Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Basumululwa mu Kkomera

Basumululwa mu Kkomera

OLUGERO 106

Basumululwa mu Kkomera

LABA malayika ono aguddewo oluggi lw’ekkomera. Abasajja b’asumulula batume ba Yesu. Ka tulabe ekyabaviirako okuteekebwa mu kkomera.

Waakayitawo akaseera katono okuva omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku bayigirizwa ba Yesu. Era kino kye kibaawo: Lumu olweggulo Peetero ne Yokaana baba bagenda mu yeekaalu mu Yerusaalemi. Eyo, okumpi n’oluggi, waliwo omusajja abadde omulema obulamu bwe bwonna. Abantu bamuleeta awo buli lunaku asobole okusabiriza ssente okuva ku abo abagenda mu yeekaalu. Bw’alaba Peetero ne Yokaana, abasaba ssente. Abatume banaakola ki?

Bayimirira ne batunuulira omusajja ono omunaku. ‘Sirina ssente,’ bw’atyo Peetero bw’agamba, ‘naye nja kukuwa kye nnina. Mu linnya lya Yesu, yimirira otambule!’ Awo Peetero n’akwata omukono gw’omusajja ogwa ddyo, era amangu ago omusajja n’ayimuka n’atandika okutambula. Abantu bwe balaba kino, beewuunya era basanyuka nnyo olw’ekyamagero kino.

‘Olw’amaanyi ga Katonda, eyazuukiza Yesu okuva mu bafu, tukoze ekyamagero kino,’ bw’atyo Peetero bw’agamba. Ye ne Yokaana bwe baba bakyayogera, abakulembeze b’eddiini abamu bajja. Banyiivu kubanga Peetero ne Yokaana bagamba abantu nti Yesu yazuukizibwa mu bafu. N’olwekyo babakwata ne babateeka mu kkomera.

Olunaku oluddako abakulembeze b’eddiini bategeka olukuŋŋaana olunene. Peetero ne Yokaana, awamu n’omusajja gwe baawonyezza baleetebwa. ‘Mwakoze ekyamagero kino nga mukozesa maanyi ki?’ bwe batyo abakulembeze b’eddiini bwe babuuza.

Peetero abagamba nti baakozesezza maanyi ga Katonda, eyazuukiza Yesu okuva mu bafu. Bakabona tebamanyi kya kukola, kubanga tebayinza kugaana nti ekyamagero kino kibaddewo. N’olwekyo balabula abatume obutaddayo kwogera ku Yesu, era babaleka ne bagenda.

Ennaku bwe ziyitawo abatume beeyongera okubuulira ku Yesu n’okuwonya abalwadde. Amawulire agakwata ku byamagero bino gasaasaana. Era ebibiina by’abantu okuva mu bibuga ebyetoolodde Yerusaalemi baleeta abalwadde abatume babawonye. Kino kireetera abakulembeze b’eddiini okukwatibwa obuggya, n’olwekyo bakwata abatume ne babateeka mu kkomera. Naye tebamalaayo kiseera kiwanvu.

Ekiro malayika wa Katonda aggulawo oluggi lw’ekkomera, nga bw’olaba awo. Malayika agamba: ‘Mugende mu yeekaalu, mwongere okubuulira abantu.’ Enkeera, abakulembeze b’eddiini bwe batuma abasajja mu kkomera okukima abatume, tebabasangamu. Oluvannyuma abasajja bano basanga abatume nga bayigiriza mu yeekaalu era ne babaleeta mu kisenge ky’Olukiiko.

‘Twabalagira obutaddamu kubuulira ebikwata ku Yesu,’ bwe batyo abakulembeze b’eddiini bwe bagamba. ‘Naye mujjuzizza Yerusaalemi n’okuyigiriza kwammwe.’ Abatume baddamu: ‘Tuteekwa okugondera Katonda ng’omufuzi okusinga abantu.’ N’olwekyo beeyongera okuyigiriza “amawulire amalungi.” Ekyo si kyakulabirako kirungi ffe okugoberera?

Ebikolwa essuula 3 okutuuka ku 5.

Ebibuuzo