Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OKUNA

Munaasobola Mutya Okuddukanya Amaka?

Munaasobola Mutya Okuddukanya Amaka?

1. Lwaki okuddukanya amaka kizibu nnyo ennaku zino?

“EMBEERA y’ensi eno egenda ekyuka.” (1 Abakkolinso 7:31, NW) Ebigambo ebyo byawandiikibwa emyaka egisukka mu 1,900 egiyise, naye nga bya mazima nnyo leero! Ebintu bigenda bikyuka, naddala ku bikwata ku bulamu bw’amaka. Ekyali kitwalibwa ng’ekya bulijjo emyaka 40 oba 50 egiyise kaakano emirundi egisinga tekikkirizibwa. N’olw’ensonga eno, okuddukanya amaka obulungi kiyinza okubaamu obuzibu obw’amaanyi. Wadde kiri bwe kityo, singa ogoberera okubuulirira okuli mu Byawandiikibwa, oyinza okuwangula obuzibu obwo.

ENSAASAANYA YAMMWE EREME KUSUKKA NNYINGIZA YAMMWE

2. Mbeera ki ez’eby’enfuna eziyinza okunyigiriza amaka?

2 Ennaku zino abantu bangi tebakyayagala bulamu bwa kubeera na buntuntu butonotono, n’okwemalira ku maka gaabwe. Nga ab’eby’obusuubuzi beeyongera okufulumya ebintu era nga bakozesa obukujjukujju mu kulanga eby’amaguzi basikirize abantu okubigula, obukadde n’obukadde bwa bataata ne bamaama bamala ebiseera biwanvu nga bakola basobole okugula ebintu bino. Abantu abalala bukadde na bukadde bakuluusana buli lunaku basobole okufuna eky’okuzza eri omumwa. Balina okumala ebiseera biwanvu ku mulimu okusinga bwe kyalinga edda, mpozzi n’okukola emirimu gya mirundi ebiri, basobole okugula ebyetaagibwa. Ate abalala bandisanyuse okufuna omulimu, okuva ebbula ly’emirimu bwe libunye buli wamu. Yee, obulamu si bwangu eri amaka ag’akakyo kano, naye emisingi gya Baibuli giyinza okuyamba amaka okuyimirirawo mu mbeera eziriwo.

3. Musingi ki omutume Pawulo gwe yannyonnyola, era okugugoberera kiyamba kitya omuntu okuddukanya obulungi amaka?

3 Omutume Pawulo yayolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna. Mu kubikolako, yafuna eky’okuyiga eky’omuwendo, kye yannyonnyola mukwano gwe Timoseewo mu bbaluwa gye yamuwandiikira. Pawulo yawandiika: “Tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu; naye bwe tuba n’emmere n’ebyokwambala, ebyo binaatumalanga.” (1 Timoseewo 6:7, 8) Kya mazima, amaka tegeetaaga mmere yokka na bya kwambala. Geetaaga n’aw’okubeera. Abaana beetaaga okusoma. Ate waliwo okusasulira obujjanjabi n’ebirala. Wadde biri bityo, omusingi oguli mu bigambo bya Pawulo gukola. Singa tuba bamativu n’ebyo ebyetaagibwa okusinga okwemalira ku kunoonya bye twagala, obulamu bujja kuba bwanguko.

4, 5. Okulowooza ku by’omu maaso n’okweteekateeka biyamba bitya mu kuddukanya amaka?

4 Omusingi omulala oguyamba gusangibwa mu lumu ku ngero za Yesu. Yagamba: “Ani ku mmwe bw’aba ng’ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n’abalirira eby’emirimu gyayo, oba ng’alina eby’okugimala?” (Lukka 14:28) Yesu wano yali ayogera ku kulowooza ku by’omu maaso, okweteekateeka. Twalaba mu ssuula ey’emabega engeri kino gye kiyambamu abantu abaagala okufumbiriganwa. Era n’oluvannyuma lw’okufumbiriganwa, kiyamba mu kuddukanya amaka. Okulowooza ku by’omu maaso mu nsonga eno kitwaliramu okuba n’embalirira y’ensimbi, okuteekateeka engeri gy’onookozesaamu obulungi ensimbi ze mulina. Mu ngeri ng’eno amaka gasobola okukozesa obulungi ensimbi, ne gategekawo ez’okukozesa ku byetaagibwa ebya buli lunaku oba buli wiiki, ensaasaanya yaabwe ereme kusukka nnyingiza yaabwe.

5 Mu nsi ezimu, embalirira ng’eyo eyinza okukuyamba obuteewola nsimbi z’ojja okusasulirako empooza ennene olw’okwagala okugula ebintu ebiteetaagisa. Mu nsi endala, kiyinza okukuyamba okuba omwegendereza ng’okozesa kaadi okwewolerwa ebintu. (Engero 22:7) Era kiyinza okukuyamba obutamala gagula buli ky’olaba​—okugula ekintu awatali kusooka kulaba bwetaavu bwakyo n’ebiyinza okuvaamu. Ate era, embalirira eyo ejja kukiraga lwatu nti okwonoonera ssente mu kukuba zzaala, okunywa sigala, n’okunywa omwenge ekiyitiridde kyonoona embeera y’eby’enfuna ey’amaka, era kikontana n’emisingi gya Baibuli.​—Engero 23:20, 21, 29-35; Abaruumi 6:19; Abeefeso 5:3-5.

6. Mazima ki ag’omu Byawandiikibwa agayamba abaavu ennyo?

6 Naye kiri kitya eri abo abaavu ennyo? Kiyinza okubagumya okumanya nti ekizibu kino ekibunye ensi yonna kya kaseera buseera. Mu nsi empya enaatera okutuuka, Yakuwa ajja kuggyawo obwavu awamu n’emitawaana emirala gyonna egireetera abantu ennaku. (Zabbuli 72:1, 12-16) Naye ng’ekyo tekinnabaawo, Abakristaayo ab’amazima, ka babe baavu nnyo, tebaggwaamu maanyi, kubanga bakkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa: “Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.” N’olw’ensonga eyo, omukkiriza asobola okwogera n’obugumu nti: “Mukama ye mubeezi wange; ssiritya.” (Abebbulaniya 13:5, 6) Mu nnaku zino enzibu, Yakuwa awagidde abamusinza mu ngeri nnyingi bwe bagoberera emisingi gye era ne bakulembeza Obwakabaka bwe mu bulamu bwabwe. (Matayo 6:33) Bangi ku bo bayinza okukiwaako obujulirwa, mu bigambo bya Pawulo, nga bagamba: “Mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n’ebingi era n’okuba mu bwetaavu. Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.”​—Abafiripi 4:12, 13.

OKWETIKKIRA AWAMU OMUGUGU

7. Bigambo ki Yesu bye yayogera ebiyinza okuyamba mu kuddukanya obulungi amaka singa biba biteekeddwa mu nkola?

7 Ng’anaatera okukomekkereza obuweereza bwe obw’oku nsi, Yesu yagamba: “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (Matayo 22:39) Okugoberera okubuulira kuno mu maka kuyamba kinene mu kuddukanya eby’awaka. Ggwe ate, baani baliraanwa baffe abasinga okuba ab’okumpi era be tusinga okwagala, bwe bataba abo be tubeera nabo mu nnyumba emu​—abaami n’abakyala, abazadde n’abaana? Ab’omu maka bayinza batya okulaga okwagala buli omu eri munne?

8. Okwagala kuyinza kulagibwa kutya mu maka?

8 Engeri emu kwe kuba nga buli omu mu maka atuukiriza emirimu gye egy’awaka. Bwe kityo, abaana balina okuyigirizibwa okuteeka ebintu mu bifo byabyo ebituufu oluvannyuma lw’okubikozesa, ka zibe ngoye oba bya kuzannyisa. Kiyinza okutwala ekiseera okulongoosa ekitanda buli nkya, naye kiyamba kinene mu nzirukanya y’amaka. Weewaawo, tekiyinza kwewalika ebintu okusaasaanako okumala akaseera, naye bonna bayinza okukolera awamu okukuuma awaka nga wayonjo, n’okwoza ebintu oluvannyuma lw’okulya. Obugayaavu, okwefaako, n’obutayagala kukolera wamu na balala birina engeri gye bikosaamu buli omu. (Engero 26:14-16) Ku luuyi olulala, omwoyo ogw’essanyu era ogwagala okukola guleetawo obulamu bw’amaka obw’essanyu. “Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”​—2 Abakkolinso 9:7.

9, 10. (a) Mugugu ki ogutera okwetikkibwa omukyala mu maka, era guyinza kuwewulibwa gutya? (b) Ndowooza ki etagudde lubege ekwata ku mirimu gy’awaka eweereddwa?

9 Okufaayo ku balala n’okwagala bijja kuziyiza embeera enzibu ennyo esangibwa mu maka agamu. Mu mpisa eya bulijjo bamaama be balabirira eby’awaka byonna. Balabirira abaana, balongoosa awaka, booza engoye, era bagula emmere ne bagifumba. Mu nsi ezimu, abakazi, bakola mu nnimiro, batunda mu butale ebintu bye balimye, oba bawagidde amaka mu by’enfuna mu ngeri endala ez’omugaso. Era ne mu bitundu empisa eyo gy’etabadde, obwetaavu buwalirizza obukadde n’obukadde bw’abakazi abafumbo okunoonya emirimu ebweru w’amaka. Omukyala ng’ate maama akola ennyo mu bifo bino eby’enjawulo agwana okwebazibwa. Okufaananako “omukazi omwegendereza” ayogerwako mu Baibuli, mukozi nnyo. “Talya mmere ya kugayaala.” (Engero 31:10, 27) Naye kino kiba tekitegeeza nti mukazi yekka y’asobola okukola emirimu awaka. Omwami n’omukyala bwe baba bakomyewo awaka oluvannyuma lw’okukola olunaku lwonna, mukyala yekka y’asaanidde okukola emirimu gy’awaka ng’omwami n’abalala ab’omu maka bawummuddeko? Mazima ddala, si bwe kyandibadde. (Geraageranya 2 Abakkolinso 8:13, 14.) Ng’ekyokulabirako, singa maama agenda kuteekateeka bya mmere, yandisanyuse singa ab’omu maka abalala bayamba okuteekateeka emmeeza, okugenda okugula ebintu, oba okulongoosaako mu nnyumba. Yee, bonna bayinza okugabanira awamu emirimu.​—Geraageranya Abaggalatiya 6:2.

10 Abamu bayinza okugamba: “Nze gye mbeera si mulimu gwa musajja kukola bintu ng’ebyo.” Kiyinza okuba bwe kityo, naye tekyandibadde kirungi okulowooza ku nsonga eno? Yakuwa Katonda bwe yatandikawo amaka, teyalagira nti emirimu egimu ginaakolebwanga bakazi bokka. Lumu, Ibulayimu omusajja omwesigwa bwe yakyalirwa ababaka ab’enjawulo okuva eri Yakuwa, ye kennyini yenyigira mu kuteekerateekera abagenyi emmere n’okubaweereza. (Olubereberye 18:1-8) Baibuli ebuulirira: “Abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini.” (Abeefeso 5:28) Bwe kiba ng’olunaku we luggweerako, omwami awulira ng’akooye era ng’ayagala awummuleko, ne mukyala we naye aba takooye, oboolyawo n’okusingawo? (1 Peetero 3:7) Olwo, si kye kyandibadde kisaanira era eky’obwagazi omwami okuyamba ku gy’awaka?​—Abafiripi 2:3, 4.

11. Mu ngeri ki Yesu gye yassaawo ekyokulabirako ekirungi eri buli omu mu maka?

11 Yesu kye kyokulabirako ekisingayo obulungi eky’omuntu eyasanyusa Katonda era n’asanyusa n’abo be yabanga nabo. Wadde nga teyali mufumbo, Yesu yateerawo abaami, abakyala n’abaana ekyokulabirako ekirungi. Yeeyogerako bw’ati: “Omwana w’omuntu [teyajja] kuweerezebwa, wabula okuweereza,” kwe kugamba, okuweereza abalala. (Matayo 20:28) Ng’amaka ago gaba ga ssanyu abaamu bonna bwe baba n’endowooza ng’eyo!

OBUYONJO​—LWAKI BUKULU NNYO?

12. Yakuwa yeetaagisa ki abo abamuweereza?

12 Omusingi gwa Baibuli omulala oguyinza okutuyamba mu kuddukanya amaka gusangibwa mu 2 Abakkolinso 7:1. Wasoma bwe wati: “Twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo.” Abo abagondera ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa basiimibwa Yakuwa, oyo eyeetaaga “eddiini ennongoofu eteriimu kko.” (Yakobo 1:27) Era n’amaka gaabwe gafuna emiganyulo.

13. Lwaki obuyonjo bukulu mu kuddukanya amaka?

13 Ng’ekyokulabirako, Baibuli etukakasa nti olunaku lujja kutuuka endwadde zonna ziggweewo. Mu kiseera ekyo, “n’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24; Okubikkulirwa 21:4, 5) Kyokka, ng’ekyo tekinnabaawo, buli maka galina okwolekagana n’obulwadde. Pawulo ne Timoseewo nabo baalwalanga. (Abaggalatiya 4:13; 1 Timoseewo 5:23) Kyokka, abakugu mu by’ekisawo bagamba nti endwadde nnyingi ziyinza okuziyizibwa. Amaka ag’amagezi gasobola obutalumbibwa ndwadde ezimu eziyinza okwewalibwa singa beekuuma nga bayonjo mu mubiri ne mu by’omwoyo. Ka twekenneenye engeri gye bayinza okukikolamu.​—Geraageranya Engero 22:3.

14. Mu ngeri ki obuyonjo bw’empisa mwe bukuumira amaka obutalumbibwa ndwadde?

14 Obuyonjo mu by’omwoyo butwaliramu obuyonjo bw’empisa. Nga bwe kimanyiddwa obulungi, Baibuli ekubiriza emitindo gy’empisa egya waggulu n’evumirira okwetaba okulala kwonna okutali kwa mu bufumbo. “Newakubadde abakaba, . . . newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga . . . tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (1 Abakkolinso 6:9, 10) Kikulu nnyo Abakristaayo abali mu nsi ya leero ennyonoonefu okutuukiriza emitindo gino. Okukola bwe batyo kisanyusa Katonda era kikuuma amaka obutatuukibwako ndwadde ezisaasaanira mu kwetaba gamba nga AIDS, kabootongo, enziku, ne chlamydia.​Engero 7:10-23.

15. Waayo ekyokulabirako eky’obutaba muyonjo mu mubiri okuyinza okuvaako obulwadde.

15 ‘Okwenaazaako buli ekyonoona omubiri’ kiyamba amaka obutatuukibwako ndwadde ndala. Endwadde nnyingi ziva ku butaba bayonjo mu mubiri. Ekyokulabirako eky’enkukunala ye mpisa ey’okunywa sigala. Okunywa sigala tekukoma ku kwonoona mawuggwe, engoye n’empewo, naye era kulwaza abantu. Obukadde n’obukadde bw’abantu bafa buli mwaka olw’okunywa ttaaba. Kirowoozeeko; obukadde n’obukadde bw’abantu tebandirwadde ne bafa singa baali beewaze ‘ekyonoona omubiri’ ekyo!

16, 17. (a) Tteeka ki Yakuwa lye yawa Abaisiraeri eryabakuuma obutafuna ndwadde ezimu? (b) Omusingi oguli emabega wa Ekyamateeka 23:12, 13 guyinza kukozesebwa gutya awaka?

16 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Emyaka nga 3,500 egiyise, Katonda yawa eggwanga lya Isiraeri Amateeka ge basobole okutegeka okusinza kwabwe, era gabayambe ne mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Amateeka ago gaayamba okukuuma eggwanga eryo obutalumbibwa ndwadde olw’okuba gaalimu ebiragiro ebikwata ku by’obuyonjo. Erimu ku mateeka ago lyali likwata ku kuggyawo empitambi y’abantu, eyalina okuziikibwa obulungi ewala okuva ku lusiisira, ekifo abantu we baabeeranga kireme kwonoonebwa. (Ekyamateeka 23:12, 13) Etteeka eryo ery’edda ennyo likyali lya mugaso nnyo. Ne mu biseera bino abantu balwala ne bafa olw’obutaligoberera. *

17 Okutuukagana n’omusingi gw’etteeka eryo eryaweebwa Isiraeri, ekinaabiro n’ekifo awakyamirwa​—ka bibe munda oba bweru wa nnyumba​—biteekwa okukuumibwa nga biyonjo era n’okufukibwamu eddagala eritta obuwuka. Singa ekifo awakyamirwa tekiyonjebwa era ne kibikkibwako, ensowera zijja kukuŋŋaanirawo zisaasaanye obuwuka mu bifo ebirala awaka​—ne ku mmere gye tulya! Ate era, abato n’abakulu bateekwa okunaaba mu ngalo nga bavudde awakyamirwa. Bwe batakola bwe batyo, bajja kujja n’obuwuka ku lususu lwabwe. Okusinziira ku musawo omu Omufalansa, okunaaba mu ngalo “y’emu ku ngeri ezisingirayo ddala obulungi ez’okuziyizaamu endwadde ez’omu lubuto, ez’omu mawuggwe, oba ez’olususu.”

Okukuuma ebintu nga biyonjo tekitwala nsimbi nnyingi ng’okugula eddagala

18, 19. Birowoozo ki ebiweereddwa ku bikwata ku kukuuma amaka nga mayonjo wadde nga gali mu kifo ekibi?

18 Kyo kituufu nti si kyangu okukuuma obuyonjo ng’ekifo ky’obeeramu kibi. Omuntu omu amanyi ebikwata ku bifo eby’engeri eno yannyonnyola: “Embeera y’obudde ey’ebbugumu eringi ennyo ekalubiza ddala omulimu gw’okuyonja. Kibuyaga alimu enfuufu abunya enfuufu eyo mu buli kanyomero konna ak’enju. . . . Nnamungi w’abantu okwekuma awamu mu bibuga, oluusi ne mu bitundu ebimu mu byalo, nakyo kya kabi eri obulamu. Emidumu egikulukutiramu kazambi egitali mibikkeko, entuumo z’ebisasiro, obuyumba obukyamirwamu obucaafu, emmese, ebiyenje, n’ensowera ezitambuza obulwadde obisanga buli wamu.”

19 Okukuuma obuyonjo mu mbeera ng’ezo kuba kuzibu. Wadde kiri bwe kityo, era osaanidde okufuba. Ssabbuuni n’amazzi n’okukola okutonotono okuba kweyongeddemu tekitwala nsimbi nnyingi ng’eddagala n’ebisale by’eddwaliro. Bw’obeera mu kitundu ekifaananako bwe kityo, fuba nga bw’osobola okukuuma ennyumba yo n’oluggya nga biyonjo era nga tebiriimu busa bwa bisolo. Akakubo akatuuka ewuwo bwe kaba nga katera okubaamu ebisooto okw’enkuba, oyinza okuteekamu oluyinjayinja oba amayinja okwewala okuleeta ebisooto mu nnyumba? Singa oli aba ayambadde engatto oba sapatu, asobola okuziggyamu nga tannayingira mu nju? Era, oteekwa okukuuma w’ojja amazzi nga wayonjo. Kirowoozebwa nti abantu ng’obukadde bubiri buli mwaka bafa olw’endwadde eziva ku kukozesa amazzi agatali malungi n’obutaba na nteekateeka nnungi za bya buyonjo.

20. Ennyumba bw’eba nga ya kuba nnyonjo, baani abateekwa okugabana obuvunaanyizibwa obwo?

20 Okuba n’amaka amayonjo kitwaliramu buli omu​—maama, taata, abaana n’abagenyi. Maama omu ow’abaana omunaana e Kenya yagamba: “Bonna kati bamanyi kye balina okukola.” Amaka amayonjo era amategeke obulungi gawa ekifaananyi kirungi ku bagalimu bonna. Olugero lw’omu Spain lugamba: “Okuba omwavu tekitegeeza butaba muyonjo.” Omuntu k’abe ng’abeera mu nju ya bbeeyi nnyo, oba mu nnyumba etali ya bbeeyi, oba mu kasiisira, obuyonjo kye kintu ekiyamba ab’omu maka okuba abalamu obulungi.

OKUZZIBWAMU AMAANYI KUTUKOLA BULUNGI

21. Mu kutuukagana ne Engero 31:28, kiki ekinaayamba okuleeta essanyu mu maka?

21 Bwe kiba kyogera ku mukyala omwegendereza, ekitabo kya Engero kigamba nti: “Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa; ne bba n’amutendereza.” (Engero 31:28) Ddi lwe wasembayo okutendereza omuntu ow’omu maka gammwe? Ddala tulinga ebimera ebirindirira okumulisa nga bifunye ku luwandaggirize lw’enkuba n’ebbugumu. Ffe kye twetaaga kwe kusiimibwa. Kiyamba omukyala okumanya nga bba asiima emirimu gye n’okwagala kw’alaga, era nti bba amutwala nga wa muwendo. (Engero 15:23; 25:11) Era kiba kirungi omukyala bw’asiima omwami we olw’emirimu gy’aba akoze awaka n’ebweru w’amaka. Abaana nabo baba basanyufu abazadde baabwe bwe babasiima olw’obunyiikivu bwabwe ku ssomero, awaka, oba mu kibiina Ekikristaayo. Okwebaza ne bwe kuba kutono, nga kukola kinene nnyo! Kikuggyako ki okugamba nti: “Weebale”? Tewali, naye nga bw’okyogera kisobola okuzzaamu ennyo ab’omu maka amaanyi.

22. Kiki ekyetaagibwa okusobola ‘okunyweza’ amaka, era kiyinza kufunibwa kitya?

22 Olw’ensonga eziwerako, okuddukanya amaka si kyangu. Naye, kisobola okukolebwa obulungi. Olugero lwa Baibuli lugamba: “Amagezi ge gazimba ennyumba; n’okutegeera kwe kuginyweza.” (Engero 24:3) Amagezi n’okutegeera biyinza okufunibwa singa ab’omu maka bonna banyiikira okuyiga Katonda by’ayagala n’okubikozesa mu bulamu bwabwe. Mazima ddala, amaka ag’essanyu gagwanira okufuba okwo!

^ lup. 16 Mu kitabo ekiwa amagezi ku ngeri y’okwewalamu ekiddukano​— obulwadde obuviirako abaana abato bangi okufa​—World Health Organisation kigamba: “Bwe waba tewali kayumba kakyamirwamu: kyama wala okuva ku nnyumba, era wala okuva ku kifo abaana we bazannyira, era waakiri mita 10 okuva ku nsibuko y’amazzi; empitambi gibikkeko ettaka.”