Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mu Kkubo Erigenda e Ddamasiko

Mu Kkubo Erigenda e Ddamasiko

OLUGERO 108

Mu Kkubo Erigenda e Ddamasiko

OYO agalamidde wansi omumanyi? Ye Sawulo. Jjukira, ye yakuuma amakooti g’abasajja abaakuba Suteefano amayinja. Laba ekitangaala eky’amaanyi! Kiki ekigenda mu maaso?

Oluvannyuma lw’okuttibwa kwa Suteefano, Sawulo yenyigira mu kunoonya abagoberezi ba Yesu okubayigganya. Agenda nnyumba ku nnyumba n’abakwata n’abasuula mu kkomera. Abayigirizwa bangi baddukira mu bibuga ebirala ne balangiririra eyo “amawulire amalungi.” Naye Sawulo agenda mu bibuga ebirala okunoonya abagoberezi ba Yesu. Kati agenda e Ddamasiko. Naye ng’ali mu kkubo, kino kye kintu ekyewuunyisa ekibaawo:

Amangu ago ekitangaala okuva mu ggulu kyaka awali Sawulo. Agwa wansi, nga bwe tulaba awo. Awo eddoboozi ne ligamba: ‘Sawulo, Sawulo! Lwaki onjigganya?’ Abasajja abali ne Sawulo balaba ekitangaala era ne bawulira n’eddoboozi, naye tebategeera byogerwa.

‘Ggwe ani, Mukama wange?’ bw’atyo Sawulo bw’abuuza.

‘Nze Yesu, gw’oyigganya,’ eddoboozi bwe lityo bwe ligamba. Yesu ayogera bw’ati kubanga Sawulo bw’ayigganya abagoberezi ba Yesu, Yesu awulira nga abayigganya ye kennyini.

Sawulo kati abuuza: ‘Nkole ki, Mukama wange?’

‘Yimuka ogende e Ddamasiko,’ bw’atyo Yesu bw’agamba. ‘Eyo ojja kugambibwa ky’oteekwa okukola.’ Sawulo bw’ayimuka n’agezaako okuzibula amaaso, talina ky’alaba. Amaaso ge gazibye! N’olwekyo abasajja abali naye bamukwata ku mukono ne bamutwala e Ddamasiko.

Kati Yesu ayogera n’omu ku bayigirizwa be mu Ddamasiko, ng’agamba: ‘Ananiya, yimuka. Genda mu kkubo eriyitibwa Eggolokofu. Mu nnyumba ya Yuda buuza omusajja ayitibwa Sawulo. Mmulonze okubeera omuweereza wange ow’enjawulo.’

Ananiya akola kye bamugambye. Bw’asisinkana Sawulo, amuteekako emikono n’amugamba: ‘Mukama waffe antumye oddemu okulaba era ojjuzibwe omwoyo omutukuvu.’ Amangu ago ekintu ekiringa amagamba g’ekyennyanja kiva ku maaso ga Sawulo, era n’addamu okulaba.

Sawulo akozesebwa mu ngeri ey’ekitalo okubuulira abantu ab’amawanga mangi. Afuuka omutume Pawulo, gwe tujja okuyigako ennyo oluvannyuma. Naye ka tusooke tulabe Katonda ky’atuma Peetero okukola.

Ebikolwa 8:1-4; 9:1-20; 22:6-16; 26:8-20.

Ebibuuzo