mu kibatu kye, asobole okulaba ebimwetoolodde. Kino kikulu, kubanga Yakuwa yagamba Gidyoni okulonda abasajja bokka abanywa amazzi ng’eno bwe balaba ekigenda mu maaso. Abalala, Katonda yagamba nti, baddeyo ewaabwe. Ka tulabe lwaki.

Abaisiraeri era bali mu mitawaana mingi. Ensonga eri nti bajeemedde Yakuwa. Abantu b’omu Midiyani babasinzizza amaanyi era babayisa bubi. N’olwekyo, Abaisiraeri bakaabirira Yakuwa okubayamba, era Yakuwa awulira okukaaba kwabwe.

Yakuwa agamba Gidyoni okukuŋŋaanya eggye, n’olwekyo Gidyoni akuŋŋaanya abasajja abalwanyi 32,000. Naye lyo eggye erigenda okulwana n’Abaisiraeri lirimu abasajja 135,000. Kyokka Yakuwa agamba Gidyoni: ‘Olina abasajja bangi nnyo.’ Lwaki Yakuwa yayogera bw’atyo?

Kubanga singa Isiraeri ewangula olutalo, bandirowoozezza nti baluwangudde ku lwabwe. Bandirowoozezza nti baali tebeetaaga buyambi bwa Yakuwa okuwangula. Yakuwa kyava agamba Gidyoni: ‘Gamba abasajja bonna abatidde baddeyo ewaabwe.’ Gidyoni bw’amala okubagamba ebyo, abasajja abalwanyi 22,000 baddayo ewaabwe. Awo asigaza abasajja 10,000 okulwanyisa abaserikale 135,000.

Naye, wuliriza! Yakuwa agamba: ‘Okyalina abasajja bangi nnyo.’ N’olwekyo agamba Gidyoni agambe abasajja okunywa amazzi okuva mu mugga guno ate oluvannyuma agambe bonna abanywa amazzi ng’obwenyi bwabwe buli ku mazzi, okuddayo ewaabwe. ‘Nja kukuwa obuwanguzi ng’olina abasajja 300 abanywedde amazzi ng’eno bwe balaba ekigenda mu maaso,’ bw’atyo Yakuwa bw’asuubiza.

Ekiseera eky’okulwana kituuka. Gidyoni ateeka abasajja be 300 mu bibinja bisatu. Awa buli musajja ekkondeere, era n’ensuwa erimu ekitawuliro. Awo nga mu ttumbi, bonna beetooloola olusiisira lw’abaserikale abalabe. Awo nno, ku kiseera kye kimu, bafuuwa amakondeere gaabwe era ne baasa ensuwa zaabwe, ne boogerera waggulu: ‘Ekitala kya Yakuwa era kya Gidyoni!’ Abaserikale abalabe bwe bazuukuka, basoberwa era ne batya nnyo. Bonna batandika okudduka, era Abaisiraeri bawangula olutalo.

Ekyabalamuzi essuula 6 okutuuka ku 8.

Ebibuuzo