Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’EMU

Kuuma Emirembe mu Maka Go

Kuuma Emirembe mu Maka Go

1. Ebimu ku bintu ebiyinza okuleetawo enjawukana mu maka bye biruwa?

BALINA essanyu abo abali mu maka omuli okwagala, okutegeeragana n’emirembe. Oboolyawo, n’agago bwe gali bwe gatyo. Eky’ennaku, amaka mangi tegali bwe gatyo era galimu enjawukana olw’ensonga ezitali zimu. Kiki ekireetawo enjawukana mu maka? Mu ssuula eno tujja kwogera ku bintu bisatu. Mu maka agamu, abagalimu tebakkiririza mu ddiini emu. Mu malala, abaana bayinza okuba n’abazadde ba njawulo. Ate era mu malala, obuzibu bw’okweyimirizaawo oba okwagala okufuna ebintu ebingi kuyinza okwawukanya ab’omu maka. Kyokka, embeera ezaawukanya amaka agamu ziyinza obutawukanya malala. Kiki ekireetawo enjawulo?

2. Abamu banoonyeza wa obulagirizi obukwata ku bulamu bw’amaka, naye ensibuko esingayo obulungi ey’obulagirizi ng’obwo yeruwa?

2 Endowooza y’omuntu, y’emu ku nsonga ezivaako ekyo. Singa ogezaako okutegeera endowooza y’omuntu omulala, kijja kukwanguyira okumanya engeri y’okukuumamu amaka nga gali bumu. Ensonga ey’okubiri ye nsibuko y’obulagirizi bwo. Abantu bangi bagoberera amagezi agabaweebwa abo be bakola nabo ku mirimu, baliraanwa, abawandiisi b’omu mpapula z’amawulire oba abantu abalala. Kyokka, abamu bazudde ekyo Ekigambo kya Katonda kye kyogera ku mbeera yaabwe, ne bagoberera bye bayize. Okukola kino kiyinza kitya okuyamba ab’omu maka okukuuma emirembe mu maka gaabwe?​—2 Timoseewo 3:16, 17.

SINGA OMWAMI WO ALINA ENZIKIRIZA YA NJAWULO

3. (a) Baibuli ewa kubuulirira ki okukwata ku kuwasa omuntu ow’enzikiriza endala? (b) Misingi ki emikulu egiyamba singa omu ku bafumbo aba mukkiriza ate nga munne tali?

3 Baibuli evumirira okufumbiriganwa n’omuntu ow’enzikiriza endala. (Ekyamateeka 7:3, 4; 1 Abakkolinso 7:39) Kyokka, kikyayinzika okuba nga wayiga amazima okuva mu Baibuli nga wamala dda okufumbirwa, kyokka omwami wo n’agagaana. Kati olwo kiki ky’osaanidde okukola? Kya lwatu ng’ebirayiro by’obufumbo bikyakufuga. (1 Abakkolinso 7:10) Baibuli eggumiza nti obufumbo bwa lubeerera era ekubiriza abafumbo okugonjoola obutategeeragana bwe baba nabwo so si kubwebalama. (Abeefeso 5:28-31; Tito 2:4, 5) Naye, kiba kitya singa omwami wo takukkiririza ddala kugoberera ddiini ekkiririza mu Baibuli? Ayinza okugezaako okukuziyiza okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina, oba ayinza okugamba nti ye tayagala mukyala we kugenda nju ku nju ng’ayogera ku by’eddiini. Onookola otya?

4. Omukyala ayinza atya okweteeka mu mbeera y’omwami we singa tebali bumu mu kukkiriza?

4 Weebuuze, ‘Lwaki omwami wange yeeyisa bw’atyo?’ (Engero 16:20, 23) Bw’aba tategeerera ddala ky’okola, ayinza okweraliikirira ku lulwo. Oba ayinza okupikirizibwa ab’eŋŋanda ze olw’okuba tokyenyigira mu bulombolombo obumu bwe batwala nga bukulu. “Ng’andeseewo nzekka mu nnyumba, nnawulira nga njabuliddwa,” bw’atyo omwami omu bwe yagamba. Omusajja ono yawulira nga eddiini yali emututteko mukyala we. Naye amalala gaamulemesa okukkiriza nti yali awulira ekiwuubaalo. Omwami wo ayinza okuba yeetaaga kumukakasa nti okwagala Yakuwa tekitegeeza nti okwagala kwe walina gy’ali kukendedde. Funa ebiseera okubeerako naye.

5. Omukyala alina omwami ow’enzikiriza endala ayinza atya obutagwa lubege?

5 Kyokka, waliwo ekintu ekisingako obukulu ky’olina okulowoozaako okusobola okwaŋŋanga embeera eyo mu ngeri ey’amagezi. Ekigambo kya Katonda kikubiriza abakyala: “Muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe.” (Abakkolosaayi 3:18) Mu ngeri eno, kirabula ku mwoyo ogwa kyetwala. Ate era, bwe kigamba nti “nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe,” ekyawandiikibwa kino kiraga nti mu kugondera omwami wo oba olina n’okugondera Mukama waffe. Tolina kugwa lubege.

6. Misingi ki omukyala Omukristaayo gy’alina okujjukira?

6 Eri Omukristaayo, okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina n’okubuulira abalala ku nzikiriza ye eyeesigamye ku Baibuli bitundu bikulu eby’okusinza okw’amazima ebitalina kulagajjalirwa. (Abaruumi 10:9, 10, 14; Abebbulaniya 10:24, 25) Olwo, wandikoze otya singa omuntu akulagira obutagoberera ekimu ku ebyo Katonda by’akulagira? Abatume ba Yesu Kristo baagamba: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.” (Ebikolwa 5:29) Ekyokulabirako kyabwe kisobola okugobererwa mu mbeera nnyingi ez’obulamu. Okwagala kw’olina eri Yakuwa kunaakuleetera okumulaga obuwulize obulina okumuweebwa? Ku kiseera kye kimu, okwagala kw’olina eri omwami wo n’ekitiibwa ky’omuwa binaakuleetera okukola kino mu ngeri eteenyiiza mwami wo?​—Matayo 4:10; 1 Yokaana 5:3.

7. Bumalirivu ki omukyala Omukristaayo bw’asaanidde okuba nabwo?

7 Yesu yalaga nga kino kiyinza obutasoboka ebiseera byonna. Yalabula nti olw’okuziyizibwa kw’okusinza okw’amazima, abakkiriza mu maka agamu bandiwulidde nga abasaliddwako okuva ku b’omu maka abalala n’ekitala. (Matayo 10:34-36) Omukazi omu mu Japan kino kyamutuukako. Yaziyizibwa omwami we okumala emyaka 11. Yamuyisanga bubi nnyo era ng’atera okumusibira ebweru. Naye omukyala ono yagumiikiriza. Ab’emikwano mu kibiina Ekikristaayo baamuyamba. Yasabanga obutayosa era n’azzibwamu nnyo amaanyi 1 Peetero 2:20. Omukazi ono Omukristaayo yali mugumu nti bwe yandisigadde nga munywevu, lwandibadde lumu omwami we yandimwegasseko mu kuweereza Yakuwa. Era yamwegattako.

8, 9. Omukyala asaanidde kweyisa atya aleme kuteerawo mwami we nkonge yonna?

8 Waliwo ebintu bingi by’oyinza okukola okukyusa endowooza ya munno mu bufumbo. Ng’ekyokulabirako, singa omwami wo tasemba ddiini yo, tokola bintu ebinaamuleetera okwemulugunya. Kuuma awaka nga wayonjo. Faayo ku ndabika yo. Mulage okwagala n’okusiima. Mu kifo ky’okumuvumirira, muwagire. Mulage nti ossa ekitiibwa mu bukulembeze bwe. Bw’owulira nti alina ekikyamu ky’akukoze, teweesasuza. (1 Peetero 2:21, 23) Olina okumanya nti munno si mutuukirivu, era singa wabaawo obutategeeragana, ggwe oba osooka okumwetondera.​—Abeefeso 4:26.

9 Okubeerawo kwo mu nkuŋŋaana kuleme kubeera kyekwaso eky’okulwisa emmere ye. Oyinza n’okusalawo okwenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo ebiseera ebyo omwami wo by’atabeera waka. Tekiba kya magezi omukyala Omukristaayo okubuulira bba bw’aba nga bba takyagala. Mu kifo ky’ekyo, omukyala agoberera okubuulirira kw’omutume Peetero: “Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe; bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez’okutya.” (1 Peetero 3:1, 2) Abakyala Abakristaayo munyiikirire okwolesa ebibala by’omwoyo gwa Katonda mu bujjuvu.​—Abaggalatiya 5:22, 23.

OMUKYALA BW’ATABA MUKRISTAAYO

10. Omwami omukkiriza yandiyisizza atya mukyala we singa enzikiriza y’omukyala eba ya njawulo ku yiye?

10 Kiba kitya singa omwami ye Mukristaayo nga omukyala y’atali? Baibuli ewa obulagirizi ku mbeera ng’eyo. Egamba: “Ow’oluganda yenna bw’abanga n’omukazi atakkiriza, omukazi bw’atabagananga naye okubeera naye, tamulekangayo.” (1 Abakkolinso 7:12) Era ekubiriza abaami: “Mwagalenga bakazi bammwe.”​—Abakkolosaayi 3:19.

11. Omwami ayinza atya okulaga okutegeera era n’akulembera bulungi mukyala we atali Mukristaayo?

11 Singa mukyala wo alina enzikiriza ya njawulo ku yiyo, fuba okumussaamu ekitiibwa n’okufaayo ku nneewulira ye. Ng’omuntu omukulu, asaanidde okuweebwa eddembe okugoberera enzikiriza z’eddiini ye, ka kibe nga ggwe tozikkiririzaamu. Ku mulundi gw’oba osoose okumubuulira ku nzikiriza yo, tomusuubirirawo kulekayo nzikiriza z’abadde akkiririzaamu okumala ebbanga eggwanvu akkirize ekintu ekippya. Mu kifo ky’okumugamba obugambi nti ebyo ye n’ab’ewaabwe bye babadde bakkiririzaamu okumala ebbanga eddene bya bulimba, mu bugumiikiriza gezaako okukubaganya naye ebirowoozo okuva mu Byawandiikibwa. Ayinza okulowooza nti tomufaako singa omala ebiseera bingi nnyo mu mirimu gy’ekibiina. Ayinza okukuziyiza okuweereza Yakuwa, naye ng’ekikulu ky’ayagala okukwoleka kiyinza okuba: “Nneetaaga onfeeko mu ngeri esingawo!” Ba mugumiikiriza. Olw’okumulaga okwagala, ekiseera kiyinza okutuuka n’akkiriza okusinza okw’amazima.​—Abakkolosaayi 3:12-14; 1 Peetero 3:8, 9.

OKUTENDEKA ABAANA

12. Ka kibe nti omwami ne mukyala we ba nzikiriza za njawulo, emisingi gy’omu Byawandiikibwa gyandyeyambisiddwa gitya mu kutendeka abaana baabwe?

12 Mu maka agatali bumu mu kusinza, okuyigiriza abaana eby’eddiini kiyinza okuleetawo obutategeeragana. Emisingi egy’omu Byawandiikibwa ginaakozesebwa gitya? Obuvunaanyizibwa obusooka obw’okuyigiriza abaana, Baibuli ebuwa taata, naye ne maama alina omulimu omukulu gw’akola. (Engero 1:8; geraageranya Olubereberye 18:19; Ekyamateeka 11:18, 19.) Ne bwe kiba nga taata takkiriza bukulembeze bwa Kristo, asigala nga gwe mutwe gw’amaka.

13, 14. Singa omwami agaana mukyala we okutwala abaana mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo oba okuyiga nabo, omukyala asaanidde kukola ki?

13 Bataata abamu abatali bakkiriza tebagaana maama kuyigiriza baana bya ddiini. Abalala babaziyiza. Kiba kitya singa omwami wo akugaana okutwala abaana mu nkuŋŋaana z’ekibiina oba okubayigiriza Baibuli awaka? Kati oba olina okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuwerako awatali kugwa lubege​—obuvunaanyizibwa bwo eri Yakuwa Katonda, eri balo, n’eri abaana bo abaagalwa. Oyinza kubikwataganya otya?

14 Mazima ddala, ensonga eno ojja kugiteeka mu kusaba. (Abafiripi 4:6, 7; 1 Yokaana 5:14) Naye nga mu nkomerero, ggwe olina okusalawo ekkubo ery’okukwata. Bwe weeyisa mu ngeri ey’amagezi, n’omulaga nti towakanya bukulembeze bwe, ayinza okukendeeza ku kuziyiza kw’abadde ateekawo. Omwami wo ne bw’akugaana okutwala abaana bo mu nkuŋŋaana oba okubayigiriza Baibuli, okyayinza okubayigiriza. Ng’onyumya nabo buli lunaku era ng’obateerawo ekyokulabirako ekirungi, gezaako okuyamba abaana bo okwagala Yakuwa, okukkiririza mu Kigambo kye, okuwa abazadde ekitiibwa​—nga mw’otwalidde ne kitaabwe​—okufaayo ku bantu abalala, n’okusanyukira okukola emirimu. Oluvannyuma lwa byonna, taata waabwe ayinza okulaba ebirungi ebivuddemu n’asiima okufuba kwo.​—Engero 23:24.

15. Taata ali mu kukkiriza alina buvunaanyizibwa ki ku bikwata ku kusomesa abaana?

15 Bw’oba oli mwami omukkiriza nga mukyala wo si mukkiriza, olwo olina okwetikka obuvunaanyizibwa obw’okukuliza abaana bo “mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” (Abeefeso 6:4) Mu kukola kino, osaanidde okuba ow’ekisa, omwagazi, era atali mukakanyavu ng’okolagana ne mukyala wo.

EDDIINI YO BW’EBA NGA YA NJAWULO KU Y’ABAZADDE BO

16, 17. Misingi ki egy’omu Baibuli abaana gye bateekwa okujjukira singa bagoberera enzikiriza ey’enjawulo okuva ku y’abazadde baabwe?

16 Kya bulijjo kati abaana abato okugoberera eddiini ez’enjawulo ku z’abazadde baabwe. Bwe kityo bwe kiri gy’oli? Bwe kiba bwe kityo, Baibuli erina amagezi g’ekuwa.

17 Ekigambo kya Katonda kigamba: “Muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi. Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.” (Abeefeso 6:1, 2) Kino kitegeeza okuwa abazadde bo ekitiibwa ekibagwanidde. Kyokka, wadde okugondera abazadde kikulu, Katonda ow’amazima talina kusuulibwa muguluka. Omwana bw’akula ekimala n’atandika okwesalirawo, aba avunaanyizibwa ekisingawo ku ebyo by’akola. Kino bwe kiri mu mateeka g’ensi naye ate n’okusinga ennyo mu mateeka ga Katonda. “Buli muntu ku ffe alivunaanibwa lulwe mu maaso ga Katonda,” bw’etyo Baibuli bw’egamba.​—Abaruumi 14:12, NW.

18, 19. Singa abaana baba mu ddiini ey’enjawulo ku y’abazadde baabwe, bayinza batya okuyamba abazadde baabwe okutegeera enzikiriza yaabwe mu ngeri esingawo?

18 Singa by’okkiririzaamu bikuleetera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwo, gezaako okutegeera endowooza y’abazadde bo. Bajja kusanyuka singa, olw’okuyiga era n’okugoberera enjigiriza za Baibuli, oyongera okubawa ekitiibwa, okubawulira, era okuba omunyiikivu mu buli kye bakugamba. Kyokka, singa enzikiriza yo empya ekuleetera okugaana enzikiriza n’empisa bo ze bagoberera, bayinza okuwulira nti weesambye eky’obusika kye babadde bakwagaliza. Era bayinza okukulumirirwa singa ky’okola tekisiimibwa mu kitundu oba singa kikuwugula okuva ku biruubirirwa bo bye balowooza nga bye byandikuyambye okugaggawala. Amalala nago gasobola okuba enkonge. Bayinza okulowooza nti olinga abagamba nti ggwe mutuufu bo be bakyamu.

19 N’olwekyo, amangu ddala nga bwe kisoboka, gezaako okukola entegeka abazadde bo basisinkane n’abamu ku bakadde oba Abajulirwa abalala abakuze mu by’omwoyo okuva mu kibiina ekiri mu kitundu kyammwe. Kubiriza abazadde bo okukyalako mu Kingdom Hall beewulirire bo bennyini ku biriyo n’okwerabirako n’agaabwe Abajulirwa ba Yakuwa bwe bafaanana. Oluvannyuma lw’ekiseera, endowooza y’abazadde bo eyinza okukyukako. Ne bwe kiba nga abazadde baziyiza nnyo, boonoona ebitabo ebyogera ku Baibuli, era nga bagaana abaana okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, kiyinza okusoboka okusomera awalala, okwogerako ne Bakristaayo banno, okubuulira era n’okuyamba abalala mu ngeri ey’embagirawo. Era osobola n’okusaba Yakuwa. Abavubuka abamu balina kulinda okutuusa lwe baliva awaka nga bakuze ne balyoka bakola ekisingawo. Kyokka, embeera k’ebeere etya awaka, teweerabira ‘kussa kitiibwa mu kitaawo ne nnyoko.’ Kola ky’osuubirwa okukola okuleetawo emirembe mu maka. (Abaruumi 12:17, 18) Okusinga byonna, noonya emirembe ne Katonda.

OBUZIBU BW’OKUBEERA OMUZADDE ATALI WA MUSAAYI

20. Abaana bayinza kuba na nneewulira ki singa kitaabwe oba maama waabwe si wa musaayi?

20 Mu maka mangi embeera esibukako obuzibu obw’amaanyi tekwata ku bya ddiini naye ekwata ku buzaale. Mu maka mangi ennaku zino mulimu abaana abajja n’omuzadde omu oba abazadde bombi be bajja nabo okuva mu bufumbo obulala. Mu maka ng’ago, abaana bayinza okukwatibwa obuggya n’okukyayibwa, oba n’okusanga obuzibu mu kulondawo ani gwe baba balina okugondera. N’ekivaamu, bayinza obutasanyukira ebyo omuzadde atali wa musaayi by’akola mu bwesimbu ng’afuba okubeera taata oba maama omulungi. Kiki ekisobola okuyamba okufuula amaka omuli omuzadde atali wa musaayi okuba ag’essanyu?

K’obe ng’oli muzadde wa musaayi oba atali wa musaayi weesigame ku Baibuli okufuna obulagirizi

21. Wadde nga bali mu mbeera za njawulo, lwaki abazadde abatali ba musaayi basaanidde okweyambisa emisingi egisangibwa mu Baibuli?

21 Kitegeere nti newakubadde embeera ezirimu za njawulo, emisingi gya Baibuli egireetera amaka amalala okuba ag’essanyu gikola ne wano. Okubuusa amaaso emisingi egyo, mu kusooka kiyinza okulabika ng’ekinaagonjoola ekizibu naye ng’oluvannyuma kiyinza okuvaamu emitawaana. (Zabbuli 127:1; Engero 29:15) Kulaakulanya amagezi n’okutegeera​—amagezi ag’okukozesa emisingi egyava eri Katonda ng’oluubirira okufuna emiganyulo egy’olubeerera, era n’okutegeera osobole okumanya lwaki ab’omu maka balina ebintu ebimu bye boogera era bye bakola. Era waliwo obwetaavu bw’okweteeka mu mbeera yaabwe.​—Engero 16:21; 24:3; 1 Peetero 3:8.

22. Lwaki abaana bayinza okukisangamu obuzibu okukkiriza omuzadde atali wa musaayi?

22 Bw’oba oli muzadde atali wa musaayi, oyinza okujjukira nti bwe wakyaliranga amaka gano, abaana bayinza okuba nga baakusanyukiranga. Naye bwe wafuuka omuzadde waabwe atali wa musaayi endowooza yaabwe yakyuka. Olw’okujjukira omuzadde waabwe yennyini atakyabeera nabo, abaana bayinza okuba bazibuwaliddwa okumanya gwe baba banywererako, oboolyawo nga balowooza nti okwagala kwe balina eri omuzadde waabwe ataliiwo oyagala kukwetwalira. Ebiseera ebimu, bayinza okukwatulira nti si ggwe taata waabwe oba maama waabwe. Ebigambo ng’ebyo birumya nnyo. Kyokka, “toyanguyirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala.” (Omubuulizi 7:9) Okutegeera n’okweteeka mu mbeera yaabwe byetaagibwa mu kukola ku nneewulira y’abaana ey’omunda.

23. Okukangavvula kusaanidde kukolebwa kutya mu maka omuli abaana abatali ba musaayi?

23 Engeri zino nkulu ddala bw’oba okangavvula. Okukangavvula okusaanira kwetaagibwa. (Engero 6:20; 13:1) Era okuva abaana bonna bwe batafaanana, okukangavvula kuyinza okuba okw’enjawulo. Abazadde abamu abatali ba musaayi bakizudde nti kiba kirungi, naddala mu kusooka, oyo azaalira ddala abaana okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno obw’ekizadde. Kyokka, kikulu nnyo abazadde bombi okukkiriziganya ku kukangavvula okugenda okuweebwa era ne bakutuukiriza, nga tebatiitiibya mwana gwe bazaala bombi okusinga oyo omu ku bo gwe yajja naye. (Engero 24:23) Obuwulize kikulu, naye olina okukimanya nti omwana si mutuukirivu. Tosunguwala kiyitiridde. Kangavvula mu ngeri y’okwagala.​—Abakkolosaayi 3:21.

24. Kiki ekiyinza okuziyiza ebizibu ebikwata ku by’empisa wakati w’abantu abatafaananya butonde mu maka omuli omuzadde atali wa musaayi?

24 Okuteeseza awamu ng’amaka kukola kinene mu kuziyiza emitawaana. Kusobola okuyamba amaka okwemalira ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu. (Geraageranya Abafiripi 1:9-11.) Era kusobola n’okuyamba buli omu okulaba ky’ayinza okukola okusobola okutuukiriza ebiruubirirwa by’amaka. Ate era, okuteeseza awamu ng’amaka kusobola okukugira ebizibu ebikwata ku mpisa. Abawala balina okumanya ennyambala n’enneeyisa ennungi nga bali ne kitaabwe atali wa musaayi ne bannyinaabwe abatali ba musaayi, n’abalenzi nabo beetaaga okubuulirirwa ku bikwata ku nneeyisa esaanidde eri maama waabwe atali musaayi ne bannyinaabwe abatali ba musaayi.​—1 Abasessalonika 4:3-8.

25. Ngeri ki eziyinza okuyamba okukuuma emirembe mu maka omuli omuzadde atali wa musaayi?

25 Mu kwolekagana n’obuzibu obw’enjawulo obw’okubeera omuzadde atali wa musaayi, ba mugumiikiriza. Kitwala ebbanga okukulaakulanya enkolagana empya. Okwagalibwa n’okuweebwa ekitiibwa abaana b’otaazaala kiyinza okulabika ng’ekizibu ennyo. Naye kisoboka. Omutima ogw’amagezi era ogutegeera, awamu n’okwagala okusanyusa Yakuwa, kye kisumuluzo ky’okufuna emirembe mu maka agalimu omuzadde atali wa musaayi. (Engero 16:20) Engeri ng’ezo era ziyinza okukuyamba okwolekagana n’embeera endala.

EBY’OKUFUNA BYAWULAMU AMAKA GAMMWE?

26. Mu ngeri ki ebizibu n’endowooza ebikwata ku by’okufuna gye biyinza okwabuluzaamu amaka?

26 Ebizibu n’endowooza ebikwata ku by’okufuna biyinza okwawulamu amaka mu ngeri nnyingi. Kya nnaku nga amaka agamu gaabuluziddwamu olw’enkaayana ezikwata ku ssente n’okwagala okugaggawala​—oba okufuna eby’obugagga ebisingako. Enjawukana ziyinza okubaawo abafumbo bombi bwe baba bakola era nga balina endowooza egamba nti “ssente zange, ssente zo.” Ka kibe nti beewaze enkaayana, abafumbo bombi bwe baba bakola bayinza okwesanga nga balina entegeka etabawa kiseera kubeerako wamu bombi. Kigenda kyeyongerayongera mu nsi bakitaabwe b’abaana okubeera mu bifo ebyesudde okuva ku maka gaabwe okumala ebbanga ggwanvu​—emyezi oba n’emyaka​—basobole okufuna ssente ezisinga ku ezo ze bandifunye nga bali waka. Kino kiyinza okuvaamu ebizibu eby’amaanyi ddala.

27. Egimu ku misingi egiyinza okuyamba amaka agalina obuzibu bw’eby’ensimbi gye giruwa?

27 Tewali mateeka gayinza kuteekebwawo ku bikwata ku kwolekagana n’embeera zino, okuva buli maka bwe galina ebiganyigiriza n’ebyetaago eby’enjawulo. Kyokka, amagezi Baibuli g’ewa gayinza okuyamba. Ng’ekyokulabirako, Engero 13:10 lulaga nti empaka eziteetaagisa ziyinza okwewalibwa bwe wabaawo ‘okuteesa.’ Kino tekitwaliramu kwogera bwogezi by’olowooza naye n’okunoonya amagezi era n’okutegeera endowooza omuntu omulala gy’alina. Ate era, okuba n’embalirira y’eby’ensimbi ennungi kiyinza okuyamba ab’omu maka okukolera awamu obulungi. Oluusi kiba kyetaagisa​—oboolyawo okumala ekiseera kitono​—abafumbo bombi okukola okusobola okuwagira ensaasaanya y’eby’ensimbi eyeeyongeddeko, naddala bwe baba balina abaana oba abantu abalala be balabirira. Bwe kiba bwe kityo, omwami asobola okukakasa mukyala we nti akyamufaako. Omwami n’abaana basobola okuyamba ku gy’awaka omukyala gye yandibadde asobola okukola yekka mu mbeera eza bulijjo.​—Abafiripi 2:1-4.

28. Kujjukizibwa ki okuyinza okuyamba amaka okuba obumu, singa kuba kugobereddwa?

28 Kyokka, kijjukire nti wadde ssente zeetaagibwa mu mbeera zino ez’ebintu, tezireeta ssanyu. Mazima ddala teziwa bulamu. (Omubuulizi 7:12) Mazima ddala, okuteeka ennyo essira ku by’okufuna kuyinza okuleetawo akabi mu by’omwoyo n’eby’empisa. (1 Timoseewo 6:9-12) Nga ekyandisinzeeko obulungi kwe kusooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, nga tulina obwesige nti tujja kufuna emikisa gye nga tufuba okufuna ebyetaagibwa mu bulamu! (Matayo 6:25-33; Abebbulaniya 13:5) Bw’okulembeza eby’omwoyo era n’osooka okunoonya emirembe ne Katonda, oyinza okulaba nga amaka go, wadde tegali bumu olw’embeera ezimu, gafuuka amaka agali obumu ddala mu ngeri ezisingira ddala obukulu.