Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weema ey’Okusinzizaamu

Weema ey’Okusinzizaamu

OLUGERO 37

Weema ey’Okusinzizaamu

O MANYI ekizimbe kino? Ye weema ey’enjawulo ey’okusinzizaamu Yakuwa. Era eyitibwa tabernacle. Abantu baamaliriza okugizimba nga wayiseewo omwaka gumu, oluvannyuma lw’okuva mu Misiri. Omanyi eyaleeta ekirowoozo eky’okugizimba?

Kyali kirowoozo kya Yakuwa. Musa bwe yali waggulu ku Lusozi Sinaayi, Yakuwa yamubuulira engeri y’okugizimbamu. Yamugamba ekolebwe ng’esobola okupangululwa amangu. Mu ngeri eyo, ebitundu byayo byandisobodde okutwalibwa mu kifo ekirala, era ne biyungibwa wamu nate. Bwe kityo, Abaisiraeri bwe baavanga mu kifo ekimu okudda mu kirala mu ddungu, eweema baagitwalanga.

Bw’otunula mu kisenge ekitono ku nkomerero ya weema, olaba bokisi, oba essanduuko. Eno eyitibwa essanduuko y’endagaano. Yaliko bamalayika babiri, oba bakerubi abaakolebwa mu zaabu, buli omu ng’ali ku luuyi olumu. Katonda yaddamu okuwandiika Ebiragiro Ekkumi ku bipande by’amayinja bibiri, kubanga Musa yali ayasizza ebyasooka. Ebipande bino byaterekebwa mu ssanduuko y’endagaano. Era, ensumbi erimu mmaanu yaterekebwa munda waayo. Okyajjukira mmaanu kye ki?

Muganda wa Musa, Alooni, Yakuwa gw’alonda okubeera kabona omukulu. Akulembera abantu mu kusinza Yakuwa. Era ne batabani be bakabona.

Kati tunuulira ekisenge ekinene ekya weema. Kisinga ekitono obunene emirundi ebiri. Olaba bokisi, oba essanduuko entono ng’eriko omukka ogugivaamu? Kino kyoto bakabona kwe bootereza obuntu obuwunya obulungi obuyitibwa obubaane. Ate waliwo ekikondo nga kiriko ettabaaza musanvu. Ekintu eky’okusatu ekiri mu kisenge ekyo ye mmeeza. Ku yo kwe kuterekebwa emigaati 12.

Mu luggya lwa weema mulimu ebbakuli ennene, oba ebbenseni, ejjuziddwa amazzi. Bakabona bagikozesa okunaaba. Era waliwo ekyoto ekinene. Wano ebisolo ebifudde we byokerwa ng’ekiweebwayo eri Yakuwa. Weema eno eri mu makkati g’olusiisira, era Abaisiraeri babeera mu weema zaabwe okugyetooloola.

Okuva 25:8-40; 26:1-37; 27:1-8; 28:1; 30:1-10, 17-21; 34:1, 2; Abebbulaniya 9:1-5.

Ebibuuzo