Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Musa Akuba ku Lwazi

Musa Akuba ku Lwazi

OLUGERO 40

Musa Akuba ku Lwazi

E MYAKA gigenda giyitawo—emyaka 10, emyaka 20, emyaka 30, emyaka 39! Era Abaisiraeri bakyali mu ddungu. Naye mu myaka gino gyonna Yakuwa alabirira abantu be. Abaliisa emmaanu. Obudde obw’emisana abakulembera n’empagi y’ekire, ate ekiro abakulembera n’empagi ey’omuliro. Era mu myaka gino gyonna ebyambalo byabwe tebikutuka wadde ebigere byabwe okuzimba.

Kati guno gwe mwezi ogusooka ogw’omwaka ogwa 40 kasookedde bava e Misiri. Abaisiraeri baddamu okusiisira e Kadesi. Wano we baali abakessi 12 bwe baasindikibwa okuketta ensi y’e Kanani emyaka nga 40 emabega. Mwannyina wa Musa, Miryamu, afiira Kadesi. Era nga bwe kyali emabegako, wabaawo omutawaana nga bali mu kifo kino.

Abantu tebalina wa kujja mazzi. Bwe kityo beemulugunyiza Musa nga bagamba: ‘Kyandisinzeeko singa twafa. Lwaki watuggya mu Misiri n’otuleeta mu kifo kino ekibi ennyo awatayinza kumera kintu kyonna? Tewali ŋŋaano, tewali ttiini, tewali mizabbibu, tewali na nkomamawanga. Tewali yadde amazzi ag’okunywa.’

Musa ne Alooni bwe bagenda mu weema okusaba, Yakuwa agamba Musa: ‘Kuŋŋaanya abantu bonna. Awo ng’oli mu maaso gaabwe yogera eri olwazi olwo. Lujja kuvaamu amazzi agamala abantu n’ebisolo byabwe byonna.’

Musa akuŋŋaanya abantu, n’abagamba: ‘Muwulire, mmwe abateesiga Katonda! Nze ne Alooni tetuyinza kubaggira mazzi mu lwazi luno?’ Awo Musa n’alyoka akuba omuggo ku lwazi emirundi ebiri, era amazzi mangi ne gava mu lwazi. Wabaawo amazzi agamala abantu n’ebisolo.

Naye Yakuwa anyiigira Musa ne Alooni. Omanyi lwaki? Olw’okuba Musa ne Alooni bagamba nti bo be baali bagenda okuggya amazzi mu lwazi. Kyokka nga Yakuwa ye yakikola. Era olw’okuba Musa ne Alooni tebaayogera mazima ku nsonga eno, Yakuwa agamba nti agenda kubabonereza. ‘Temujja kukulembera bantu bange okuyingira mu Kanani,’ bw’atyo bw’agamba.

Mangu ddala Abaisiraeri bava e Kadesi. Nga wayiseewo akaseera katono batuuka ku lusozi Koola. Wano, waggulu ku lusozi olwo, Alooni afa. Aweza emyaka 123 w’afiira. Abaisiraeri banakuwala nnyo, era bamala ennaku 30 nga bakaabira Alooni. Mutabani we Eriyazaali y’afuuka kabona omukulu ow’eggwanga lya Isiraeri.

Okubala 20:1-13, 22-29; Ekyamateeka 29:5.

Ebibuuzo