Ayagala Abaana Abato
OLUGERO 94
Ayagala Abaana Abato
LABA Yesu awambaatidde omulenzi ono omuto. Oyinza okukiraba nti ddala Yesu afaayo ku baana abato. Abasajja abamutunuulidde batume be. Yesu abagamba ki? Ka tulabe.
Yesu n’abatume be baakakomawo ku lugendo oluwanvu. Nga bali mu kkubo abatume bawakana bokka na bokka. Bwe kityo oluvannyuma lw’olugendo Yesu ababuuza: ‘Mwabadde muwakana ki mu kkubo?’ Mazima ddala, Yesu amanyi kye baabadde bawakanako. Naye ababuuza ekibuuzo okulaba obanga abatume banaamubuulira.
Abatume tebamuddamu, kubanga mu kkubo baabadde bawakana ani ku bo asinga obukulu. Abatume abamu baagala okubeera abakulu okusinga abalala. Yesu anaabategeeza atya nti si kituufu okwagala okubeera asinga obukulu?
Ayita omulenzi ono omuto, n’amuyimiriza mu maaso gaabwe. Awo, n’agamba abayigirizwa be: ‘Njagala mutegeere kino, Okuggyako nga mukyuka ne mufuuka ng’abaana abato, temujja kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Omuntu asingayo obukulu mu bwakabaka y’oyo afuuka ng’omwana ono omuto.’ Omanyi lwaki Yesu yayogera bw’ati?
Abaana abato ennyo tebalowooza ku kwekuza oba okwegulumiza okusinga abalala. Bwe kityo, abatume basaanidde okuyiga okubeera ng’abaana, mu ngeri eno baleme kuwakana ku ani asinga bukulu.
Era waliwo ebiseera ebirala, Yesu bw’alaga nga bw’afaayo ennyo ku baana abato. Nga wayiseewo emyezi mitono abantu abamu baleeta abaana baabwe okulaba Yesu. Abatume bagezaako okubagoba. Naye Yesu agamba abatume be: ‘Muleke abaana bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwa bantu abalinga bo.’ Awo Yesu awambaatira abaana, era n’abawa omukisa. Si kirungi okumanya nti Yesu ayagala nnyo abaana abato?
Matayo 18:1-4; 19:13-15; Makko 9:33-37; 10:13-16.