Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OMUSANVU

Mu Maka Mulimu Omujeemu?

Mu Maka Mulimu Omujeemu?

1, 2. (a) Lugero ki Yesu lwe yagera okulaga obutali bwesigwa bw’abakulembeze b’eddiini Abayudaaya? (b) Nsonga ki ekwata ku bavubuka gye tuyiga okuva mu lugero lwa Yesu?

NG’EBULAYO ennaku ntono afe, Yesu yabuuza ekibiina ky’abakulembeze b’eddiini Abayudaaya ekibuuzo ekiwa omuntu eky’okulowoozaako. Yagamba: “Naye mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri; n’ajja eri ow’olubereberye, n’agamba nti Omwana, genda okole emirimu leero mu lusuku olw’emizabbibu. N’addamu n’agamba nti Ŋŋaanyi: naye oluvannyuma ne yeenenya, n’agenda. N’ajja eri ow’okubiri, n’amugamba bw’atyo. Naye n’addamu n’agamba nti Ka ŋŋende, ssebo: n’atagenda. Ku abo bombi ani eyakola kitaawe ky’ayagala?” Abakulembeze b’Abayudaaya baddamu nti: “Ow’olubereberye.”​—Matayo 21:28-31.

2 Wano Yesu yali ayoleka obutali bwesigwa bw’abakulembeze b’Abayudaaya. Baalinga omwana ow’okubiri, baasuubiza okukola Katonda by’ayagala ate ne batakuuma kisuubizo kyabwe. Naye abazadde bangi bakiraba nga olugero lwa Yesu lwoleka nga yali amanyi bulungi obulamu bw’amaka. Nga bwe yakiraga obulungi, emirundi mingi kiba kizibu okumanya abavubuka kye balowooza oba okuteebereza kye bagenda okukola. Omuvubuka ayinza okuleetawo ebizibu bingi mu myaka gye egy’obuvubuka ate bw’akula n’aba omuntu omukulu ow’obuvunaanyizibwa, era aweebwa ekitiibwa. Kino kisaana okujjukirwa nga twogera ku kizibu ky’obujeemu bw’abatiini.

OMUJEEMU Y’ANI?

3. Lwaki abazadde tebandyanguyirizza kuyita baana baabwe bajeemu?

3 Oluusi n’oluusi, oyinza okuwulira ku batiini abajeemera ddala bazadde baabwe. Naawe kennyini oyinza okuba omanyiyo ku maka omuli omutiini alabika nga muzibu okufuga. Kyokka, si kyangu bulijjo okumanya obanga ddala omwana mujeemu. Ate era, kiyinza okuba ekizibu okutegeera lwaki abaana abamu bajeema ate abalala​—wadde nga ba mu maka gamu​—ne batajeema. Singa abazadde bakiraba nti omu ku baana baabwe agenda afuukira ddala mujeemu, bandikoze ki? Okusobola okuddamu kino, tulina okusooka okutegeera omujeemu y’ani.

4-6. (a) Omujeemu y’ani? (b) Abazadde basaanidde kujjukira ki singa omwana waabwe omutiini oluusi n’oluusi tawulira?

4 Mu bufunze, omujeemu ye muntu atawulira oba aziyiza era anyooma mu bugenderevu abamusinga obuyinza. Kyo kituufu, ‘obusirusiru buba mu mutima gw’omwana omuto.’ (Engero 22:15) N’olwekyo wabaawo ekiseera abaana lwe baziyiza obuyinza bw’abazadde baabwe oba obw’abantu abalala. Kino kibaawo naddala mu kiseera ekyo lwe wabaawo enkyukakyuka mu mubiri ne mu nneewulira ez’omunda ekiyitibwa kavubuka. Enkyukakyuka mu bulamu bw’omuntu yenna ereetawo okuzitoowererwa, ate ekiseera ekyo ekya kavubuka kibaamu nkyukakyuka njereere. Omwana wo omulenzi oba omuwala omutiini kati aba ava mu buto ng’ayolekera okufuuka omuntu omukulu. N’olw’ensonga eno, mu myaka egyo egya kavubuka, abazadde abamu n’abaana baabwe baba n’obuzibu okukolaganira awamu obulungi. Emirundi mingi abazadde baba baagala enkyukakyuka zibeewo mpolampola, ng’ate abatiini baagala zanguweko.

5 Omutiini omujeemu asuula muguluka ebyo bazadde be bye batwala nga bya muwendo. Kyokka, kijjukire nti ebikolwa ebitonotono eby’obutawulira tebifuula muntu kuyitibwa mujeemu. Ate bwe kituuka ku by’omwoyo, abaana abamu mu kusooka bayinza obutaagala nnyo oba obutaagalira ddala mazima ga Baibuli, naye bayinza obutaba bajeemu. Ng’omuzadde, toyanguyiriza kuwa mwana wo linnya eryo.

6 Emyaka egy’enkyukakyuka egy’abavubuka bonna gibaamu okujeemera obuyinza bw’abazadde? Nedda, si bwe kiri. Mazima ddala, obujulizi bulaga nti abatiini batono abalaga obujeemu obw’amaanyi mu kiseera ekyo ekya kavubuka. Naye ate omwana oyo atawulira era ajeema buli kiseera? Kiki ekiyinza okuvaako obujeemu ng’obwo?

EBISIBUKAKO OBUJEEMU

7. Embeera ya Setaani etwetoolodde eyinza etya okuleetera omwana okujeema?

7 Ensibuko y’obujeemu enkulu ye mbeera ya Setaani etwetoolodde. “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19, NW) Ensi eri mu buyinza bwa Setaani etaddewo embeera ez’akabi Abakristaayo ze balina okwolekagana nazo. (Yokaana 17:15) Embeera ezo zeeyongedde okubaamu ebintu eby’obugwagwa, eby’akabi ennyo, era zijjudde ebintu ebikubiriza ebikolwa ebibi okusinga bwe kyali mu biseera ebyayita. (2 Timoseewo 3:1-5, 13) Singa abazadde tebayigiriza baana baabwe, tebabalabula, era ne babakuuma, abavubuka bayinza okutwalirizibwa “omwoyo [ogukolera] kaakano mu baana abatawulira.” (Abeefeso 2:2) Ng’oggyeko ekyo, waliwo okupikirizibwa bannaabwe. Baibuli egamba: “Munnaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” (Engero 13:20) Mu ngeri y’emu, oyo akolagana n’abo abalina omwoyo gw’ensi eno kyangu okutwalirizibwa omwoyo ogwo. Abavubuka beetaaga obuyambi buli kiseera bwe baba ab’okutegeera nti okugondera emisingi gya Katonda gwe musingi gw’engeri y’obulamu esinga obulungi.​—Isaaya 48:17, 18.

8. Bintu ki ebiyinza okuleetera omwana okujeema?

8 Ensibuko endala ey’obujeemu eyinza okuba embeera y’awaka. Ng’ekyokulabirako, singa omuzadde omu anywa nnyo omwenge, yeekamirira amalagala, oba mukambwe eri muzadde munne, omuvubuka ayinza okufuna endowooza enkyamu ku bulamu. Ne mu maka agalimu obuteefu, obujeemu buyinza okubalukawo omwana bw’akitwala nti bazadde be tebamufaako. Kyokka, obujeemu bw’abavubuka tebusibuka ku ebyo byokka ebibeetoolodde. Abaana abamu basuula muguluka bazadde baabwe bye babayigiriza wadde ng’abazadde baabwe bagoberera emisingi gya Katonda era nga babakuuma, nga bwe kisoboka, okuva ku nsi ebeetoolodde. Lwaki? Oboolyawo olw’ensibuko endala ey’ebizibu byaffe​—obutali butuukirivu bw’abantu. Pawulo yagamba: “Nga ku bw’omuntu omu [Adamu] ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Adamu yali mujeemu eyeerowoozaako yekka, era yalekera ezzadde lye lyonna obusika obubi. Abavubuka abamu balondawo kujeema, nga jjajjaabwe bwe yakola.

ERI EYAWA EBBEETU ERY’ENSUSSO NE LEKOBOWAAMU EYAKUGIRA ENNYO

9. Kugwa lubege kwa ngeri ki mu kukuza omwana okuyinza okumuleetera okujeema?

9 Ekintu ekirala ekireeseewo obujeemu bw’abatiini ze ndowooza abazadde ze baba nazo ezigudde olubege ku bikwata ku kukuza abaana. (Abakkolosaayi 3:21) Abazadde abamu abeegendereza ennyo bakugira nnyo abaana baabwe era babakangavvula ekiyitiridde. Abalala bawa abaana baabwe abavubuka abatalina bumanyirivu ebbeetu lya nsusso, ne batabawa bulagirizi obwandibakuumye. Si kyangu bulijjo okwekuuma obutagwa lubege ku njuuyi ezo ebbiri. Era abaana ab’enjawulo baba ne bye beetaaga bya njawulo. Omu ayinza okwetaaga okulabirirwa okusinga omulala. Kyokka, ebyokulabirako bibiri okuva mu Baibuli bijja kutuyamba okulaga akabi ak’okukugira ennyo oba okuwa ebbeetu ery’ensusso.

10. Lwaki Eri, wadde ng’ayinza okuba yali kabona omukulu omwesigwa, yali muzadde mubi?

10 Eri, kabona asinga obukulu owa Isiraeri ey’edda yali muzadde. Yaweerereza emyaka 40, era tewali kubuusabuusa yali amanyi bulungi Amateeka ga Katonda. Kirabika nga Eri yakolanga bulungi emirimu gye egy’obwakabona era ayinza n’okuba nga yayigiriza abaana be Kofuni ne Finekaasi Amateeka ga Katonda. Kyokka, Eri yawa nnyo abaana be eddembe. Kofuni ne Finekaasi baali bakabona abakubiriza emikolo, naye baali “basajja abataliiko kye bagasa,” nga bafaayo ku kukkusa mbuto zaabwe n’okwegomba kwabwe okw’obugwenyufu. Naye bwe baakoleranga eby’obuswavu bino awatukuvu, Eri teyabagoba ku mulimu gwa bwakabona. Yabanenyako katono. Olw’ebbeetu ery’ensusso lye yabawa, Eri yawa abaana be ekitiibwa kingi okusinga Katonda. N’ekyavaamu batabani be baajeemera okusinza kwa Yakuwa okuyonjo n’ennyumba ya Eri yonna yatuukibwako akacwano.​—1 Samwiri 2:12-17, 22-25, 29, NW; 1 Samwiri 3:13, 14; 1 Samwiri 4:11-22.

11. Abazadde bayinza kuyiga ki okuva mu kyokulabirako kya Eri ekibi?

11 Abaana ba Eri baali basajja bakulu bino we byabeererawo, naye ebyafaayo bino biraga akabi akava mu butakangavvula. (Geraageranya Engero 29:21.) Abazadde abamu batabulatabula okwagala n’okuwa ebbeetu ery’ensusso, ne balemererwa okuteekawo n’okukwasisa amateeka agasaanira. Balagajjalira okukangavvula mu ngeri ey’okwagala, wadde ng’emisingi gya Katonda gimenyeddwa. Olw’okubawa ebbeetu ery’ensusso bwe lityo, abaana baabwe bayinza okulekera awo okugondera abazadde baabwe oba ab’obuyinza abalala bonna.​—Geraageranya Omubuulizi 8:11.

12. Nsobi ki Lekobowaamu gye yakola mu kukozesa obuyinza?

12 Lekobowaamu kye kyokulabirako ekirala ekyoleka okugwa olubege mu kukozesa obuyinza. Ye kabaka eyasembayo ow’obwakabaka bwa Isiraeri nga bukyali wamu, naye teyali kabaka mulungi. Lekobowaamu yali asikidde obufuzi abantu mwe bataali basanyufu olw’emigugu kitaawe, Sulemaani, gye yabatikka. Lekobowaamu yalaga okutegeera? Nedda. Ababaka bwe baamusaba abakendeereze ku migugu egyo, teyafaayo ku magezi ag’ekikulu agaamuweebwa abakadde era n’alagira nti ekikoligo ky’abantu kyongerweko obuzito. Amawaggali ge gaaleetera ebika ekkumi eby’omu mambuka okujeema, era obwakabaka ne bukutukamu ebitundu bibiri.​—1 Bassekabaka 12:1-21; 2 Ebyomumirembe 10:19.

13. Abazadde bayinza batya okwewala ensobi ya Lekobowaamu?

13 Abazadde basobola okubaako ebintu ebikulu bye bayiga okuva ku ebyo Baibuli by’etutegeeza ku Lekobowaamu. Balina ‘okunoonya Mukama’ nga bayitira mu kusaba era n’okwekenneenya engeri gye bagunjulamu abaana baabwe okusinziira ku misingi gya Baibuli. (Zabbuli 105:4) “Okunyigirizibwa kuyinza okuleetera ow’amagezi okweyisa ng’omusirusiru,” Omubuulizi 7:7 (NW) bwe lugamba. Obulagirizi obulungi buwa abavubuka omwagaanya ogw’okukula ng’ate bwe bakuumibwa okuva ku bubi. Naye abaana tebasaanidde kuba mu mbeera ezibanyigiriza ennyo ezitabasobozesa kwemalirira oba kwekakasa mu kigero ekisaanira. Abazadde bwe baluubirira okubateerawo eddembe ery’ekigero n’okubakugira mu ngeri esaanira, abatiini abasinga obungi tebajja kuba na nsonga ebajeemesa.

OKUKOLA KU BYETAAGO EBIKULU KUYINZA OKUZIYIZA OBUJEEMU

Abaana bayinza okutebenkera singa abazadde baabwe babayamba okwaŋŋanga ebizibu byabwe eby’omu buvubuka

14, 15. Abazadde basaanidde kutunuulira batya okukula kw’omwana waabwe?

14 Wadde abazadde basanyuka okulaba omwana waabwe ng’akula okuva mu buwere n’afuuka omuntu omukulu, bayinza okusoberwa omwana waabwe avubuse bw’atandikiriza okubaako bye yeemalirira yekka. Mu kiseera kino eky’enkyukakyuka, teweekanga singa omwana wo omutiini emirundi egimu abaamu n’emputtu oba nga tayagala kukolera wamu na balala. Kijjukire nti ekiruubirirwa ky’abazadde Abakristaayo kwe kukuza Omukristaayo ow’obuvunaanyizibwa, omunywevu, era omukulu mu ndowooza.​—Geraageranya 1 Abakkolinso 13:11; Abeefeso 4:13, 14.

15 Wadde nga kiyinza okubabeerera ekizibu, abazadde baba balina okukomya empisa ey’okugaananga okuwa omwana waabwe avubuse eddembe erisingawo. Mu ngeri ennungi, omwana yeetaaga okukula ng’omuntu ow’enjawulo ku balala. Mazima ddala, nga emyaka gyabwe gikyali mimpi ddala, abatiini abamu batandika okuba n’endowooza ey’ekikulu. Ng’ekyokulabirako, Baibuli eyogera ku Kabaka Yosiya omuto: “Ng’akyali muto [emyaka nga 15], n’atanula okunoonya Katonda wa Dawudi kitaawe.” Omutiini ono yakiragira ddala nga yali muntu wa buvunaanyizibwa.​—2 Ebyomumirembe 34:1-3.

16. Abaana bwe bagenda baweebwa obuvunaanyizibwa obusingako, kiki kye balina okutegeera?

16 Kyokka, eddembe lireeta obuvunaanyizibwa. N’olwekyo, leka omwana wo agenda asajjakula oba akaziwala ayolekagane n’ebimu ku ebyo ebiva mu by’aba asazeewo ne by’akoze. Omusingi ogugamba nti, “omuntu yenna ky’asiga ky’alikungula,” gukwata ku batiini ne ku bantu abakulu. (Abaggalatiya 6:7) Abaana tebayinza kusiikirizibwa bbanga lyonna. Naye, kiba kitya, singa omwana wo ayagala okukola ekintu ekitayinza kukkirizibwa? Ng’omuzadde ow’obuvunaanyizibwa, olina okugamba nti, “Nedda.” Era wadde ng’oyinza okunnyonnyola ensonga, tewali kyandikuleetedde kukyusa ky’oyogedde nti nedda okukifuula yee. (Geraageranya Matayo 5:37.) Kyokka, gezaako okwogera nti “Nedda” mu ngeri ey’obukkakkamu, kubanga “okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.”​—Engero 15:1.

17. Ebimu ku byetaago by’omutiini omuzadde by’alina okukolako bye biruwa?

17 Abavubuka beetaaga okuweebwa okukangavvulwa okutakyukakyuka ka kibe nga tebakkiriziganya na kukugirwa oba ebiragiro ebibaweebwa. Kiremesa singa ebiragiro bikyusibwakyusibwa, okusinziira ku ngeri omuzadde gy’aba yeewuliramu mu kiseera ekyo. Ate era, singa abatiini bazzibwamu amaanyi ne baweebwa n’obuyambi, nga bwe kiba kyetaagibwa, mu kwaŋŋanga obuteekakasa oba ensonyi, basobola okutebenkera. Era abatiini basanyuka bwe bateekebwamu obwesige bwe bakoleredde.​—Geraageranya Isaaya 35:3, 4; Lukka 16:10; 19:17.

18. Bintu ki ebikwata ku batiini ebizzaamu amaanyi?

18 Abazadde bayinza okusanyuka okumanya nti emirembe, obutebenkevu, n’okwagala bwe biba mu maka, abaana batera okukula obulungi. (Abeefeso 4:31, 32; Yakobo 3:17, 18) Weewuunye, abato bangi bakulidde mu maka agalimu embeera embi, agalimu obutamiivu, obukambwe, oba ekintu ekirala kyonna ekyonoona, kyokka ne bafuuka abantu abakulu abalungi. N’olwekyo, singa muba n’amaka abaana bammwe abatiini mwe bawulirira obutebenkevu era nga bakimanyi nga baagalibwa, era bafiibwako​—ka kibe ng’obuwagizi obwo bubeeramu okukugirwa n’okukangavvula ebituukagana n’emisingi egy’omu Byawandiikibwa​—basobola okufuuka abantu abakulu be mujja okwenyumiririzaamu.​—Geraageranya Engero 27:11.

ABAANA BWE BAGWA MU MITAWAANA

19. Wadde ng’abazadde basaanidde okuyigiriza omwana ekkubo ly’agwanidde okukwata, buvunaanyizibwa ki omwana bw’aba nabwo?

19 Okukuza abaana obulungi kulina enjawulo gye kuleetawo. Engero 22:6 lugamba: “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.” Wadde ekyo kiri bwe kityo, ate bo abaana abalina ebizibu eby’amaanyi songa balina abazadde balungi? Kino kisoboka? Yee. Ebigambo by’olugero olwo okusobola okutegeerekeka obulungi birina okukwataganyizibwa n’ennyiriri endala eziggumiza obuvunaanyizibwa bw’omwana ‘okuwuliriza’ n’okugondera abazadde. (Engero 1:8) Abazadde n’omwana bateekwa okukolera awamu mu kukozesa emisingi egy’omu Byawandiikibwa bwe waba aw’okubaawo okukkaanya mu maka. Singa abazadde n’abaana tebakolera wamu, wajja kubaawo emitawaana.

20. Abaana bwe basobya olw’obutaba beegendereza, abazadde bandikoze ki eky’amagezi?

20 Abazadde basaanidde kukola batya ng’omwana omutiini asobezza n’agwa mu mitawaana? Olwo, omwana lw’asingira ddala okwetaaga obuyambi. Singa abazadde bajjukira nti bakolagana na muvubuka atalina bumanyirivu, bajja kwekomako obutanyiiga kiyitiridde. Pawulo yabuulirira abo abaali bakuze mu by’omwoyo mu kibiina: “Ab’oluganda, omuntu bw’alabibwanga ng’ayonoonye, mmwe ab’omwoyo mumulongoosenga ali bw’atyo mu mwoyo ogw’obuwombeefu.” (Abaggalatiya 6:1) Abazadde bayinza okugoberera enkola y’emu nga bakolagana n’omuvubuka akoze ekisobyo olw’obutaba mwegendereza. Bwe baba bamunnyonnyola lwaki enneeyisa ye ebadde nkyamu, era n’engeri gy’ayinza okwewalamu okuddamu okukola ensobi eyo, abazadde basaanidde bakirage lwatu nti enneeyisa eyo ye mbi, so si muvubuka.​—Geraageranya Yuda 22, 23.

21. Nga bagoberera ekyokulabirako ky’ekibiina Ekikristaayo, abazadde bandikoze batya ng’abaana baabwe bakoze ekibi eky’amaanyi?

21 Kiba kitya singa omuvubuka oyo ky’akoze kibi nnyo ddala? Olwo omwana aba yeetaaga obuyambi n’obulagirizi obw’enjawulo. Omu ku b’omu kibiina bw’akola ekibi eky’amaanyi, akubirizibwa okwenenya n’okutuukirira abakadde bamuyambe. (Yakobo 5:14-16) Bwe yeenenya, abakadde bamuyamba okuddamu okutereera mu by’omwoyo. Mu maka, obuvunaanyizibwa obw’okuyamba omutiini asobezza buli ku bazadde, wadde nga kiyinza okubeetaagisa okwogerako n’abakadde. Ddala tebasaanidde kugezaako kukweka bakadde ebibi eby’amaanyi ebiba bikoleddwa omu ku baana baabwe.

22. Nga bakoppa Yakuwa, ndowooza ki abazadde gye bandigezezzaako okuba nayo singa omwana waabwe akola ekisobyo ekinene?

22 Ekizibu eky’amaanyi ekikwata ku baana kiba kigezo kinene. Olw’obulumi bw’ebirowoozo, abazadde bayinza okwagala okutiisatiisa omwana oyo; naye kino kiyinza kumwongera kwewulira bubi. Kijjukire nti ebiseera eby’omu maaso eby’omuvubuka ono biyinza okwesigama ku ngeri gy’ayisibwamu mu kiseera kino ekizibu. Era, mukijjukire nga Yakuwa yalinga mwetegefu okusonyiwa abantu be bwe baawabanga okuva ku kituufu​—singa bandyenenyezza. Wuliriza ebigambo bye eby’obwagazi: “Mujje nno, tuteese fembi, bw’ayogera Mukama: ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu, binaaba byeru ng’omuzira; ne bwe bitwakaala ng’ebendera, binaaba byeru ng’ebyoya by’endiga.” (Isaaya 1:18) Nga kyakulabirako kirungi nnyo eri abazadde!

23. Ng’omu ku baana baabwe akoze ekibi eky’amaanyi, abazadde basaanidde kukola ki, era kiki kye basaanidde okwewala?

23 N’olwekyo, gezaako okukubiriza omwana wo ayonoonye okukyusa ekkubo lye. Noonya amagezi okuva ku bazadde abalina obumanyirivu n’abakadde mu kibiina. (Engero 11:14) Gezaako obutabaguka n’okola oba n’oyogera ebintu ebinaakifuula ekizibu eri omwana wo okudda gy’oli. Weewale obusungu obw’ettumbiizi n’obukambwe. (Abakkolosaayi 3:8) Tolekulira mangu. (1 Abakkolinso 13:4, 7) Wadde okyawa obubi, weewale obutaba na kulumirirwa kwonna n’okukyawa omwana wo. N’ekisinga obukulu, abazadde basaanidde okussaawo ekyokulabirako ekirungi n’okukuuma okukkiriza kwabwe mu Katonda nga kunywevu.

ENGERI Y’OKUKWATAMU OYO AMALIRIDDE OKUBA OMUJEEMU

24. Mbeera ki ey’ennaku ebiseera ebimu ebaawo mu maka Amakristaayo, era omuzadde yandikoze atya?

24 Oluusi kiyinza okulabikira ddala nti omuvubuka asaliddewo ddala okujeema n’okwabulira emitindo gy’Ekikristaayo. Olwo essira lyandibadde liteekebwa ku kukuuma oba okulongoosa obulamu bw’amaka olw’abalala abasigadde. Weegendereze obutamalira maanyi go gonna ku mujeemu, n’olagajjalira abaana abalala. Mu kifo ky’okukweka abalala mu maka ekizibu ekiriwo, mukyogereko mu ngeri ezimba era ebazzaamu amaanyi.​—Geraageranya Engero 20:18.

25. (a) Nga bagoberera enkola y’ekibiina Ekikristaayo, abazadde bayinza kukola batya singa omwana asaliddewo ddala okuba omujeemu? (b) Abazadde balina kujjukira ki singa omu ku baana baabwe ajeema?

25 Omutume Yokaana yayogera ku oyo eyali afuuse omujeemu lukulwe mu kibiina: “Temumusembezanga mu nnyumba so temumulamusanga.” (2 Yokaana 10) Abazadde bayinza okukiraba nga kyetaagisa okukola bwe batyo eri omwana waabwe afuuse kyewaggula bw’aba ng’atwalibwa okuba omuntu omukulu mu mateeka. Wadde ng’ekikolwa ekyo kiyinza okuba ekizibu era eky’obulumi, ebiseera ebimu kye kiba kyetaagibwa olw’okukuuma abalala mu maka. Ab’omu maka go beetaaga obukuumi bwo n’okubalabirira. N’olw’ensonga eyo, weeyongere okussaawo okukugira okusaana ku bikwata ku mpisa. Sigala ng’olina empuliziganya n’abaana abalala. Faayo ku ngeri gye bakolamu ku ssomero era ne mu kibiina. Era, bamanyise nti newakubadde tosiima mpisa za mwana oli omujeemu, tomukyawanga. Vumirira ebikolwa ebibi so si mwana. Batabani ba Yakobo babiri bwe baaleeta ekivume ku maka olw’ekikolwa kyabwe eky’obukambwe, Yakobo yakolimira bukambwe bwabwe, so si batabani be.​—Olubereberye 34:1-31; 49:5-7.

26. Kiki ekiyinza okuzzaamu abazadde abakoze kyonna kye basobola amaanyi singa omu ku baana baabwe ajeema?

26 Oyinza muli okuwulira ng’ovunaanyizibwa olw’ebibaddewo mu maka go. Kyokka bw’oba wakola kyonna ky’osobola awamu n’okusaba, nga wagoberera okubuulirira kwa Yakuwa nga bw’osobola, oba teweetaaga kwevunaana kiyitiridde. Kijjukire nti tewali muzadde atuukiridde, naye wagezaako nga bw’osobola okubeera omuzadde omulungi. (Geraageranya Ebikolwa 20:26.) Okuba n’omwana omujeemu mu maka kireeta obulumi bungi mu mutima, naye bwe kikutuukako, ba mukakafu nti Katonda akufaako era talyabulira baweereza be abeesigwa. (Zabbuli 27:10) N’olwekyo ba mumalirivu okukuuma amaka go nga matebenkevu era nga gali mu mbeera nnungi ey’eby’omwoyo ku lw’abaana abasigadde.

27. Nga bajjukira olugero lw’omwana omujaajaamya, abazadde b’omwana omujeemu banaabanga na ssuubi ki?

27 Naye, toggwaamu ssuubi. Okufuba kwo okwasooka mu kumuyigiriza obulungi, oluvannyuma kuyinza okukyusa omutima gw’omwana awabye ne yeekuba mu kifuba. (Omubuulizi 11:6) Amaka agawerako ag’Abakristaayo gatuukiddwako ekyo ekikutuuseeko era mu gamu abaana abaali beewaggudde bakomyewo, nga bwe kyali eri kitaawe w’omwana omujaajaamya mu lugero lwa Yesu. (Lukka 15:11-32) Kiyinza okuba bwe kityo gy’oli.