Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Ajja nga Kabaka

Yesu Ajja nga Kabaka

OLUGERO 97

Yesu Ajja nga Kabaka

EKISEERA kitono oluvannyuma lw’okuwonya bamuzibe ababiri abaali basabiriza, Yesu atuuka mu kaalo akatono okumpi ne Yerusaalemi. Agamba babiri ku bayigirizwa be: ‘Mugende mu kyalo ekyo era mujja kusanga endogoyi ento. Mugisumulule mugindeetere.’

Endogoyi bw’ereetebwa gy’ali, Yesu agyebagala. Awo n’ayolekera Yerusaalemi ekyesudde akabanga katono. Bw’atuuka okumpi n’ekibuga, ekibiina ky’abantu ekinene kijja okumusisinkana. Abasinga obungi beeyambula amakooti gaabwe ne bagaaliirira mu luguudo. Abalala batema amatabi g’enkindu. Nago bagaaliirira mu luguudo ne bawoggana: ‘Katonda awe omukisa kabaka ajja mu linnya lya Yakuwa!’

Edda ennyo mu Isiraeri bakabaka abappya beebagalanga endogoyi ento ne bayingira mu Yerusaalemi okweraga eri abantu. Kino Yesu ky’akola. Era abantu bano balaga nti baagala Yesu okubeera kabaka waabwe. Naye abantu bonna tebakyagala. Tuyinza okutegeera kino olw’ekyo ekibaawo nga Yesu agenze mu yeekaalu.

Mu yeekaalu Yesu awonya bamuzibe n’abalema. Abaana abato bwe balaba kino, batendereza Yesu. Naye kino kinyiiza bakabona, era bagamba Yesu: ‘Owulira abaana kye bagamba?’

‘Yee, nkiwulira,’ bw’atyo Yesu bw’abaddamu. ‘Temusomangako mu Baibuli awagamba nti: “Okuva mu mimwa gy’abaana abato Katonda alireeta ettendo?”’ Bwe kityo abaana beeyongera okutendereza kabaka wa Katonda.

Twagala okubeera ng’abaana abo, si bwe kiri? Abantu abamu bayinza okugezaako okutuziyiza okwogera ku bwakabaka bwa Katonda. Naye tujja kweyongera okutegeeza abalala ebintu eby’ekitalo Yesu by’alikolera abantu.

Yesu bwe yali ku nsi, ekiseera kyali tekinnatuuka atandike okufuga nga kabaka. Ekiseera ekyo kirituuka ddi? Abayigirizwa ba Yesu baagala okumanya. Kino kye tugenda okuddako okusoma.

Matayo 21:1-17; Yokaana 12:12-16.

Ebibuuzo