Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omulenzi Eyakwatibwa Otulo

Omulenzi Eyakwatibwa Otulo

OLUGERO 111

Omulenzi Eyakwatibwa Otulo

OO! OO! Kiki ekigenda mu maaso wano? Omulenzi oyo ali wansi alumiziddwa nnyo? Laba! Omu ku basajja abafuluma mu nnyumba ye Pawulo! Timoseewo naye osobola okumulaba? Omulenzi yagudde okuva mu ddirisa?

Yee, ekyo kye kyaliwo. Pawulo yali awa emboozi abayigirizwa abali wano mu Tulowa. Yali amanyi nti ajja kulwawo okuddamu okubalaba kubanga olunaku oluddako yali agenda kulinnya lyato. N’olwekyo yeeyongera okwogera okutuuka mu ttumbi.

Omulenzi ono ayitibwa Yutuko yali atudde ku ddirisa, era n’akwatibwa otulo. Yawanuka ku ddirisa ku kalina ey’okusatu n’agwa wansi! N’olwekyo oyinza okutegeera lwaki abantu balabika nga beeraliikirivu nnyo. Abasajja bwe basitula omulenzi, kye babadde basuubira kye kibaddewo. Afudde!

Pawulo bw’alaba nti omulenzi afudde, amwebakako era n’amuwambaatira. Awo n’agamba: ‘Temweraliikirira. Mulamu!’ Era mazima ddala mulamu! Kyamagero! Pawulo amukomezzaawo mu bulamu! Ekibiina ky’abantu kisanyuka nnyo.

Bonna baddayo waggulu ne balya emmere. Pawulo ayongera okwogera okutuusa obudde bwe bukya. Naye oyinza okuba omukakafu nti Yutuko taddamu kwebaka! Awo Pawulo, Timoseewo n’abo be batambula nabo balinnya eryato. Omanyi gye bagenda?

Pawulo amalirizza olugendo lwe olw’okusatu, era addayo ka. Ku lugendo luno Pawulo yamala emyaka esatu mu kibuga kya Efeso. N’olwekyo olugendo luno luwanvu okusinga olugendo lwe olw’okubiri.

Bw’ava e Tulowa, eryato liyimirirako e Mireto. Okuva Efeso bwe kiri mayiro ntono okuva wano, Pawulo atumya abakadde b’omu kibiina ekyo bajje e Mireto asobole okwogera nabo omulundi ogusembayo. Oluvannyuma, ng’ekiseera kituuse eryato okugenda, nga banakuwala nnyo okulaba nga Pawulo agenda!

Kulwaddaaki, eryato likomawo e Kayisaliya. Nga Pawulo ali wano mu nnyumba y’omuyigirizwa Firipo, nnabbi ayitibwa Agabo alabula Pawulo. Agamba nti Pawulo ajja kusibibwa mu kkomera ng’agenze e Yerusaalemi. Era mazima ddala ekyo kye kibaawo. Awo, oluvannyuma lw’okubeera mu kkomera emyaka ebbiri mu Kayisaliya, Pawulo asindikibwa e Rooma okuwozesebwa mu maaso ga Kayisaali omufuzi Omuruumi. Ka tulabe ekibaawo ng’agenda e Rooma.

Ebikolwa essuula 19 okutuuka ku 26.

Ebibuuzo