Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’ETAANO

Okuwa Bazadde Baffe Abakaddiye Ekitiibwa

Okuwa Bazadde Baffe Abakaddiye Ekitiibwa

1. Bbanja ki lye tulina eri bazadde baffe, era n’olw’ensonga eyo twandibalowoozezzaako tutya era twandibayisizza tutya?

“OWULIRANGA kitaawo eyakuzaala, so tonyoomanga nnyoko ng’akaddiye,” omusajja ow’amagezi ow’edda bw’atyo bwe yabuulirira. (Engero 23:22) Oyinza okugamba nti, ‘Nze ekyo sisobola kukikola!’ Mu kifo ky’okunyooma bamaama baffe​—oba bataata baffe​—abasinga obungi ku ffe tuwulira nga tubaagala nnyo. Tukimanyi nga tulina ebbanja ddene nnyo gye bali. Okusooka byonna, bazadde baffe baatuwa obulamu. Wadde Yakuwa ye Nsibuko y’obulamu, singa bazadde baffe tebaatuzaala tetwandisobodde kubeerawo. Tewali kya muwendo kwenkana bulamu kye tusobola kuwa bazadde baffe. Ate, lowooza ku kwefiiriza, okulumirirwa, ensimbi ezisaasaanyizibwa, era n’okufaayo okw’obwagazi ebyetaagibwa okusobola okukuza omwana okuva mu buwere. N’olwekyo, nga kisaanira ddala okuba nti Ekigambo kya Katonda kibuulirira: “Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko . . . olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi”!​—Abeefeso 6:2, 3.

OKUFAAYO KU NNEEWULIRA YAABWE

2. Abaana abakuze bayinza batya “okusasula” bazadde baabwe?

2 Omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo: “Abaana oba bazzukulu, basookenga okuyiga okwegendereza eri ab’omu nnyumba zaabwe, n’okusasula bakadde baabwe: kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.” (1 Timoseewo 5:4) Abaana abakulu ‘basasula’ bazadde baabwe ne bajjajjaabwe nga babalaga okusiima olw’emyaka gye baamala nga babalaga okwagala, nga babakolerera, era nga babalabirira. Engeri emu abaana gye bayinza okukolamu kino kwe kumanya nti okufaananako abantu abalala bonna, abakaddiye beetaaga okwagalibwa n’okugumizibwa​—ng’emirundi egisinga babyetaaga nnyo. Okufaananako naffe ffenna, beetaaga okukimanya nti batwalibwa nga ba muwendo. Beetaaga okukimanya nti obulamu bwabwe bwa muwendo.

3. Tuyinza tutya okuwa bazadde baffe ne bajjajjaffe ekitiibwa?

3 N’olwekyo, tuyinza okuwa bazadde baffe ne bajjajjaffe ekitiibwa nga tubategeeza nti tubaagala. (1 Abakkolinso 16:14) Bazadde baffe bwe baba tebabeera naffe, tulina okukijjukira nti baba baagala nnyo okuwulira ebitufaako. Ebbaluwa esanyusa, okubakubirayo ku ssimu, oba okubakyalira kiyinza okubawa essanyu lingi nnyo. Miyo, abeera mu Japan, yawandiika bw’ati ng’aweza emyaka 82 egy’obukulu: “Muwala wange [omwami we nga muweereza atambula] aŋŋamba: ‘Maama, tukusaba “otambulenga” naffe.’ Ampeereza entegeka y’entambula yaabwe n’ennamba y’essimu ey’ekibiina gye baba bali buli wiiki. Nsobola okubikkula maapu yange ne ŋŋamba nti: ‘Yee. Kati bali wano!’ Bulijjo nneebaza Yakuwa olw’essanyu ery’okuba n’omwana ng’oyo.”

OKUBAWA OBUYAMBI BW’EBINTU

4. Mu ngeri ki akalombolombo k’eddiini y’Ekiyudaaya gye kaakubirizaamu obutalumirirwa bazadde abakaddiye?

4 Okuwa bazadde bo ekitiibwa kiyinza okutwaliramu n’okubawa obuyambi bw’ebintu? Yee. Emirundi mingi kiba bwe kityo. Mu biseera bya Yesu abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baalina akalombolombo akagamba nti singa omuntu aba awaddeyo ensimbi ze oba ebintu bye nga ‘ekirabo eri Katonda,’ aba takyavunaanyizibwa kubikozesa kulabirira bazadde be. (Matayo 15:3-6) Nga tebaalina kulumirirwa n’akatono! Mu butuufu, abakulembeze b’eddiini abo baali tebakubiriza bantu kuwa bazadde baabwe kitiibwa wabula okubanyooma nga babamma bye beetaaga. Kikafuuwe ffe okukola bwe tutyo!​—Ekyamateeka 27:16.

5. Wadde nga mu nsi ezimu mulimu enteekateeka ezikolebwa gavumenti, lwaki emirundi egimu okuwa abazadde ekitiibwa kutwaliramu okubawa obuyambi bw’ensimbi?

5 Mu nsi nnyingi leero, entegeka ez’okuyamba abantu ezaateekebwawo gavumenti zikola ku byetaago ebimu eby’abakadde, gamba ng’okubafunira emmere, engoye, n’aw’okusula. Ng’oggyeeko ebyo, abakadde bennyini bayinza okuba nga beekolerawo dda enteekateeka ey’okubayamba mu myaka gyabwe egy’obukadde. Naye ebintu bino bye beetegekera bwe biggwaawo oba bwe biba tebikyabamala, abaana bawa bazadde baabwe ekitiibwa nga bakola kyonna kye basobola okukola ku byetaago by’abazadde baabwe. Mu butuufu, okulabirira abazadde abakaddiye kabonero akalaga okwemalira ku Katonda, kwe kugamba, omuntu okwemalira ku Yakuwa Katonda, Eyatandikawo enteekateeka y’amaka.

OKWAGALA N’OKWEFIIRIZA

6. Nteekateeka ki abamu ze bakoze okusobola okukola ku byetaago by’abazadde baabwe?

6 Abaana abakulu bangi bafuddeyo ku bwetaavu bw’abazadde baabwe abatakyesobola nga booleka okwagala n’okwefiiriza. Abamu batutte bazadde baabwe mu maka gaabwe oba basengukidde mu kifo ekiri okumpi ne bazadde baabwe we babeera. Abalala basengukidde mu maka g’abazadde baabwe. Emirundi mingi, enteekateeka nga zino zireesewo emiganyulo eri abazadde n’abaana.

7. Lwaki tekiba kirungi okwanguyiriza okusalawo ku bikwata ku bazadde abakaddiye?

7 Kyokka, ebiseera ebimu enteekateeka ezo tezivuddemu birungi. Lwaki? Oboolyawo olw’okuba banguyiriza okusalawo oba okusalawo kwabwe kwali kwa kinyegenyege. “Ow’amagezi afumiitiriza ku ky’agenda okukola,” Baibuli bw’etyo bw’erabula. (Engero 14:15, NW) Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti maama wo omukadde akaluubirirwa okubeera yekka, era n’olowooza nti yandiganyuddwa okusengukira ewuwo. Mu kulowooza ku ky’ogenda okukola, oyinza okulowooza ku bino: Ddala biki bye yeetaaga? Waliwo enteekateeka yonna ey’obwannakyewa oba eya gavumenti eyinza okukola obulungi ku bwetaavu obwo? Eky’okusenguka akyagala? Bw’aba akyagala, obulamu bwe bunaakwatibwako butya? Alina ab’emikwano b’agenda okwawukana nabo? Kino kinaamuyisa kitya mu birowoozo? Bino byonna obyogeddeko naye? Ggwe, ne munno mu bufumbo, era n’abaana bammwe munaayisibwa mutya ng’asengukidde ewammwe? Maama wo bw’aba yeetaaga okulabirirwa, ani agenda okumulabirira? Obuvunaanyizibwa buyinza okugabanyizibwamu? Ensonga eno ogyogeddeko n’ab’omu maka bonna be kikwatako?

8. Baani b’oyinza okwebuuzaako ng’osalawo okuyamba bazadde bo abakaddiye?

8 Okuva obuvunaanyizibwa obw’okumulabirira bwe butwaliramu abaana bonna ab’omu maka, kiyinza okuba eky’amagezi okukiteesaako ng’amaka bonna basobole okwetaba mu kusalawo okwo. Okwogerako n’abakadde mu kibiina Ekikristaayo oba ab’emikwano abayolekaganyeko n’ekizibu ekifaananako bwe kityo kiyinza okuyamba. “Awatali magezi okuteesa kufa,” bw’etyo Baibuli bw’erabula, “naye kunywerera mu lufulube lw’abo abateesa ebigambo.”​—Engero 15:22.

WEETEEKE MU KIFO KYE ERA LAGA OKUTEGEERA

9, 10. (a) Wadde emyaka giba gibagenzeeko, abakaddiye basaanidde kufiibwako batya? (b) Ka kibeere ki omwana akuze ky’ayagala okukolera bazadde be, kiki ky’alina okubawa bulijjo?

9 Okuwa abazadde baffe abakaddiye ekitiibwa kitwetaagisa okweteeka mu kifo kyabwe n’okulaga okutegeera. Olw’emyaka gyabwe, abakaddiye bayinza okweyongera okukaluubirirwa okutambula, okulya, n’okujjukira. Bayinza okwetaaga obuyambi. Emirundi egisinga, abaana bafaayo nnyo ku mbeera y’abazadde baabwe era ne bagezaako okuwa obulagirizi. Naye bannamukadde bano bantu bakulu abalina amagezi n’obumanyirivu bungi bwe bafunye mu bulamu, nga beeyimirizaawo bokka era nga beesalirawo bye baagala. Engeri zaabwe ng’abantu kinnoomu era n’ekitiibwa kyabwe biyinza okusinziira ku kifo kye balina ng’abazadde era abantu abakulu. Abazadde abawulira nti bateekwa okuleka abaana baabwe okufuga obulamu bwabwe bayinza okwennyamira oba okunyiiga. Abamu tebakikkiriza era baziyiza ekyo kyonna kye balaba ng’ekibaggyako eddembe lyabwe.

10 Ebizibu ng’ebyo tebiba byangu bya kugonjoola, naye kiba kyoleka ekisa okuleka abazadde abakaddiye okukola kye baagala n’okwesalirawo nga bwe kiba kisoboka. Tekiba kya magezi okusalirawo bazadde bo nga toyogeddeko nabo okusooka. Bye batasobola kukola biyinza okuba bingi. Baleke bakole bye bakyasobola. Oyinza okukisanga nti gy’okoma okwewala okugezaako okufuga obulamu bw’abazadde bo, enkolagana yo nabo gy’ejja okukoma okuba ennungi. Bajja kuba basanyufu okusingawo, era naawe bw’otyo. Ne bwe kiba nga kyetaagisa okugugubira ku bintu ebimu ku lw’obulungi bwabwe, okussaamu bazadde bo ekitiibwa kikwetaagisa obawe ekitiibwa ekibasaanira. Ekigambo kya Katonda kibuulirira: “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde.”​—Eby’Abaleevi 19:32.

OKUBEERA N’ENDOWOOZA ENTUUFU

11-13. Wadde ng’enkolagana y’omwana akuze ne bazadde be teyali nnungi mu biseera ebyayita, ayinza atya okubalabirira mu myaka gyabwe egy’obukadde?

11 Emirundi egimu ekizibu abaana abakulu kye boolekagana nakyo mu kuwa bazadde baabwe ekitiibwa kikwatagana n’enkolagana gye baalina ne bazadde baabwe mu biseera eby’edda. Oboolyawo kitaawo teyakulaga mukwano na kwagala, maama wo yali wa bboggo era mukambwe. Oyinza okuba nga okyawulira ennaku, obusungu, oba obulumi olw’okuba bazadde bo tebeeyisa nga bwe wandibadde oyagala. Oyinza okuvvuunuka enneewulira ng’ezo? *

12 Basse, eyakulira mu Finland, agamba: “Kitange atali wa musaayi yali ofiisa wa SS mu Germany ey’obufuzi bwa Nazi. Yasunguwalanga mangu nnyo, ate nga bw’asunguwala aba wa kabi nnyo. Yakuba maama wange emirundi mingi nga ndaba. Lumu bwe yansunguwalira, yankubisa ekyuma ky’oku lukoba lwe mu maaso. Lwankuba nnyo ne ntalantuka ne ngwa ku kitanda.”

13 Kyokka, yalinayo n’engeri ze endala. Basse ayongerako: “Ku luuyi olulala, yakolanga nnyo okulabirira amaka ge. Teyandagaako n’olumu kwagala kwa muzadde, naye nnali nkimanyi nti enneewulira ye ey’omunda yayonoonebwa. Maama we yamugoba awaka ng’akyali mulenzi muto. Yava buto ng’alwana era yenyigira mu lutalo ng’akyali muvubuka. Embeera ye nnali ngitegeera, era samunenya. Bwe nnakula, nnayagala mmuyambe nga bwe kisoboka okutuusa okufa kwe. Tekyali kyangu, naye nnakola kye nsobola. Nnagezaako okuba omwana omulungi, era ndowooza nga yantwala okuba omwana omulungi.”

14. Kyawandiikibwa ki ekikola mu buli mbeera, nga mw’otwalidde n’ezo ezibaawo mu kulabirira abazadde abakaddiye?

14 Ku nsonga z’amaka, era n’ensonga endala, okubuulirira kwa Baibuli kukola: “Mwambalenga . . . omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo.”​—Abakkolosaayi 3:12, 13.

ABALABIRIRA NABO BEETAAGA OKULABIRIRWA

15. Lwaki okulabirira abazadde oluusi kinakuwaza?

15 Okulabirira omuzadde ateesobola mulimu gwa maanyi, gubaamu eby’okukola bingi, obuvunaanyizibwa bungi, era gutwala ebiseera bingi. Naye emirundi egisinga, ekitundu ekisingayo obuzibu kiba kikwata ku nneewulira ez’omunda. Kikwasa ennaku okulaba obulamu bw’abazadde bo, okujjukira kwabwe, era n’eddembe lyabwe nga bigenda bikendeera. Sandy, ow’omu Puerto Rico, agamba bw’ati: “Maama wange ye yali yeesigamyeko buli kimu mu maka gaffe. Kyatuluma nnyo okumulaba nga takyesobola. Okusooka, yatandika okuwenyera; n’atandika okukozesa omuggo, okwo n’azzaako ekiwanirira omuntu okutambula, n’oluvannyuma akagaali k’abalema. Embeera ye yeeyongera okuddirira okutuusa lwe yafa. Yalwala kookolo ow’omu magumba n’aba ng’alina okulabirirwa buli kiseera​—emisana n’ekiro. Twamunaazanga, twamuliisanga, era twamusomeranga. Kyali kizibu kya maanyi​—naddala mu nneewulira ey’omunda. Bwe nnamanya nga maama wange yali agenda kufa, nnakaaba olw’okuba nnali mmwagala nnyo.”

16, 17. Magezi ki agayinza okuyamba oyo alabirira okuba n’endowooza etegudde lubege?

16 Bwe weesanga mu mbeera efaanana bw’etyo, oyinza kukola ki okusobola okugigumira? Okuwuliriza Yakuwa ng’osoma Baibuli era n’okwogera naye mu kusaba bijja kukuyamba nnyo. (Abafiripi 4:6, 7) Era ekiyinza okukuyamba, kakasa nti olya emmere erimu ekiriisa era gezaako okwebaka ekimala. Bw’okola bw’otyo, ojja kusobola okulabirira omwagalwa wo ng’oli mu mbeera nnungi, mu birowoozo ne mu mubiri. Oboolyawo ebiseera ebimu oyinza okuwummulako n’okyusaako okuva ku nkola yo eya bulijjo. Ka kibe nti tolina wantu w’osobodde kugenda kuwummulirako, era kiba kya magezi okufunayo akaseera ak’okuwummulako. Okusobola okufuna ekiseera ekyo, oyinza okukola enteekateeka omuntu omulala okusigala n’omuzadde wo omulwadde.

17 Abantu abakulu abajjanjaba batera okuluubirira okutuukiriza ebintu bye batasobola. Naye towulira ng’azizza omusango olw’ebyo by’otasobola kukola. Mu mbeera ezimu kiyinza okukwetaagisa okutwala omwagalwa wo mu maka omulabirirwa abateesobola. Bwe kiba nti ggwe ojjanjaba, toluubirira kutuukiriza by’otasobola. Olina okufaayo ku byetaago by’abazadde bo naye nga tosudde muguluka byetaago by’abaana bo, ebya munno mu bufumbo, n’ebibyo kennyini.

AMAANYI AGASINGA KU GA BULIJJO

18, 19. Kisuubizo ki eky’okuwa obuwagizi Yakuwa ky’akoze, era kyakulabirako ki ekiraga nti akuuma ekisuubizo kino?

18 Ng’ayitira mu Kigambo kye, Baibuli, Yakuwa awa obulagirizi obusobola okuyamba ennyo omuntu mu kulabirira bazadde be abakaddiye, naye nga buno si bwe buyambi bwokka bw’awa. “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira,” omuwandiisi wa Zabbuli bw’atyo bwe yawandiika ng’aluŋŋamizibwa. “Anaawuliranga okukaaba kwabwe, anaabalokolanga.” Yakuwa ajja kulokola, oba kukuuma, abeesigwa be okuyita ne mu mbeera ezisingayo okuba enzibu.​—Zabbuli 145:18, 19.

19 Myrna, ow’omu Philippines, yategeera ekintu kino bwe yali alabirira maama we, eyali takyesobola oluvannyuma lw’okusanyalala. “Tewali kinakuwaza nga okulaba omwagalwa wo ng’alumizibwa, nga tasobola kukubuulira na wamuluma,” Myrna bw’atyo bwe yawandiika. “Kyali kifaananako n’okumulaba ng’abbira mpolampola mu mazzi, kyokka nga tewali kye nnyinza kukola. Emirundi mingi nnafukamiranga ku maviivi gange ne ntegeeza Yakuwa ku bukoowu bwe nnabanga nabwo. Nnakaaba amaziga nga Dawudi, eyeegayirira Yakuwa ateeke amaziga ge mu kasumbi era amujjukire. [Zabbuli 56:8] Era nga Yakuwa bwe yasuubiza, yampa amaanyi ge nnali nneetaaga. ‘Yakuwa yampanirira.’”​—Zabbuli 18:18, NW.

20. Bisuubizo ki eby’omu Baibuli ebiyamba abalabirira okuba n’essuubi, ne bwe kiba nti gwe balabirira afa?

20 Bagamba nti okulabirira abazadde abakaddiye ye “mboozi etafundikirwa mu ngeri esanyusa.” Ka babe nga balabiriddwa bulungi batya, bannamukadde bayinza okufa, nga bwe kyali eri maama wa Myrna. Naye abeesiga Yakuwa bamanyi nti okufa si ye nkomerero ya byonna. Omutume Pawulo yagamba: “Nnina essuubi eri Katonda . . . nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Abo bonna abafiiriddwa bazadde baabwe abakaddiye babudaabudibwa essuubi ery’okuzuukira n’ekisuubizo eky’ensi empya esanyusa Katonda gy’agenda okussaawo ‘omutaliba kufa nate.’​—Okubikkulirwa 21:4.

21. Birungi ki ebiva mu kuwa abazadde abakaddiye ekitiibwa?

21 Abaweereza ba Katonda bafaayo nnyo ku bazadde baabwe, ka babe nga bakaddiye. (Engero 23:22-24) Babawa ekitiibwa. Olw’okukola bwe batyo, balaba ekyo olugero olwaluŋŋamizibwa kye lugamba: “Kitaawo ne nnyoko basanyukenga, n’omukazi eyakuzaala ajaguzenga.” (Engero 23:25) Ate era ekisinga byonna, abo abawa bazadde baabwe abakaddiye ekitiibwa basanyusa Yakuwa Katonda era bamuwa ekitiibwa.

^ lup. 11 Wano tetwogera ku mbeera abazadde we babeerera nga baakozesa bubi nnyo obuyinza bwabwe, ekiyinza okutwalibwa ng’ekikolwa eky’obumenyi bw’amateeka.