ESSUULA EY’OKUSATU
Ebisumuluzo Ebibiri eby’Obufumbo Obuwangaazi
1, 2. (a) Obufumbo bwakolebwa nga bwa kumala bbanga ki? (b) Kino kisoboka kitya?
KATONDA bwe yagatta omusajja n’omukazi abaasooka mu bufumbo, tewaaliwo kintu kyonna kiraga nti obufumbo bwabwe bwali bwa kubeera bwa kaseera buseera. Adamu ne Kaawa baali ba kubeera wamu obulamu bwabwe bwonna. (Olubereberye 2:24) Omutindo gwa Katonda ogw’obufumbo obw’ekitiibwa kwe kugattibwa kw’omusajja omu n’omukazi omu. Bwenzi bwokka nga bukoleddwa omu ku bafumbo oba bombi bwe businziirwako mu Byawandiikibwa okugattulula abafumbo ne kiba nga kisoboka okuyingira obufumbo obulala.—Matayo 5:32.
2 Kisoboka abantu ababiri okubeera awamu nga basanyufu okumala ebbanga eggwanvu? Yee, era Baibuli eraga ebintu bibiri ebikulu, oba ebisumuluzo bibiri, ebisobozesa kino. Singa bombi omwami n’omukyala babikozesa, bajja kufuna essanyu n’emikisa mingi. Ebisumuluzo bino bye biruwa?
EKISUMULUZO EKISOOKA
3. Bika ki ebisatu eby’okwagala ebiteekwa okukulaakulanyizibwa abafumbo?
3 Ekisumuluzo ekisooka kwe kwagala. Kirungi okukimanya nti waliwo ebika eby’enjawulo eby’okwagala ebyogerwako mu Baibuli. Ekisooka, gwe mukwano ogw’oku lusegere gw’olaga omuntu, okwagala okubaawo wakati w’ab’omukwano. (Yokaana 11:3) Ekika ekirala, kwe kwagala okubaawo wakati w’abantu ab’omu maka agamu. (Abaruumi 12:10) Eky’okusatu, kwe kwagalana okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi. (Engero 5:15-20) Kya lwatu, ebika bino byonna eby’okwagala biteekwa okukulaakulanyizibwa omwami n’omukyala. Naye waliwo ekika eky’okuna eky’okwagala, ekisinga ebirala byonna obukulu.
4. Ekika ky’okwagala eky’okuna kye kiruwa?
4 Mu lulimi olwasooka olw’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani, ekika kino eky’okwagala eky’okuna kiyitibwa a·gaʹpe. Ekigambo ekyo kikozesebwa mu 1 Yokaana 4:8, we tugambibwa nti: “Katonda kwagala.” Mazima ddala, “twagala, kubanga [Katonda] ye yasooka okutwagala.” (1 Yokaana 4:19) Omukristaayo asooka kukulaakulanya okwagala kuno eri Yakuwa Katonda n’oluvannyuma eri bantu banne. (Makko 12:29-31) Ekigambo a·gaʹpe era kikozesebwa mu Abeefeso 5:2, awagamba nti: “Mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwa yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe.” Yesu yagamba nti okwagala okw’engeri eno kwandyawuddewo abagoberezi be ab’amazima: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana [a·gaʹpe] mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Weetegereze era, enkozesa ya a·gaʹpe mu 1 Abakkolinso 13:13: “Waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala [a·gaʹpe].”
5, 6. (a) Lwaki okwagala kukulu okusinga okukkiriza n’okusuubira? (b) Ezimu ku nsonga lwaki okwagala kujja kuyamba obufumbo okuwangaala ze ziruwa?
5 Kiki ekifuula okwagala kuno okwa a·gaʹpe okuba okukulu okusinga okukkiriza n’essuubi? Kugoberera misingi—emisingi emituufu—egisangibwa mu Kigambo kya Katonda. (Zabbuli 119:105) Kwe kukolera abantu abalala ebituufu era ebirungi ebisiimibwa Katonda awatali kwerowoozaako fekka, ka kibe ng’oyo gwe tubikolera birabika nga bimusaanira oba nedda. Okwagala ng’okwo kusobozesa abafumbo okugoberera okubuulirira kwa Baibuli: “Muzibiikirizagan[e]nga, era . . . musonyiwagan[e]nga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo.” (Abakkolosaayi 3:13) Abafumbo abaagalana bakulaakulanya ‘okwagala okungi ennyo [a·gaʹpe] buli omu eri munne, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.’ (1 Peetero 4:8) Weetegereze nti okwagala kubikka ku bisobyo. Tekubimalawo, okuva bwe wataliwo muntu mutuukirivu atasobya.—Zabbuli 130:3, 4; Yakobo 3:2.
6 Abafumbo bombi bwe bakulaakulanya okwagala okulinga okwo eri Katonda era buli omu eri munne, obufumbo bwabwe bujja kuwangaala era bujja kuba bwa ssanyu, kubanga “okwagala tekulemererwa.” (1 Abakkolinso 13:8, NW) Okwagala “kye kintu ekinyweza okutuukirira.” (Abakkolosaayi 3:14) Bw’oba ng’oli mufumbo, ggwe ne munno, musobola mutya okukulaakulanya okwagala okw’engeri eno? Musomere wamu Ekigambo kya Katonda, era mukikubaganyeko ebirowoozo. Mwekenneenye ekyokulabirako kya Yesu eky’okwagala era mugezeeko okumukoppa, okulowooza, n’okweyisa nga ye. Okwongereza ku ebyo, mubeerengawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, Ekigambo kya Katonda gye kiyigiririzibwa. Era musabe Katonda abawe obuyambi musobole okukulaakulanya okwagala kuno okw’ekika ekya waggulu, ekibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu.—Engero 3:5, 6; Yokaana 17:3; Abaggalatiya 5:22; Abebbulaniya 10:24, 25.
EKISUMULUZO EKY’OKUBIRI
7. Okuwa ekitiibwa kye ki, era ani eyandiwadde munne ekitiibwa mu bufumbo?
7 Singa abantu babiri abafumbo baagalanira ddala, era bajja kuwaŋŋana ekitiibwa, ate ng’okuwa ekitiibwa kye kisumuluzo eky’okubiri eky’obufumbo obw’essanyu. Okuwa ekitiibwa kunnyonnyolwa nga “okufaayo ku balala, okubatwala nga ba waggulu.” Ekigambo kya Katonda kibuulirira Abakristaayo bonna, nga mw’otwalidde n’abaami n’abakyala abafumbo: “Mu kuwaŋŋana ekitiibwa gw’oba okulembera.” (Abaruumi 12:10, NW) Omutume Peetero yawandiika: “Abasajja, mubeerenga [ne bakyala] bammwe n’amagezi, nga mussangamu ekitiibwa [omukyala] ng’ekibya ekisinga obunafu.” (1 Peetero 3:7) Omukyala abuulirirwa ‘okuwa ennyo bba ekitiibwa.’ (Abeefeso 5:33, NW) Bw’oba oyagala okuwa omuntu ekitiibwa, oba wa kisa gy’ali, ossa ekitiibwa mu kifo kye ne by’ayogera, era oba mwetegefu okukola ekintu kyonna ekisaanira ky’akusaba.
8-10. Mu ngeri ki okuwa ekitiibwa gye kuyamba okufuula obufumbo obutebenkevu era obw’essanyu?
8 Abo abaagala okubeera n’obufumbo obw’essanyu bawa bannaabwe mu bufumbo ekitiibwa nga “[tebatunuulira] buli muntu ebibye yekka, era naye buli muntu [n’ebya munne].” (Abafiripi 2:4) Tebalowooza ku kirungi eri bo bokka—ekyandibadde okwefaako bokka. Wabula, balowooza ku kinaasingayo obulungi eri bannaabwe mu bufumbo. Ddala ddala, ekyo kye bakulembezaamu.
9 Okuwaŋŋana ekitiibwa kujja kuyamba abafumbo okukkiriza nti balina endowooza za njawulo. Tekiba kituufu kusuubira bantu babiri okuba n’endowooza ezifaanana ku buli kintu. Ekiyinza okuba ekikulu eri omwami kiyinza obutaba kikulu eri omukyala, ate omukyala ky’ayagala omwami ayinza okuba takyagala. Naye buli omu yandiwadde endowooza za munne ekitiibwa era n’ebyo by’ayagala, kasita bino biba nga biri bumu n’amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye. (1 Peetero 2:16; geraageranya Firemooni 14.) Ate era, buli omu alina okuwa munne ekitiibwa nga tamwogerako bintu biweebuula oba okumusaagirako mu ngeri etyoboola, ka kibe mu bantu oba nga bali bokka.
10 Yee, okwagala Katonda n’okwagalana era n’okuwaŋŋana ekitiibwa bye bisumuluzo ebibiri ebikulu eby’obufumbo obulungi. Biyinza kukozesebwa bitya mu bimu ku bitundu ebisingayo obukulu mu bufumbo?
OBUKULEMBEZE OBULINGA OBWA KRISTO
11. Okusinziira mu Byawandiikibwa, ani mutwe mu bufumbo?
11 Baibuli etutegeeza nti omusajja yatondebwa ng’alina engeri ezandimufudde omutwe gw’amaka omulungi. Ng’omutwe gw’amaka, omusajja avunaanyizibwa eri Yakuwa okulabirira obulungi mukyala we n’abaana be mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. Alina okusalawo mu ngeri etagudde lubege etuukagana ne Yakuwa ky’ayagala era n’okubeera ekyokulabirako ekirungi mu mpisa ez’okutya Katonda. “Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekkanisa.” (Abeefeso 5:22, 23) Kyokka, Baibuli egamba nti n’omusajja naye alina omutwe, Oyo amulinako obuyinza. Omutume Pawulo yawandiika: “Naye njagala mmwe okumanya ng’omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Abakkolinso 11:3) Omwami ow’amagezi ayiga engeri y’okukulemberamu amaka ge ng’akoppa omutwe gwe, Kristo Yesu.
12. Kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yateekawo mu kulaga obuwulize n’okukozesa obukulembeze?
12 Yesu naye alina omutwe, Yakuwa, era amugondera. Yesu yagamba: “Sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.” (Yokaana 5:30) Nga kyakulabirako kirungi nnyo! Yesu ye “mubereberye ow’ebitonde byonna.” (Abakkolosaayi 1:15) Yafuuka Masiya. Yali wa kuba Mutwe gwa kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta era Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ng’asinga bamalayika bonna. (Abafiripi 2:9-11; Abebbulaniya 1:4) Wadde nga yalina ekifo ekya waggulu bwe kityo n’essuubi ery’ekitalo, omusajja Yesu teyali mukambwe, mukakanyavu, oba wa ffugabbi. Teyali nnaakyemalira, ng’ajjukiza abayigirizwa be buli kiseera nga bwe balina okumugondera. Yesu yalaganga okwagala era yali wa kisa, naddala eri abaali banyigirizibwa. Yagamba: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu mwoyo gyammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.” (Matayo 11:28-30) Kyabanga kya ssanyu okuba w’ali.
13, 14. Omwami omwagazi akozesa atya obukulembeze bwe, ng’akoppa Yesu?
13 Omwami ayagala okuba n’obulamu bw’amaka obw’essanyu asaanidde okulowooza ku ngeri za Yesu ennungi. Omwami omulungi taba mukambwe oba wa ffugabbi, ng’akozesa obukulembeze bwe mu ngeri embi enyigiriza mukyala we. Wabula, amwagala era amuwa ekitiibwa. Obanga Yesu yali “muwombeefu mu mutima,” omwami aba ateekwa buteekwa okulaga obuwombeefu, kubanga ye ate obutafaananako Yesu, asobya. Bw’aba ng’asobezza,
aba yeetaaga obusaasizi bwa mukyala we. N’olwekyo, omwami omuwombeefu akkiriza ensobi ze, wadde ng’ebigambo nti, “Nsonyiwa; wali mutuufu,” biyinza okuba ebizibu okwogera. Omukyala ajja kukisanga nga kyangu okussa ekitiibwa mu bukulembeze bw’omwami omwetoowaze era omuwombeefu okusinga oyo ow’amalala era ow’amawaggali. Mu ngeri y’emu, n’omukyala awa omwami we ekitiibwa yeetonda bw’aba mu nsobi.14 Katonda yatonda omukazi ng’alina engeri ennungi z’ayinza okukozesa okuleetawo essanyu mu bufumbo. Omwami ow’amagezi kino ajja kukitegeera era tajja kumukugira. Abakazi bangi batera okuba n’obusaasizi era n’okulumirirwa abalala, engeri ezeetaagibwa mu kulabirira amaka ne mu kunyweza enkolagana n’abantu abalala. Emirundi egisinga, omukazi aba amanyi bulungi engeri y’okulabiriramu awaka ne kiba ekifo ekisanyusa okubeeramu. “Omukazi omwegendereza” ayogerwako mu Engero essuula 31 yalina engeri ennungi nnyingi nnyo era n’ebirabo eby’ekitalo, n’amaka ge gaaganyulwa nnyo. Lwaki? Kubanga omutima gwa bba “gumwesiga.”—Engero 31:10, 11.
15. Okufaananako Kristo, omwami ayinza atya okulaga okwagala n’okuwa mukyala we ekitiibwa?
15 Mu mpisa z’amawanga agamu, obuyinza bw’omwami buba bwa nsusso, ne kiba nti n’okumubuuza obubuuza ekibuuzo kitwalibwa nga okumunyooma. Ayinza okuyisa mukyala we ng’omuddu. Okukozesa obuyinza mu ngeri embi bw’etyo tekwonoona nkolagana ye na mukyala we yokka naye era n’enkolagana ye ne Katonda. (Geraageranya 1 Yokaana 4:20, 21.) Ku luuyi olulala, abaami abamu balagajjalira obuvunaanyizibwa bwabwe, ne balekera bakyala baabwe okutwala obukulembeze mu maka. Omwami agondera Kristo obulungi tayisa bubi mukyala we oba okumutyoboola. Wabula, akoppa okwagala kwa Yesu okw’okwefiiriza n’akola nga Pawulo bwe yabuulirira: “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo.” (Abeefeso 5:25) Kristo Yesu yayagala nnyo abagoberezi be n’atuuka n’okubafiirira. Omwami omulungi ajja kugezaako okukoppa endowooza eyo ey’obuteefaako yekka, ng’afaayo ku mukyala we, mu kifo ky’okumunyigiriza. Omwami bw’agondera Kristo era n’ayoleka okwagala n’ekitiibwa nga Kristo, mukyala we ajja kwagala okumugondera.—Abeefeso 5:28, 29, 33.
OBUWULIZE BW’OMUKYALA
16. Ngeri ki omukyala ze yandiraze ng’akolagana n’omwami we?
16 Nga wayiseewo ekiseera oluvannyuma lw’okutondebwa kwa Adamu, “Yakuwa Katonda n’ayogera nti: ‘Si kirungi omusajja okubeera yekka. Ŋŋenda kumukolera omubeezi, omujjuuliriza.’” (Olubereberye 2:18, NW) Katonda yatonda Kaawa nga “omujjuuliriza” so si ng’omuvuganya. Obufumbo tebwali bwa kubeera nga mmeeri erimu abagoba ababiri abavuganya. Omwami yali wa kukozesa obukulembeze mu ngeri ey’okwagala, ate omukyala yali alina okulaga okwagala, okuwa ekitiibwa n’okuba omuwulize.
17, 18. Mu ngeri ki omukyala mw’ayinza okubeera omubeezi omulungi eri omwami we?
17 Kyokka, omukyala omulungi taba muwulize kyokka. Agezaako okubeera omubeezi omulungi, okuwagira omwami we mu ebyo by’aba asazeewo. Kya lwatu, ekyo kiba kyangu bw’aba ng’akkiriziganya n’omwami we by’asazeewo. Naye ne bw’aba takkiriziganya nabyo, bw’amuwagira, omwami ky’aba asazeewo kiyinza okuvaamu ebirungi.
18 Omukyala ayinza okuyamba omwami we okuba omukulembeze omulungi mu ngeri endala. Ayinza okusiima omwami we by’akola mu kukulembera amaka, mu kifo ky’okumuvumirira oba okumuleetera okulowooza nti talina ky’akola kisobola kumusanyusa. Mu kukolagana n’omwami we mu ngeri ezimba, alina okujjukira nti ‘omwoyo omuwombeefu era omuteefu, gwa muwendo mungi mu maaso ga Katonda,’ si mu maaso ga mwami we 1 Peetero 3:3, 4; Abakkolosaayi 3:12) Kiba kitya singa omwami si mukkiriza? K’abe mukkiriza oba nedda, Ebyawandiikibwa bikubiriza abakyala “okwagalanga babbaabwe, okwagalanga abaana baabwe, okwegenderezanga, okuba n’obulongoofu, okukolanga emirimu mu nnyumba zaabwe, okuba n’ekisa, okugonderanga babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvumibwa.” (Tito 2:4, 5) Singa wabaawo ebirina okusalibwawo okusinziira ku muntu ow’omunda, kiba kyangu omwami atali mukkiriza okussa ekitiibwa mu ndowooza ya mukyala we singa omukyala agireeta mu ngeri ‘y’obuteefu n’ekitiibwa.’ Abaami abamu abatali bakkiriza ‘bafuniddwa awatali kigambo olw’empisa za bakyala baabwe; bwe balabye empisa zaabwe ennongoofu era nga babawa ekitiibwa.’—1 Peetero 3:1, 2, 15; 1 Abakkolinso 7:13-16.
gokka. (19. Kiba kitya singa omwami agamba omukyala we okumenya etteeka lya Katonda?
19 Kiba kitya singa omwami agamba mukyala we okukola ekintu Katonda ky’agaana? Ekyo bwe kibaawo, omukyala ateekwa okujjukira nga Katonda ye Mufuzi we ow’oku ntikko. Agoberera ekyo abatume kye baakola bwe baalagirwa ab’obuyinza okumenya etteeka lya Katonda. Ebikolwa 5:29 lugamba: “Peetero n’abatume ne baddamu ne bagamba nti Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.”
EMPULIZIGANYA ENNUNGI
20. Mu kintu ki ekikulu okwagala n’okussiŋŋanamu ekitiibwa mwe byetaagibwa?
20 Okwagala n’okuwaŋŋana ekitiibwa byetaagisa ne mu kintu ekirala mu bufumbo—empuliziganya. Omwami omwagazi anyumya ne mukyala we ku ebyo omukyala by’akola, ebizibu bye, ne ku ndowooza ye ku nsonga ezitali zimu. Omukyala kino akyetaaga. Omwami afunawo ekiseera okwogera ne mukyala we era n’awuliriza ddala ebyo by’ayogera aba alaga nti ayagala mukyala we era amussaamu ekitiibwa. (Yakobo 1:19) Abakyala abamu beemulugunya nti abaami baabwe bamala ebiseera bitono nga banyumya nabo. Ekyo kya nnaku. Kya mazima, mu biseera bino eby’okukakaalukana, abaami bayinza okumala ebiseera biwanvu nga bakola ebweru w’amaka, n’embeera z’eby’enfuna nazo ziyinza okuwaliriza abakyala okuba n’emirimu ebweru w’amaka. Naye abafumbo beetaaga okufunawo ekiseera babeereko bombi. Bwe kitaba kityo, buli omu ayinza okutandika okwekolera ebibye. Kino kiyinza okuvaako ebizibu ebitagambika singa bawalirizibwa okufunayo ow’omukwano abafaako ebweru w’enteekateeka y’obufumbo.
21. Enjogera entuufu eyamba etya okukuuma obufumbo nga bwa ssanyu?
21 Empuliziganya eriwo wakati w’abakyala n’abaami nayo nkulu. “Ebigambo ebisanyusa . . . biwoomera emmeeme, era bwe bulamu eri amagumba.” (Engero 16:24) Munno mu bufumbo k’abe nga mukkiriza oba nedda, okubuulirira kwa Baibuli kukukwatako: “Ebigambo byammwe bibeerenga n’ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo,” amakulu nti, nga birungi okuwulira. (Abakkolosaayi 4:6) Omu olunaku bwe luba lumugendedde bubi, ebigambo ebitonotono, eby’ekisa ebyogeddwa munne mu bufumbo bikola kinene. “Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye kiri ng’amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.” (Engero 25:11) Eddoboozi n’ebigambo by’okozesa bikulu ddala. Ng’ekyokulabirako, oli ayinza okulagira munne mu ddoboozi ery’ekkayu: “Ggalawo oluggi olwo!” Naye ate ng’ebigambo bino biba ‘binoze bulungi omunnyo’ oli bw’agamba munne mu ddoboozi ery’ekimpowooze, “Mwattu, oyinza okuggalawo ku luggi olwo?”
22. Abafumbo beetaaga ndowooza ki okusobola okuba n’empuliziganya ennungi?
22 Empuliziganya ennungi yeeyongera bwe wabaawo ebigambo ebyogerwa n’eggonjebwa, okutunuuligana n’essanyu era n’ebikolwa ebyoleka omukwano, ekisa, okutegeera, era n’obukwata mpola. Bwe bafuba okukuuma empuliziganya ennungi, bombi omwami n’omukyala buli omu ajja kumanyisa munne bye yeetaaga awatali kutya 1 Abassessalonika 5:14) Wajja kubaawo ebiseera omwami lw’anaaba aweddemu amaanyi ate n’ebiseera omukyala lw’aba bw’atyo. Buli omu ayinza ‘okugumya’ munne era n’okumuzimba.—Abaruumi 15:2.
kwonna era buli omu asobola okubudaabuda munne n’okumuyamba mu kiseera eky’ennaku oba eky’okunyigirizibwa. “Mugumyenga abalina omwoyo omunafu,” bwe kityo bwe kikubiriza Ekigambo kya Katonda. (23, 24. Okwagala n’okuwaŋŋana ekitiibwa biyamba bitya bwe wabaawo obutategeeragana? Wa ekyokulabirako.
23 Abafumbo abooleka okwagala era abawaŋŋana ekitiibwa tebajja kutwala obutategeeragana bwe baba bafunyewo okuba ekizibu ekinene. Bajja kukola n’amaanyi buli omu aleme ‘okusunguwalira ennyo’ munne. (Abakkolosaayi 3:19, NW) Bombi basaanidde okujjukira nti “okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.” (Engero 15:1) Weegendereze obutanyooma oba okuvumirira munno ng’ayogedde ekimuli ku mutima. Mu kifo ky’okukola bw’otyo, by’ayogedde byeyambise okutegeera ky’alowooza. Nga mukolera wamu, mugezeeko okumalawo enjawukana mutuuke ku kukkaanya.
24 Jjukira omulundi Saala lwe yaleeta ekirowoozo eri bba, Ibulayimu, ku ky’okukola okusobola okumalawo ekizibu ekyaliwo kyokka ne kitakwatagana na ndowooza ya bba. Kyokka, Katonda yagamba Ibulayimu: ‘Wulira eddoboozi lye.’ (Olubereberye 21:9-12) Ibulayimu bw’atyo bwe yakola, era yaweebwa omukisa. Mu ngeri y’emu, singa omukyala aleeta ekirowoozo eky’enjawulo ku ky’omwami, omwami asaanidde okuwuliriza. Mu kiseera kye kimu, omukyala tasaanidde kwefuga mboozi naye asaanidde okuwuliriza omwami we ky’ayogera. (Engero 25:24) Omwami oba omukyala bw’agugubira ku kikye buli kiseera, tekiba kya kwagala era aba tawadde munne kitiibwa.
25. Empuliziganya ennungi eyongera etya essanyu mu nsonga ez’oku lusegere ennyo mu bulamu bw’obufumbo?
25 Empuliziganya ennungi era nkulu ne mu nsonga 1 Abakkolinso 7:3-5; 10:24.
ez’okwetaba. Okwerowoozaako wekka n’obuteefuga biyinza okwonoona enkolagana eno esingayo okuba ey’oku lusegere mu bufumbo. Empuliziganya ennungi, n’obugumiikiriza bikulu nnyo. Buli omu, bw’aba afaayo ku munne, okwetaba tekutera kuba kizibu kya maanyi. Mu kino ne mu nsonga endala, “omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne.”—26. Yadde nga buli bufumbo buba n’ebizibu byabwo, okuwuliriza Ekigambo kya Katonda kuyamba kutya abafumbo okufuna essanyu?
26 Nga Ekigambo kya Katonda kiwa okubuulirira kulungi nnyo! Kituufu, buli bufumbo bubaamu ebirungi n’ebibi. Naye abafumbo bwe bagoberera endowooza ya Yakuwa, nga bw’ebikkulibwa mu Baibuli, ne beesigamya enkolagana yaabwe ku kwagala n’okuwaŋŋana ekitiibwa, bayinza okuba n’obwesige nti obufumbo bwabwe bujja kuba buwangaazi era bwa ssanyu. Mu ngeri eno tebajja kukoma ku kuwaŋŋana kitiibwa bokka naye era bajja kuweesa ekitiibwa oyo Eyatandikawo obufumbo, Yakuwa Katonda.