Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

n’Omukazi ku Luzzi

n’Omukazi ku Luzzi

OLUGERO 90

n’Omukazi ku Luzzi

YESU awummuddemu ku luzzi mu Samaliya. Abayigirizwa be bagenze mu kibuga kugula mmere. Omukazi Yesu gw’ayogera naye azze kusena mazzi. Amugamba: ‘Mpa ku mazzi nnywe.’

Kino kyewuunyisa nnyo omukazi oyo. Omanyi lwaki? Lwa kuba Yesu Muyudaaya, ate ng’omukazi Musamaliya. Era Abayudaaya abasinga obungi tebaagala Basamaliya. Tebaagala na kwogera nabo! Naye Yesu ayagala abantu aba buli kika. N’olwekyo agamba: ‘Singa omanyi akusaba amazzi okunywa, wandimusabye era yandikuwadde amazzi agawa obulamu.’

‘Ssebo,’ bw’atyo omukazi bw’agamba, ‘oluzzi luwanvu, ate tolina na kalobo. Amazzi agawa obulamu onoogaggya wa?’

‘Bw’onywa amazzi agava mu luzzi luno ojja kulumwa ennyonta nate,’ bw’atyo Yesu bw’annyonnyola. ‘Naye amazzi ge ngaba gasobozesa omuntu okubeerawo emirembe gyonna.’

‘Ssebo,’ omukazi agamba, ‘mpa amazzi ago! Olwo sirirumwa nnyonta nate. Era tekirinneetaagisa kujja wano nate kusena mazzi.’

Omukazi alowooza nti Yesu ayogera ku mazzi gennyini. Naye Yesu ayogera ku mazima agakwata ku Katonda n’obwakabaka bwe. Amazima gano galinga amazzi agawa obulamu. Gayinza okuwa omuntu obulamu obutaggwaawo.

Yesu kati agamba omukazi: ‘Genda oyite omwami wo mujje wano.’

‘Sirina mwami,’ bw’atyo bw’addamu.

‘Ozzeemu kituufu,’ bw’atyo Yesu bw’agamba. ‘Obadde n’abaami bataano, era omusajja gw’oli naye kati si mwami wo.’

Omukazi yeewuunya nnyo, kubanga bino byonna bituufu. Yesu yamanya atya ebintu bino? Yee, lwa kuba Yesu y’Oyo Eyasuubizibwa eyatumibwa Katonda, era Katonda amutegeeza ebintu bino. Mu kiseera kino abayigirizwa ba Yesu bakomawo, era beewuunya nti ayogera n’omukazi Omusamaliya.

Kiki kye tuyigira ku kino? Kiraga nti Yesu alaga ekisa abantu ab’ebika byonna. Era naffe bwe twandikoze. Tetwandirowoozezza nti abantu abamu babi kubanga ba kika ekimu. Yesu ayagala abantu bonna okumanya amazima agatuusa mu bulamu obutaggwaawo. Era naffe twandyagadde okuyamba abantu okuyiga amazima.

Yokaana 4:5-43; 17:3.

Ebibuuzo