Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yokaana Abatiza Yesu

Yokaana Abatiza Yesu

OLUGERO 88

Yokaana Abatiza Yesu

LABA ejjiba erikka ku mutwe gw’omusajja. Omusajja oyo ye Yesu. Kati alina emyaka nga 30 egy’obukulu. Era omusajja ali naye ye Yokaana. Tulina kye twamuyigako emabega. Ojjukira Malyamu bwe yagenda okukyalira muganda we Erisabesi, era omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka olw’essanyu? Omwana oyo eyali tannazaalibwa yali Yokaana. Naye kati Yokaana ne Yesu bakola ki?

Yokaana yaakamala okunnyika Yesu mu mazzi g’Omugga Yoludaani. Eno ye ngeri omuntu gy’abatizibwamu. Okusooka, annyikibwa mu mazzi, ate n’abbululwayo. Olw’okuba kino Yokaana ky’akola abantu, ayitibwa Yokaana Omubatiza. Naye lwaki Yokaana abatizza Yesu?

Yokaana akikoze kubanga Yesu azze n’asaba Yokaana okumubatiza. Yokaana abatiza abantu abaagala okulaga nti beenenyezza olw’ebintu ebibi bye baakola. Naye Yesu alina ekintu kyonna ekibi kye yakola kye yeetaaga okwenenya? Nedda, Yesu teyakola kibi kyonna, kubanga ye Mwana wa Katonda eyava mu ggulu. N’olwekyo yasaba Yokaana okumubatiza lwa nsonga ya njawulo. Ka tulabe ensonga eyo.

Nga Yesu tannajja wano eri Yokaana, yali mubazzi. Omubazzi ye muntu abajja ebintu okuva mu mbaawo, gamba ng’emmeeza, entebe ne foomu. Yusufu, mwami wa Malyamu, yali mubazzi era yayigiriza Yesu okubajja. Naye Yakuwa teyatuma Mwana we ku nsi kubeera mubazzi. Alina omulimu ogw’enjawulo gw’amutegekedde okukola, era ekiseera kituuse Yesu okutandika okugukola. N’olwekyo, okulaga nti kati agenda kutandika okukola Kitaawe by’ayagala, Yesu asaba Yokaana okumubatiza. Katonda kino akisanyukira?

Yee, akisanyukira, kubanga Yesu bw’ava mu mazzi, eddoboozi okuva mu ggulu ligamba: ‘Ono ye Mwana wange, gwe nsanyukira.’ Era, eggulu libikkuka era ejjiba lino ne likka ku Yesu. Naye lino si jjiba lya ddala. Lifaanana bufaananyi ng’ejjiba. Guno mwoyo gwa Katonda omutukuvu.

Kati Yesu alina bingi eby’okulowoozaako, n’olwekyo agenda mu kifo ekimu n’abeera yekka okumala ennaku 40. Ng’ali eyo Setaani ajja gy’ali. Emirundi esatu Setaani agezaako okukema Yesu amenye amateeka ga Katonda. Naye Yesu takikola.

Oluvannyuma lw’ekyo, Yesu addayo n’asisinkana abasajja abamu abafuuka abagoberezi be oba abayigirizwa be. Agamu ku mannya gaabwe gali, Andereya, Peetero (era ayitibwa Simooni), Firipo ne Nassanayiri (era ayitibwa Battolomaayo). Yesu n’abayigirizwa bano abappya bagenda mu ssaza ly’e Ggaliraaya. Nga bali mu Ggaliraaya bayimirirako e Kaana, ekibuga Nassanayiri gy’ava. Ng’ali eyo, Yesu agenda ku mbaga y’obugole, era n’akola ekyamagero kye ekyasooka. Okimanyi? Afuula amazzi omwenge.

Matayo 3:13-17; 4:1-11; 13:55; Makko 6:3; Yokaana 1:29-51; 2:1-12.

Ebibuuzo