Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa awa Amateeka Ge

Yakuwa awa Amateeka Ge

OLUGERO 35

Yakuwa awa Amateeka Ge

NGA waakayitawo emyezi ng’ebiri kasookedde bava e Misiri, Abaisiraeri batuuka ku Lusozi Sinaayi, era oluyitibwa Kolebu. Kino kye kifo Yakuwa we yayogerera ne Musa mu kisaka ekyaka. Abantu basiisira wano era ne babeerawo okumala akabanga.

Abantu nga balindirira wansi, Musa alinnya olusozi. Ng’ali eyo waggulu ku lusozi, Yakuwa agamba Musa nti Ayagala Abaisiraeri bamugondere era babeere abantu Be ab’enjawulo. Musa bw’akka wansi, abuulira Abaisiraeri Yakuwa ky’agambye. Era abantu bagamba nti bajja kugondera Yakuwa, kubanga baagala kubeera abantu be.

Kati Yakuwa akola ekintu ekyewuunyisa. Aleetera entikko y’olusozi okuvaamu omukka, era aleetawo n’okubwatuka okw’amaanyi. Era ayogera n’abantu: ‘Nze Yakuwa Katonda wammwe ey’abaggya e Misiri.’ Awo n’abalagira: ‘Temusinzanga bakatonda balala okuggyako nze.’

Katonda awa Abaisiraeri ebiragiro ebirala mwenda, oba amateeka. Abantu batya nnyo. Bagamba Musa: ‘Ggwe oba oyogera naffe, kubanga tutya nti Katonda bw’anaayogera naffe tuyinza okufa.’

Oluvannyuma, Yakuwa agamba Musa: ‘Jjangu gye ndi ku lusozi. Nja kukuwa ebipande by’amayinja bibiri kwe mpandiise amateeka ge njagala abantu okugoberera.’ N’olwekyo, Musa addayo ku lusozi. Abeerayo okumala ennaku 40 emisana n’ekiro.

Katonda akolera abantu be amateeka mangi. Musa awandiika amateeka gano. Era Katonda awa Musa ebipande by’amayinja ebibiri. Ku byo, Katonda yennyini kw’awandiise amateeka 10 ge yayogera eri abantu bonna. Gayitibwa Ebiragiro Ekkumi.

Ebiragiro Ekkumi mateeka makulu nnyo. Naye era n’amateeka amalala Katonda ge yawa Abaisiraeri makulu. Erimu ku mateeka gano ligamba: ‘Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’ebirowoozo byo byonna, n’emmeeme yo yonna era n’amaanyi go gonna.’ Eddala ligamba: Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala. Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, yagamba nti gano ge mateeka agasingayo obukulu Yakuwa ge yawa abantu be, Isiraeri. Oluvannyuma tujja kuyiga ebintu bingi ebikwata ku Mwana wa Katonda n’enjigiriza ze.

Okuva 19:1-25; 20:1-21; 24:12-18; 31:18; Ekyamateeka 6:4-6; Eby’Abaleevi 19:18; Matayo 22:36-40.

Ebibuuzo