Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omusajja Omuzira

Omusajja Omuzira

OLUGERO 7

Omusajja Omuzira

ABANTU bwe baagenda beeyongera obungi ku nsi, abasinga obungi baakola ebintu ebibi nga Kayini. Naye omusajja omu yali mwawufu. Ye musajja ono ayitibwa Enoka. Enoka yali musajja muzira. Abantu bonna abaali bamwetoolodde baali bakola ebintu ebibi ennyo, naye Enoka yeeyongera okuweereza Katonda.

Omanyi lwaki abantu abo baakolanga ebintu ebibi? Kirowoozeeko, Ani yaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda era n’okulya ekibala Katonda kye yabagaana okulya? Yee, yali malayika omubi. Baibuli emuyita Setaani. Era ageezaako okufuula buli omu omuntu omubi.

Lumu Yakuwa Katonda yatuma Enoka okubuulira abantu ekintu kye bataayagala kuwuliriza. Yabagamba: ‘Katonda ajja kuzikiriza abantu ababi bonna.’ Kirabika ng’abantu baanyiiga nnyo bwe baawulira kino. Bayinza n’okuba nga baagezaako okutta Enoka. N’olwekyo Enoka ­yalina okuba omuzira okusobola okutegeeza abantu Katonda ky’agenda okukola.

Katonda teyaleka Enoka kubeerawo kiseera kiwanvu ng’ali mu bantu bano ababi. Enoka yawangaala emyaka 365 gyokka. Lwaki tugamba nti “emyaka 365 gyokka”? Kubanga abantu b’omu kiseera ekyo baalinga ba maanyi nnyo era baawangaalanga nnyo. Weewuunye, mutabani wa Enoka, Mesuseera, yawangaala emyaka 969!

Oluvannyuma lw’okufa kwa Enoka, abantu beeyongera okuba ababi ennyo. Baibuli egamba nti ‘byonna bye baalowoozangako byali bibi byereere,’ era ‘nti ensi yajjula ettemu.’

Omanyi emu ku nsonga lwaki waaliwo emitawaana mingi ku nsi mu kiseera ekyo? Kubanga Setaani yali atandiseewo enkola empya ey’okuleetera abantu okukola ebintu ebibi. Kino kye tujja okuddako okuyiga.

Olubereberye 5:21-24, 27; 6:5; Abebbulaniya 11:5; Yuda 14, 15.

Ebibuuzo