Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Attibwa

Yesu Attibwa

OLUGERO 101

Yesu Attibwa

LABA ekintu ekibi ekibaddewo! Yesu attibwa. Bamutadde ku muti. Emisumaali gikomereddwa mu mikono gye n’ebigere bye. Lwaki omuntu yenna yandyagadde okutta Yesu?

Lwa kuba abantu abamu tebaagala Yesu. Obamanyi? Omu ku bo ye malayika omubi Setaani Omulyolyomi. Ye yaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Yakuwa. Era Setaani ye yaleetera abalabe ba Yesu okukola ekikolwa kino ekibi ennyo.

Nga Yesu tannakomererwa ku muti, abalabe be bamukola ebintu ebibi. Ojjukira engeri gye bajjamu mu lusuku lwa Gesusemane ne bamutwala? Abalabe abo baali baani? Yee, baali abakulembeze b’eddiini. Ka tulabe ekyaddako.

Yesu bw’atwalibwa abakulembeze b’eddiini, abatume be badduka. Baleka Yesu yekka n’abalabe be kubanga batidde. Naye abatume Peetero ne Yokaana tebagenda wala nnyo. Bagoberera abamututte balabe ekinaatuuka ku Yesu.

Bakabona batwala Yesu eri omusajja omukadde ayitibwa Ananiya, eyaliko kabona omukulu. Ekibinja ky’abantu abo tekimala kiseera kiwanvu wano. Ekiddirira batwala Yesu mu nnyumba ya Kayaafa, kati aweereza nga kabona omukulu. Abakulembeze b’eddiini bangi bakuŋŋaanidde mu nnyumba ye.

Bamuwozeseza omwo mu nnyumba ya Kayaafa. Abantu baleetebwa ne boogera eby’obulimba ku Yesu. Abakulembeze b’eddiini bonna bagamba: ‘Yesu asaanidde okuttibwa.’ Bamuwandira amalusu mu maaso, era ne bamukuba ebikonde.

Nga bino byonna bigenda mu maaso, Peetero ali bweru mu luggya. Budde bwa kiro obunnyogovu, era abantu bakuma omuliro. Nga boota omuliro, omuwala atunuulira Peetero, n’agamba: ‘Omusajja ono yabadde ne Yesu.’

‘Nedda, saabadde naye!’ bw’atyo Peetero bw’addamu.

Emirundi esatu abantu bagamba Peetero nti yabadde ne Yesu. Naye buli mulundi Peetero agamba nti si kituufu. Peetero bw’ayogera kino omulundi ogw’okusatu, Yesu akyuka n’amutunuulira. Peetero anakuwala nnyo olw’okwogera eby’obulimba, era agenda n’akaaba.

Enjuba bw’etandika okuvaayo ku Lw’Okutaano ku makya, bakabona batwala Yesu gye bakuŋŋaanira, mu kisenge ky’Olukiiko Olukulu. Nga bali eyo bateesa ku kye bagenda okumukola. Bamutwala eri Pontiyo Piraato, omufuzi w’essaza ly’e Buyudaaya.

‘Omusajja ono mubi,’ bwe batyo bakabona bwe bagamba Piraato. ‘Asaanidde okuttibwa.’ Oluvannyuma lw’okubuuza Yesu ebibuuzo, Piraato agamba: ‘Siraba kibi kyonna ky’akoze.’ Awo, Piraato asindika Yesu eri Kerode Antipa. Kerode ye mufuzi wa Ggaliraaya, naye abeera mu Yerusaalemi. Kerode naye talaba kibi kyonna Yesu ky’akoze, n’olwekyo amuzzaayo eri Piraato.

Piraato ayagala okusumulula Yesu. Naye abalabe ba Yesu baagala omusibe omulala asumululwe mu kifo kye. Omusajja ono ye mubbi ayitibwa Balaba. Kati obudde bwa ttuntu Piraato bw’aleeta Yesu ebweru. Agamba abantu: ‘Mulabe! Kabaka wammwe!’ Naye bakabona abakulu bawoggana nti: ‘Mutwale! Mutte! Mutte!’ Bwe kityo Piraato asumulula Balaba, ne batwala Yesu okumutta.

Awo nga mu ttuntu ku Lw’Okutaano Yesu akomererwa ku muti. Weewaawo toyinza kubalaba mu kifaananyi kino, naye ku njuyi zombi eza Yesu waliwo omumenyi w’amateeka attibwa ku muti. Nga Yesu anaatera okufa, omu ku bamenyi b’amateeka amugamba: ‘Onzijukira ng’otuuse mu bwakabaka bwo.’ Yesu addamu: ‘Nkusuubiza nti olibeera nange mu Lusuku lwa Katonda.’

Ekyo si kisuubizo kya kitalo? Omanyi olusuku lwa Katonda Yesu lw’ayogerako? Olusuku Katonda lwe yakola mu lubereberye lwali ludda wa? Yee, lwali ku nsi. Era Yesu bw’alifuga nga kabaka mu ggulu, ajja kukomyawo omusajja ono mu bulamu yeeyagalire mu Lusuku lwa Katonda oluppya ku nsi. Ekyo tetwandikisanyukidde?

Matayo 26:57-75; 27:1-50; Lukka 22:54-71; 23:1-49; Yokaana 18:12-40; 19:1-30.

Ebibuuzo