Nuuwa Azimba Eryato
OLUGERO 9
Nuuwa Azimba Eryato
NUUWA yalina omukyala era n’abaana ab’obulenzi basatu. Amannya g’abaana be gaali Seemu, Kaamu ne Yafeesi. Era buli mwana yalina omukyala. N’olwekyo, mu maka ga Nuuwa mwalimu abantu munaana.
Katonda yagamba Nuuwa okukola ekintu ky’atakolangako. Yamugamba okuzimba eryato eddene. Eryato lino lyali ggazi ng’emmeeri, naye nga lifaanana ng’ekibokisi ekinene, era ekiwanvu. ‘Likole nga lya myaliiro esatu,’ bw’atyo Katonda bwe yagamba, ‘era oliteekemu ebisenge.’ Ebisenge byali bya Nuuwa n’ab’omu maka ge, ebisolo, era n’emmere bonna gye bandyetaaze.
Katonda era yagamba Nuuwa okulikola obulungi amazzi galeme kuliyingiramu. Katonda n’agamba: ‘Ŋŋenda okuleeta amataba g’amazzi nzikirize ensi yonna. Buli ataabeere mu lyato ajja kufa.’
Nuuwa n’abaana be baagondera Yakuwa ne batandika okulizimba. Naye abantu abalala bo baasekanga busesi. Beeyongera kuba babi. Tewali n’omu yakkiriza Nuuwa bwe yabagamba ekyo Katonda kye yali agenda okukola.
Kyatwala ekiseera kiwanvu okuzimba eryato kubanga lyali ddene nnyo. Ddaaki, nga wayiseewo emyaka mingi, lyamalirizibwa. Olwo, Katonda n’agamba Nuuwa okuyingiza ebisolo mu lyato. Ku bika by’ebisolo ebimu, Katonda yamugamba kuyingiza bibiri bibiri, ekisajja n’ekikazi. Naye ebika by’ebisolo ebirala, Katonda yagamba Nuuwa okuyingiza musanvu. Era Katonda yagamba Nuuwa okuyingiza ebika eby’enjawulo byonna eby’ebinyonyi. Nuuwa yakola nga Katonda bwe yamulagira.
Oluvannyuma, Nuuwa n’ab’omu maka ge nabo ne bayingira mu lyato. Era Katonda n’aggalawo oluggi. Nga bali munda, Nuuwa n’ab’omu maka ge baalindirira. Kiteeberezeemu ng’oli wamu nabo mu lyato mulindirira. Ddala amataba ganajja nga Katonda bwe yagambye?