Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu mu Lusuku

Yesu mu Lusuku

OLUGERO 100

Yesu mu Lusuku

OLUVANNYUMA lw’okuva mu kisenge ekya waggulu, Yesu n’abatume be bagenda mu lusuku lwa Gesusemane. Bazze wano emirundi mingi. Kati Yesu abagamba okusigala nga batunula n’okusaba. Awo, n’agenda akabanga katono okuva we bali, n’avuunama n’asaba.

Oluvannyuma, Yesu akomawo awali abatume be. Olowooza bakola ki? Beebase! Emirundi esatu Yesu abagamba nti basaanidde okutunula, naye buli lw’akomawo abasanga nga beebase. ‘Muyinza mutya okwebaka mu kiseera kino?’ bw’atyo Yesu bw’abagamba omulundi gw’asembayo okukomawo. ‘Ekiseera kituuse nze okuweebwayo eri abalabe bange.’

Mu kiseera ekyo okuyoogaana kw’ekibinja ky’abantu kuwulirwa. Laba! Abasajja bazze n’ebitala n’emiggo! Era balina emimuli egibamulisa. Bwe basembera, omuntu omu ava mu kibinja ekyo n’ajja eri Yesu. Amunywegera, nga bw’olaba wano. Omusajja oyo ye Yuda Isukalyoti! Lwaki anywegera Yesu?

Yesu abuuza: ‘Yuda, ondyamu olukwe ng’onywegera?’ Yee, okunywegera kabonero. Kasobozesa abasajja abali ne Yuda okumanya nti ono ye Yesu, omusajja gwe baagala. Bwe kityo abalabe ba Yesu bavaayo okumukwata. Naye Peetero tagenda kubaleka kutwala Yesu nga tamulwaniriddeeko. Asowolayo ekitala ky’ali nakyo n’atema omusajja amuli okumpi. Ekitala kibula kata kitemeko omutwe gw’omusajja naye kikwasaamu okutu kwe okwa ddyo. Naye Yesu akwata ku kutu kw’omusajja oyo n’akuwonya.

Yesu agamba Peetero: ‘Zzaayo ekitala mu kifo kyakyo. Tolowooza nti nnyinza okusaba Kitange enkumi n’enkumi za bamalayika okumponya?’ Yee, asobola! Naye Yesu tasaba Katonda kumuweereza bamalayika, kubanga amanyi nti ekiseera kituuse abalabe be okumukwata. N’olwekyo abaleka ne bamutwala. Kati ka tulabe ekituuka ku Yesu.

Matayo 26:36-56; Lukka 22:39-53; Yokaana 18:1-12.

Ebibuuzo