ESSUULA EY’OKUBIRI
Okweteekerateekera Obufumbo Obulungi
1, 2. (a) Yesu yaggumiza atya obukulu bw’okuteekateeka? (b) Naddala mu kintu ki okuteekateeka mwe kwetaagibwa ennyo?
OKUZIMBA ennyumba kwetaagisa okweteekateeka n’obwegendereza. Ng’omusingi tegunnazimbibwa, ettaka ligulibwa ne pulaani n’ekolebwa. Kyokka, waliwo ekirala ekikulu. Yesu yagamba: “Ani ku mmwe bw’aba ng’ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n’abalirira eby’emirimu gyayo, oba ng’alina eby’okugimala?”—Lukka 14:28.
2 Ekirina okukolebwa mu kuzimba ennyumba era kirina okukolebwa mu kukola obufumbo obulungi. Bangi bagamba: “Njagala kuyingira bufumbo.” Naye bameka abasooka okufumiitiriza ku bitwalirwamu? Wadde Engero 18:22; 1 Abakkolinso 7:28) N’olwekyo, abo abateekateeka okuyingira obufumbo balina okutegeera obulungi emikisa n’obuvunaanyizibwa ebiri mu kubeera omufumbo.
nga Baibuli eyogera bulungi ku bufumbo, naye era eyogera ne ku kusoomooza kwe buleeta. (3. Lwaki Baibuli ya mugaso nnyo eri abo abeeteekerateekera obufumbo, era bibuuzo ki ebisatu by’eneetuyamba okuddamu?
3 Baibuli esobola okuyamba. Okubuulirira kwayo kwaluŋŋamizibwa oyo Eyatandikawo obufumbo, Yakuwa Katonda. (Abeefeso 3:14, 15; 2 Timoseewo 3:16) Nga tukozesa emisingi egisangibwa mu kitabo kino eky’edda naye ate nga kikyali ku mulembe, ka twetegereze (1) Omuntu amanya atya obanga mwetegefu okuyingira obufumbo? (2) Kiki kye yandibadde anoonyereza mu oyo gw’ayagala okufumbiriganwa naye? era (3) Okwogereza kusobola kutya okukuumibwa nga kwa kitiibwa?
OLI MWETEGEFU OKUYINGIRA OBUFUMBO?
4. Kintu ki ekyetaagibwa okusobola okuba n’obufumbo obulungi, era lwaki?
4 Okuzimba ennyumba kuyinza okutwala ensimbi nnyingi, naye n’okugikuuma ng’eri mu mbeera nnungi nakyo kitwala ensimbi nnyingi. N’obufumbo bwe buli. Okuyingira obufumbo ku bwakyo kirabika nga kirimu okusoomooza; naye, okukuuma obufumbo bwammwe nga buli mu mbeera nnungi emyaka n’emyaka nakyo kirina okulowoozebwako. Okukuuma enkolagana ng’eyo kitwaliramu ki? Ekintu ekikulu ennyo kwe kutuukiriza obweyamo bwo n’omutima gwo gwonna. Eno ye ngeri Baibuli gy’ennyonnyolamu enkolagana ey’omu bufumbo: “Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.” (Olubereberye 2:24) Yesu Kristo yawa ekintu kimu kyokka ekisinziirwako mu Byawandiikibwa okugattululwa mu bufumbo n’oba ng’osobola okuyingira obufumbo obulala—“obwenzi,” kwe kugamba, okwetaba n’omuntu omulala atali oyo gwe wafumbiriganwa naye. (Matayo 19:9) Bw’oba olowooza ku bufumbo, jjukira emitindo gino egy’omu Byawandiikibwa. Bw’oba nga toli mwetegefu kutuukiriza bweyamo buno obukulu ennyo, ekyo kitegeeza nti toli mwetegefu kuyingira bufumbo.—Ekyamateeka 23:21; Omubuulizi 5:4, 5.
5. Wadde ng’okutuukiriza obweyamo obw’omu bufumbo kutiisa abamu, lwaki abo abaagala okufumbiriganwa bandikututte nga kwa muwendo?
5 Ekirowoozo eky’okutuukiriza obweyamo kitiisa bangi. “Okukimanya nti ffe ffembi twali twerayiridde okubeera awamu okumala obulamu bwaffe bwonna, kyandeetera okwewulira muli nga gwe bafumbiikirizza, gwe bataddeko olukomera, gwe basibidde ddala,” bw’atyo omuvubuka omu bwe yagamba. Naye bw’oba ng’oyagalira ddala omuntu gw’oteekateeka okufumbiriganwa naye, okutuukiriza obweyamo tekujja kuba mugugu. Wabula, ojja kukitwala ng’ensibuko y’obukuumi. Okukkiriza obweyamo mu bufumbo kujja kuleetera abafumbo okwagala okuba awamu mu biseera ebirungi n’ebibi era buli omu okuwagira munne ka kibe ki. Omutume Omukristaayo Pawulo yawandiika nti okwagala okw’amazima “kugumiikiriza byonna” era “kuzibiiki[ri]za byonna.” (1 Abakkolinso 13:4, 7) “Okukkiriza obweyamo obw’omu bufumbo kundeetera okuwulira obutebenkevu obusingako,” omukazi omu bw’atyo bwe yagamba. “Mpulira emirembe olw’okuba twakkiriziganya ffembi ate era ne mu lujjudde nti buli omu ajja kunywerera ku munne.”—Omubuulizi 4:9-12.
6. Lwaki obutayanguyiriza kuyingira bufumbo mu myaka egy’obuto kye kisinga obulungi?
6 Okutuukiriza obweyamo obwo kyetaagisa omuntu okubeera ng’akuze. N’olw’ensonga eyo, Pawulo abuulirira Abakristaayo nti kiba kirungi obutayingira bufumbo okutuuka nga bamaze okuyita mu ‘kavubuka,’ 1 Abakkolinso 7:36, NW) Abavubuka bakyuka bwe bagenda bakula. Bangi abafumbiriganwa nga bakyali bato nnyo bakizuula oluvannyuma lw’emyaka mitono nti ebyetaago byabwe ne bye beegomba, era n’ebya bannaabwe mu bufumbo bikyuse. Okubalirira kulaga nga abatiini abayingira obufumbo tebatera kuba basanyufu mu bufumbo era banoonya okugattululwa mu bufumbo okusinga abo abafumbiriganwa nga bakuze. N’olwekyo toyanguyiriza kuyingira bufumbo. Emyaka gy’omala nga omuvubuka omukulu, atali mufumbo giyinza okukuwa obumanyirivu obw’omuwendo obujja okukufuula omuntu omukulu era alina ebisaanyizo ebisingako eby’okubeera omufumbo. Obutayanguwa kuyingira bufumbo kuyinza n’okukuyamba okwetegeera ekisingawo—ekyetaagibwa ennyo bw’oba ow’okukuuma enkolagana ennungi mu bufumbo bwo.
ekiseera enneewulira ez’eby’okwetaba we zibeerera ez’amaanyi ennyo era nga zisobola okutabulatabula endowooza y’omuntu. (SOOKA WEETEGEERE
7. Lwaki abo abaagala okufumbiriganwa basaanidde okusooka okwekebera?
7 Okisanga nga kyangu okumenya engeri ze wandyagadde mu w’okubeera munno mu bufumbo? Abasinga obungi kibanguyira. Naye, kiri kitya ku ngeri zo ggwe kennyini? Ngeri ki z’olina ezinaakuyamba okukola obufumbo obulungi? Ogenda kuba mwami oba mukyala wa ngeri ki? Ng’ekyokulabirako, okkiriza mangu ensobi zo era n’okkiriza amagezi agakuweebwa, oba bulijjo weewolereza bw’owabulwa? Bulijjo oba musanyufu era omuntu asuubira ebirungi, oba otera kuba munyiikaavu, nga weemulugunya buli kiseera? (Engero 8:33; 15:15) Kijjukire, obufumbo tebujja kukyusa ngeri zo. Bw’oba oli wa malala, wa ntondo, oba omuntu atasuubira kalungi konna nga tonnayingira bufumbo, bw’otyo bw’oliba ng’oli mu bufumbo. Okuva bwe kiri ekizibu okweraba ng’abalala bwe batulaba, lwaki tobuuza omuzadde wo oba mukwano gwo gwe weesiga akubuulire era akuwe ne ku magezi? Bw’otegeera by’olina okukyusaako, bikoleko nga tonnaba kuyingira bufumbo.
8-10. Kubuulirira ki Baibuli kw’ewa okusobola okuyamba omuntu okwetegekera obufumbo?
8 Baibuli etukubiriza okuleka omwoyo gwa Katonda omutukuvu okukolera mu ffe, gutusobozese okuba n’engeri nga “okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza.” Era etugamba “okufuuka abaggya mu mwoyo ogw’ebirowoozo [byaffe]” era ne “okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.” (Abaggalatiya 5:22, 23; Abeefeso 4:23, 24) Okugoberera okubuulirira kuno nga tonnayingira mu bufumbo kufaanana n’okutereka ensimbi mu banka—ekintu ekijja okuba eky’omugaso ennyo mu biseera eby’omu maaso, bw’oliba oyingidde mu bufumbo.
9 Ng’ekyokulabirako, bw’oba oli mukazi, yiga okufaayo ennyo ku ‘muntu ow’ekyama ow’omu mutima’ okusinga bw’ofaayo ku ndabika yo ey’omubiri. (1 Peetero 3:3, 4, NW) Obwetoowaze n’endowooza ennuŋŋamu bijja kukuyamba okuba n’amagezi, “engule ey’obuyonjo” ey’amazima. (Engero 4:9; 31:10, 30; 1 Timoseewo 2:9, 10) Bw’oba oli musajja, yiga okuyisa abakazi mu ngeri ey’ekisa era ey’ekitiibwa. (1 Timoseewo 5:1, 2) Ng’eno bw’oyiga okwesalirangawo n’okwetikka obuvunaanyizibwa, era yiga okuba omwetoowaze era omuwombeefu. Endowooza ey’okukajjala ku balala ereeta emitawaana mu bufumbo.—Engero 29:23; Mikka 6:8; Abeefeso 5:28, 29.
10 Wadde nga si kyangu okukyusa ku ndowooza mu nsonga zino, kino kye kintu Abakristaayo bonna kye bandikozeeko. Era kijja kukuyamba okuba omuntu abeereka naye mu bufumbo.
EBY’OKUNOONYEREZA MU OYO GW’OYAGALA OKUFUMBIRIGANWA NAYE
11, 12. Abantu babiri bayinza batya okumanya obanga batuukagana oba tebatuukagana?
11 Ye mpisa ey’omu kitundu gy’obeera omuntu okwerondera oyo gw’agenda okufumbiriganwa naye? Bwe kiba bwe kityo, wandikoze otya ng’olabye omuntu akulabikira obulungi? Sooka weebuuze, ‘Ddala njagala kuyingira bufumbo?’ Tekiba kikolwa kya kisa n’akamu okuzannyisa enneewulira y’omuntu omulala ng’omuleetera okusuubira ekitali kituufu. (Engero 13:12) Oluvannyuma weebuuze, ‘Ndi mu mbeera entuufu okuyingira obufumbo?’ Ebibuuzo byombi bw’oba obiddamu nti yee, by’onoddako okukola bijja kusinziira ku mpisa y’omu kitundu kyo bw’eri. Mu nsi ezimu, oluvannyuma lw’okwetegereza omuntu okumala ebbanga, oyinza okumutuukirira n’omutegeeza nga bw’oyagala okumumanya ekisingawoko. Singa agaana, tomwetayirira atuuke n’okukwetamwa. Kijjukire nti omuntu oyo naye alina eddembe okwesalirawo ky’ayagala. Kyokka, bw’aba akkirizza, oyinza okukola enteekateeka ne mubangako awamu mwembi nga mwenyigira mu bintu ebizimba. Kino kijja kukuwa omukisa okulaba obanga okufumbiriganwa n’omuntu ono kinaaba kya magezi. * Kiki kye wandibadde onoonyereza mu kiseera kino?
12 Okuddamu ekibuuzo ekyo, lowooza ku bivuga bibiri eby’ennyimba, ennanga ne jjita. Bwe biba bireegeddwa bulungi, buli kimu kiba kisobola okuvaamu ennyimba ennungi ennyo. Naye kiba kitya singa ebivuga ebyo byombi bikubirwa wamu? Kati biba birina okutuukagana obulungi. Bwe kityo bwe kiri gy’oli n’oyo gw’oyagala okufumbiriganwa naye. Buli omu ku mmwe ayinza okuba ng’afubye nnyo okutereeza engeri ze ez’obuntu.
Naye kaakano ekibuuzo kiri nti: Musaaniragana? Mu ngeri endala, mutuukagana bulungi?13. Lwaki tekiba kya magezi n’akatono okwogereza omuntu bwe mutafaananya nzikiriza?
13 Kikulu nnyo mwembi mube n’enzikiriza y’emu era nga mugoberera emisingi gye gimu. Omutume Pawulo yawandiika: “Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana.” (2 Abakkolinso 6:14; 1 Abakkolinso 7:39) Okufumbiriganwa n’omuntu bwe mutalina nzikiriza y’emu mu Katonda kuyinza okuleetawo obutategeeragana obw’amaanyi. Ku luuyi olulala, mwembi bwe muba mwemalidde ku Yakuwa Katonda, ogwo gwe musingi ogusingirayo ddala obunywevu. Yakuwa ayagala obe musanyufu era obeere n’enkolagana ey’oku lusegere n’oyo gw’ogenda okufumbiriganwa naye. Ayagala munywerere ku Ye era buli omu anywerere ku munne mu nkwaso ey’okwagala ebagatta abasatu.—Omubuulizi 4:12.
14, 15. Okuba n’enzikiriza emu kye kintu kyokka ekireeta obumu mu bufumbo? Nnyonnyola.
14 Wadde ng’okusinziza Katonda awamu kye kintu ekisinga obukulu ekibagatta awamu, waliwo n’ebirala ebizingirwamu. Okusobola okutuukagana obulungi, ggwe n’oyo gw’osuubira okufumbiriganwa naye musaanidde okuba n’ebiruubirirwa ebifaanagana. Ebiruubirirwa byo bye biruwa? Ng’ekyokulabirako, mwembi mulowooza mutya ku ky’okuzaala abaana? Bintu ki ebitwala ekifo ekisooka mu bulamu bwammwe? * (Matayo 6:33) Mu bufumbo obulungi ddala, abo ababulimu baba ba mukwano nnyo era banyumirwa okubeera awamu. (Engero 17:17) N’olw’ensonga eno, kibeetaagisa okuba ne bye baagala ebifaanana. Kiba kizibu okukuuma omukwano ogw’oku lusegere—ate kizibu n’okusingawo okukuuma obufumbo—bye baagala bwe biba tebifaanana. Naye, singa gw’osuubira okufumbiriganwa naye alina ky’anyumirwa, gamba ng’okutambula, naye nga ggwe tokunyumirwa, kino kiba kitegeeza nti temusaanidde kufumbiriganwa? Si bwe kiri. Oboolyawo mwembi munyumirwa ebirala ebisingako obukulu. Ate era, oyinza okusanyusa oyo gw’osuubira okufumbiriganwa naye nga mwenyigira mu bintu ebisaana olw’okuba bimunyumira.—Ebikolwa 20:35.
15 Ddala ddala, ggwe okusobola okutuukagana obulungi ne munno kyesigamye nnyo ku kuba nga mwembi muli beetegefu okukyusaako okusinga okuba nga mulina bye mufaananya. Mu kifo ky’okubuuza nti, “Tukkiriziganya mu buli kintu?” ebibuuzo ebisingako obulungi byandibadde: “Kiki ekibaawo nga tetutegeeraganye? Tuyinza okwogera ku nsonga mu bukkakkamu, nga buli omu awa munne ekitiibwa? Oba okuteesa kutera okufuuka enkaayana ez’amaanyi?” (Abeefeso 4:29, 31) Bw’oba oyagala okuyingira obufumbo, weegendereze omuntu yenna ow’amalala era, agugubira ku ndowooza ze, atali mwetegefu kwekkiriranya, oba oyo buli kiseera ayagala ekikye kye kiba kikolebwa.
MANYA NGA TEBUNNABA
16, 17. Omusajja oba omukazi ayinza kwetegereza bintu ki ku muntu gw’asuubira okufumbiriganwa naye?
16 Mu kibiina Ekikristaayo, abo abaweebwa obuvunaanyizibwa balina ‘okusooka okugezesebwa okulaba oba nga basaanidde.’ (1 Timoseewo 3:10, NW) Naawe oyinza okukozesa omusingi guno. Ng’ekyokulabirako, omukazi ayinza okubuuza, “Omusajja ono yeekoledde linnya lya ngeri ki? Mikwano gye be baani? Yeefuga? Bannamukadde abayisa atya? Ava mu maka ga ngeri ki? Akolagana atya n’ab’ewaabwe? Alina ndowooza ki ku bikwata ku nsimbi? Akozesa bubi ebitamiiza? Wa busungu, era mukambwe? Alina buvunaanyizibwa ki mu kibiina, era abutuukiriza atya? Nsobola okumussaamu ekitiibwa?”—Eby’Abaleevi 19:32; Engero 22:29; 31:23; Abeefeso 5:3-5, 33; 1 Timoseewo 5:8; 6:10; Tito 2:6, 7.
17 Omusajja ayinza okubuuza, “Omukazi ono alaga okwagala era awa Katonda ekitiibwa? Asobola okulabirira awaka? Ab’omu maka ge banaatusuubira kukola ki? Wa magezi, mukozi, mukekkereza? Ayogera ku ki? Ddala afaayo ku bulungi bw’abalala, oba yeefaako yekka, yeeyingiza mu bitamukwatako? Mwesigwa? Mwetegefu okugondera obukulembeze, oba wa mputtu, era mujeemu?”—Engero 31:10-31; Lukka 6:45; Abeefeso 5:22, 23; 1 Timoseewo 5:13; 1 Peetero 4:15.
18. Singa obunafu obutonotono bulabibwa mu kiseera eky’okwogerezaganya, kiki ekisaanidde okujjukirwa?
18 Teweerabira nti okolagana na muzzukulu wa Adamu atali mutuukirivu, so si musajja oba omukazi omuzira asomebwako mu butabo bw’enfumo z’abaagalana. Buli omu alina ebimulema, era ng’ebimu ku bino birina kubuusibwa maaso—ebibyo n’eby’oyo gw’osuubira okufumbiriganwa naye. (Abaruumi 3:23; Yakobo 3:2) Ate era, obunafu obuba buzuuliddwa buyinza okusobozesa omuntu okukula mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti mu kiseera eky’okwogereza mufuna enkaayana. Lowooza ku bino: N’abantu abaagalana era abawaŋŋana ekitiibwa bayinza obutategeeragana ebiseera ebimu. (Geraageranya Olubereberye 30:2; Ebikolwa 15:39.) Kyandiba nti mwembi mwetaaga ‘okuziyiza omwoyo gwammwe’ ekisingako awo n’okuyiga okutereezaamu ensonga mu ngeri ey’emirembe? (Engero 25:28) Oyo gw’osuubira okufumbiriganwa naye akiraze ng’ayagala okulongoosaamu? Ate ggwe? Oyinza okuyiga obutanyiiga mangu? (Omubuulizi 7:9) Okuyiga okugonjoola ebizibu kiyinza okuteekawo empuliziganya ey’obwesimbu eyeetaagibwa ennyo singa mufumbiriganwa.—Abakkolosaayi 3:13.
19. Kyandibadde kya magezi kukola ki singa wazuukawo ekizibu eky’amaanyi mu kwogerezaganya?
Engero 22:3; Omubuulizi 2:14) Bw’oba obadde n’enkolagana n’omuntu gw’olinamu enkenyera ey’amaanyi, kiba kya magezi okukomya enkolagana eyo n’obuteeyama kufumbiriganwa naye.
19 Naye, kiba kitya singa olaba ebintu ebikukanga? Ebintu ng’ebyo biteekwa okulowoozebwako n’obwegendereza. Ka kibe ng’owulira okwagala kwenkana wa oba wadde ng’oyagala nnyo okuyingira obufumbo, tobuusa maaso bikyamu bya maanyi. (OKWOGEREZAGANYA MUKUKUUME NGA KWA KITIIBWA
20. Aboogerezeganya bayinza batya okukuuma empisa zaabwe nga nnungi?
20 Muyinza mutya okukuuma okwogerezaganya kwammwe nga kwa kitiibwa? Okusooka, mukakase nti enneeyisa yammwe tereetawo kivume kyonna. Mu kitundu we muli, okukwatagana emikono, okunywegera, oba okuwambaatiragana birowoozebwa okuba empisa ennungi bwe biba bikolebwa abantu abatannaba kufumbiriganwa? Wadde ng’ebikolwa ng’ebyo ebyoleka omukwano si bikyamu, tebisaanidde kwenyigirwamu okuggyako ng’enkolagana yammwe etuuse ku ddaala ery’okuba nti ddala mugenda kufumbiriganwa. Mwegendereze nti ebikolwa ebyoleka omukwano tebibaviiramu mpisa zitali nnyonjo kabekasinge n’obwenzi. (Abeefeso 4:18, 19; geraageranya Oluyimba 1:2; 2:6; 8:5, 9, 10.) Olw’okuba omutima mulimba, kyandibadde kya magezi mwembi okwewala okuba mwekka mu nnyumba, mu mmotoka eyimiridde, oba awalala wonna awayinza okubaviiramu okwenyigira mu empisa ezitasaana. (Yeremiya 17:9) Okukuuma okwogerezaganya nga kuyonjo kiwa obujulirwa obulaga nti weefuze era nti ofaayo ku bulungi bwa munno okusinga okwegomba kwo. Ekisinga byonna obukulu, okwogerezaganya okuyonjo kujja kusanyusa Yakuwa Katonda, alagira abaweereza be okwewalanga obutali bulongoofu n’obwenzi.—Abaggalatiya 5:19-21.
21. Mpuliziganya ki ey’obwesigwa eyinza okwetaagibwa okusobola okukuuma okwogerezaganya nga kwa kitiibwa?
21 Eky’okubiri, okwogerezaganya okw’ekitiibwa era kutwaliramu n’empuliziganya ey’obwesimbu. Ng’okwogerezaganya kusemberera obufumbo, ebintu ebimu bijja kuba birina okwogerwako obutereevu. Munaabeera wa? Mwembi kinaabeetaagisa okukola? Mwagala okufuna abaana? Era, kiba kya bwenkanya okubikkula ebintu, oboolyawo bye wakola mu biseera ebyayita, ebiyinza okubaako kye bikola ku bufumbo. Bino biyinza okutwaliramu amabanja amanene oba obuvunaanyizibwa bw’olina oba ebikwata ku bulamu bwo, gamba ng’obulwadde obw’amaanyi oba embeera gy’olimu. Okuva abantu abangi abalina HIV (akawuka akaleeta AIDS) bwe batalaga bubonero mangu, tekyandibadde kikyamu omuntu oba abazadde abalumirirwa, okusaba omuntu oyo eyenyigiranga mu mpisa ez’obukaba oba eyeekubanga empiso z’amalagala agatamiiza okwekebeza omusaayi olwa AIDS. Singa okukeberebwa kukakasa ng’alina obulwadde, omulwadde tasaanidde kuwaliriza oyo gw’abadde ayagala okufumbiriganwa naye kweyongera mu maaso na nkolagana ebaddewo singa atali mulwadde ayagala bikome awo. Mazima ddala, omuntu yenna abadde n’enneeyisa ey’ekigwenyufu asaanidde okwekebeza omusaayi olwa AIDS nga tannatandika kwogereza.
OKULENGERA EWALA OLUVANNYUMA LW’EMBAGA
22, 23. (a) Omuntu ayinza atya okugwa olubege ng’ateekateeka embaga? (b) Ndowooza ki etegudde lubege esaanidde okukuumibwa ng’embaga n’obufumbo birowoozebwako?
22 Mu myezi egisembayo ng’obufumbo bunaatera okutuuka, mwembi mujja kuba nga mukola nnyo okuteekateeka embaga. Muyinza okukendeeza ku buzito Yokaana 2:9.
nga muteekateeka ebintu mu ngeri ey’ekigero. Embaga gaggadde eyinza okusanyusa ab’eŋŋanda n’abantu ab’omu kitundu, naye eyinza okuleka abaakafumbiriganwa n’amaka gaabwe nga bakoowu nnyo mu mubiri era nga n’ensimbi zibaweddeko. Okugoberera empisa ezimu ez’omu kitundu si kikyamu, naye okuzeesibirako ddala oboolyawo olw’okuvuganya n’abalala kuyinza okwonoona amakulu g’omukolo era ne kibamalako essanyu lye mwandibadde nalyo. Wadde ng’ateekwa okufaayo ku nneewulira y’abalala, omugole omusajja y’avunaanyizibwa okusalawo kiki ekinaaba mu mbaga.—23 Jjukira nti embaga yo ya lunaku lumu lwokka, naye obufumbo bwo bwa kubaawo obulamu bwo bwonna. Ebirowoozo byo byonna tobimalira ku kikolwa bukolwa eky’okuyingira obufumbo. Wabula, tunuulira Yakuwa Katonda okufuna obulagirizi, era weetegekere obulamu obw’omu maaso obw’okuba omufumbo. Olwo onooba weeteekeddeteekedde bulungi obufumbo obulungi.
^ lup. 11 Kino kikolebwa mu nsi okulagaanya okusanyukirako awamu gye kutwalibwa nga kusaanira eri Abakristaayo.
^ lup. 14 Ne mu kibiina Ekikristaayo, muyinza okubaamu abali ku ndebolebo. Mu kifo ky’okubeera abaweereza ba Katonda abeewaddeyo n’omutima gwonna, bayinza okutwalirizibwa endowooza n’empisa ez’ensi.—Yokaana 17:16; Yakobo 4:4.