Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusomoka Omugga Yoludaani

Okusomoka Omugga Yoludaani

OLUGERO 45

Okusomoka Omugga Yoludaani

LABA! Abaisiraeri basomoka Omugga Yoludaani! Naye amazzi gali ludda wa? Olw’okuba enkuba etonnya nnyo mu kiseera kino eky’omwaka, omugga gubadde gujjudde eddakiika ntono emabega. Naye kati amazzi gonna gakalidde! Era Abaisiraeri basomoka omugga nga bayita ku ttaka ekkalu ng’era bwe kyali ku Nnyanja Emmyufu! Amazzi gonna galaze wa? Ka tulabe.

Ekiseera bwe kyatuuka Abaisiraeri okusomoka Omugga Yoludaani, Yakuwa atuma Yoswa agambe bw’ati abantu: ‘Bakabona bajja kusitula essanduuko y’endagaano batukulembere. Bwe banaateeka ebigere byabwe mu mazzi g’Omugga Yoludaani, awo amazzi gajja kulekera awo okukulukuta.’

Bwe kityo, bakabona basitula essanduuko y’endagaano, era ne bakulembera abantu. Nga batuuse ku Yoludaani, bakabona balinnya mu mazzi. Gakulukuta ku sipiidi ya maanyi era mawanvu. Naye amangu ddala ng’ebigere byabwe birinye mu mazzi, amazzi galekera awo okukulukuta! Kya magero! Yakuwa akuumidde amazzi ku ludda olw’ekyengulu gye gava. N’olwekyo, amazzi gakalira mu mugga!

Bakabona abasitudde essanduuko y’endagaano bagendera ddala wakati mu mugga ogukalidde. Osobola okubalaba mu kifaananyi? Nga bayimiridde awo, Abaisiraeri bonna basomoka Omugga Yoludaani nga bayita ku ttaka ekkalu!

Nga buli omu amaze okusomoka, Yakuwa agamba Yoswa ategeeze abasajja 12 ab’amaanyi nti: ‘Mugende mu mugga bakabona we bayimiridde nga basitudde essanduuko y’endagaano. Mulondewo amayinja 12 mugateeke we munaasula ekiro. Mu biseera eby’omu maaso, abaana bammwe bwe balibabuuza amayinja kye gategeeza, mulibabuulira nti amazzi gaalekera awo okukulukuta essanduuko ya Yakuwa ey’endagaano bwe yasomosebwa Yoludaani. Amayinja gajja kubajjukizanga ekyamagero kino!’ Era Yoswa asimba amayinja 12 mu kifo bakabona we baali bayimiridde mu mugga.

Mu nkomerero, Yoswa agamba bakabona abasitudde essanduuko y’endagaano: ‘Muve mu Yoludaani.’ Era amangu ddala nga baakavaamu, amazzi gaddamu nate okukulukuta.

Yoswa 3:1-17; 4:1-18.

Ebibuuzo