Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okulindirira mu Yerusaalemi

Okulindirira mu Yerusaalemi

OLUGERO 105

Okulindirira mu Yerusaalemi

ABANTU abali wano bagoberezi ba Yesu. Bamugondedde ne basigala mu Yerusaalemi. Era nga bonna balinda, eddoboozi ery’amaanyi lijjula ennyumba yonna. Liringa okuwuuma kw’empewo ey’amaanyi. Awo olulimi lw’omuliro ne lulabika ku buli mutwe gw’omuyigirizwa. Oyinza okulaba olulimi lw’omuliro ku buli omu? Bino byonna bitegeeza ki?

Kyamagero! Yesu ali mu ggulu ne Kitaawe, era afuka omwoyo gwa Katonda omutukuvu ku bagoberezi be. Omanyi omwoyo guno kye gubaleetera okukola? Bonna batandika okwogera mu nnimi ez’enjawulo.

Abantu bangi mu Yerusaalemi bawulira eddoboozi eriringa okuwuuma kw’empewo ey’amaanyi, era bajja okulaba ekigenda mu maaso. Abamu ku bantu abo bava mu mawanga amalala era bazze wano ku mbaga y’Abaisiraeri eya Pentekoote. Ng’abagenyi bano beewuunya nnyo! Bawulira abayigirizwa nga boogera mu nnimi zaabwe ebintu eby’ekitalo Katonda by’akoze.

‘Abantu bano bonna bava mu Ggaliraaya,’ bwe batyo abagenyi bwe bagamba. ‘Kati olwo, basobola batya okwogera mu nnimi zino ez’enjawulo ez’amawanga gye tuva?’

Kati Peetero ayimirira okubannyonnyola. Akangula ku ddoboozi lye n’abuulira abantu engeri Yesu gye yattibwamu era nti Yakuwa yamuzuukiza okuva mu bafu. ‘Kati Yesu ali mu ggulu ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,’ bw’atyo Peetero bw’agamba. ‘Era afuse omwoyo omutukuvu guno ogwasuubizibwa. Eyo ye nsonga lwaki mulabye era ne muwulira ebyamagero bino.’

Peetero bw’ayogera ebintu bino, abantu bangi banakuwala olw’ebyo bye baakola Yesu. ‘Tukole ki?’ bwe batyo bwe babuuza. Peetero abagamba: ‘Mwetaaga okukyusa obulamu bwammwe mubatizibwe.’ N’olwekyo ku lunaku olwo lwennyini abantu nga 3,000 babatizibwa ne bafuuka abagoberezi ba Yesu.

Ebikolwa 2:1-47.

Ebibuuzo