Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Malayika Akyalira Malyamu

Malayika Akyalira Malyamu

OLUGERO 84

Malayika Akyalira Malyamu

OMUKAZI ono afaanana obulungi ye Malyamu. Muisiraeri, abeera mu kibuga ky’e Nazaaleesi. Katonda akimanyi nti muntu mulungi nnyo. Eyo ye nsonga lwaki atumye malayika we Gabulyeri okwogera naye. Omanyi Gabulyeri ky’azze okugamba Malyamu? Ka tulabe.

‘Nkulamusizza, ggwe aweereddwa omukisa,’ bw’atyo Gabulyeri bw’amugamba. ‘Yakuwa ali naawe.’ Malyamu talabangako muntu ono. Mweraliikirivu, kubanga tamanyi ky’ategeeza. Naye amangu ago Gabulyeri amukkakkanya.

‘Totya, Malyamu,’ bw’atyo bw’agamba. ‘Yakuwa akusanyukidde nnyo. Eyo ye nsonga lwaki agenda okukukolera ekintu eky’ekitalo. Ojja kuzaala omwana mu kiseera ekitali kya wala. Era ojja kumutuuma erinnya Yesu.’

Gabulyeri ayongera okunnyonnyola: ‘Omwana ono ajja kubeera mukulu, era ajja kuyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Yakuwa ajja kumufuula kabaka, nga Dawudi bwe yali. Naye Yesu ajja kubeera kabaka emirembe gyonna, era obwakabaka bwe tebuliggwaawo!’

‘Ekyo kisoboka kitya?’ bw’atyo Malyamu bw’abuuza. ‘Siri mufumbo. Seetabangako na musajja, kati olwo nsobola ntya okuzaala omwana?’

‘Amaanyi ga Katonda galijja gy’oli,’ bw’atyo Gabulyeri bw’addamu. ‘Bwe kityo, omwana ajja kuyitibwa Mwana wa Katonda.’ Awo n’agamba Malyamu: ‘Jjukira muganda wo Erisabesi. Abantu baagambanga nti yali mukadde nnyo okuzaala abaana. Naye kati anaatera okuzaala omwana ow’obulenzi. N’olwekyo olaba, tewaliwo kintu Katonda ky’atasobola kukola.’

Amangu ago Malyamu agamba: ‘Ndi muzaana wa Yakuwa! Ka kibeere gye ndi nga bw’ogambye.’ Awo malayika n’agenda.

Malyamu ayanguwa okukyalira Erisabesi. Erisabesi bw’awulira eddoboozi lya Malyamu, omwana ali mu lubuto lwa Erisabesi abuukabuuka olw’essanyu. Erisabesi ajjudde omwoyo gwa Katonda, era n’agamba Malyamu: ‘Oweereddwa omukisa mu bakazi bonna.’ Malyamu abeera ne Erisabesi okumala emyezi ng’esatu, n’alyoka addayo ewuwe e Nazaaleesi.

Malyamu anaatera okufumbirwa omusajja ayitibwa Yusufu. Naye Yusufu bw’amanya nti Malyamu agenda kuzaala mwana, alowooza nti tasaanidde kumuwasa. Awo malayika wa Katonda n’amugamba: ‘Totya kutwala Malyamu okuba mukyala wo. Kuba Katonda y’amuwadde omwana oyo ow’obulenzi.’ Bwe kityo, Malyamu ne Yusufu bafumbiriganwa, era ne balindirira Yesu okuzaalibwa.

Lukka 1:26-56; Matayo 1:18-25.

Ebibuuzo