Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lakabu Akweka Abakessi

Lakabu Akweka Abakessi

OLUGERO 44

Lakabu Akweka Abakessi

ABASAJJA bano bali mu kabi. Bateekwa okudduka, bwe batakola ekyo bajja kuttibwa. Bakessi Abaisiraeri, era n’omukazi oyo abayamba ayitibwa Lakabu. Lakabu asula wano mu nnyumba eri ku bbugwe w’ekibuga Yeriko. Ka tuzuule lwaki abasajja bano bali mu kabi.

Abaisiraeri beetegese okusomoka Omugga Yoludaani bayingire mu nsi y’e Kanani. Naye, nga tebannakikola, Yoswa atumayo abakessi babiri. Abagamba: ‘Mugende mwetegereze ensi n’ekibuga kya Yeriko.’

Abakessi bwe batuuka mu Yeriko, bagenda mu nnyumba ya Lakabu. Naye waliwo abuulira kabaka wa Yeriko nti: ‘Abaisiraeri babiri baayingidde muno ekiro okuketta ensi.’ Ng’awulidde ekyo, Kabaka atuma abasajja ewa Lakabu, era ne bamulagira: ‘Abasajja b’olina mu nnyumba yo, bafulumye!’ Naye Lakabu akwese abakessi ku kasolya k’ennyumba ye. Bwe kityo, abagamba: ‘Abasajja bazze mu nnyumba yange, naye simanyi gye baavudde. Baagenze ng’obudde buzibye, nga wankaaki w’ekibuga anaatera okuggalwawo. Singa mwanguwa, muyinza okubakwata!’ Awo abasajja babawondera.

Nga bamaze okugenda, Lakabu ayambuka mangu ku kasolya. ‘Nkimanyi nti Yakuwa ajja kubawa ensi eno,’ bw’atyo bw’agamba abakessi. ‘Twawulira bwe yakaza Ennyanja Emmyufu nga muva e Misiri, era n’engeri gye mwattamu kabaka wa Sikoni ne Ogi. Mbadde wa kisa gye muli, kale nno mbasaba nammwe mubeere ba kisa gye ndi. Muwonye kitange ne mmange, era ne bannyinaze ne baganda bange.’

Abakessi bamusuubiza okukikola, naye Lakabu alina ky’ateekwa okukola. ‘Twala akaguwa kano akamyufu okasibe mu ddirisa lyo,’ bwe batyo abakessi bwe bamugamba, ‘era kuŋŋaanyiza ab’eŋŋanda zo bonna mu nnyumba yo. Era ffenna bwe tunaakomawo okuwamba Yeriko, tujja kulaba akaguwa kano mu ddirisa era tetujja kutta muntu yenna mu nnyumba yo.’ Abakessi bwe baddayo eri Yoswa, bamubuulira ebibaddewo byonna.

Yoswa 2:1-24; Abebbulaniya 11:31.

Ebibuuzo