Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OMUKAAGA

Yamba Omwana Wo Avubuse Okukula Obulungi

Yamba Omwana Wo Avubuse Okukula Obulungi

1, 2. Emyaka egy’obutiini giyinza kuleeta ssanyu na kusoomooza bya ngeri ki?

OKUBA n’omwana avubuse mu nnyumba kya njawulo nnyo ku kuba n’omwana ow’emyaka etaano oba ow’emyaka ekkumi. Emyaka gy’obutiini girimu okusoomooza n’ebizibu, naye era giyinza okuleeta essanyu n’emikisa. Ebyokulabirako nga Yusufu, Dawudi, Yosiya, ne Timoseewo biraga nti abavubuka bayinza okweyisa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa era n’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Olubereberye 37:2-11; 1 Samwiri 16:11-13; 2 Bassekabaka 22:3-7; Ebikolwa 16:1, 2) Abavubuka bangi leero bakoledde ddala bwe batyo. Kyandiba nga omanyi n’abamu ku bo.

2 Kyokka, eri abamu emyaka gy’obutiini gya mutawaana. Abavubuka baba n’enneewulira ez’omunda ezikyukakyuka. Abalenzi n’abawala abatiini bayinza okwagala eddembe erisingako, bayinza n’obutaagala kukugirwa bazadde baabwe. Kyokka, abavubuka ng’abo baba tebalina bumanyirivu era beetaaga obuyambi obw’obwagazi era obw’obugumiikiriza okuva eri bazadde baabwe. Yee, emyaka gy’obutiini giyinza okuba egy’essanyu, naye era giyinza okuba emizibu​—eri abazadde n’eri abavubuka. Abavubuka basobola batya okuyambibwa mu myaka gino?

3. Ngeri ki abazadde gye basobola okuyambamu obulungi abaana baabwe mu bulamu?

3 Abazadde abagoberera okubuulirira kwa Baibuli basobozesa abaana baabwe abavubuse okuyita mu bizibu ebyo ne bafuuka abantu abakulu ab’obuvunaanyizibwa. Mu mawanga gonna era mu biseera byonna, abazadde n’abavubuka abagoberedde emisingi gya Baibuli basobodde okutuuka ku buwanguzi.​—Zabbuli 119:1.

EMPULIZIGANYA ENNUNGI ERA EY’OBWESIMBU

4. Lwaki okuteesa kwetaagisa nnyo mu myaka egy’obutiini?

4 Baibuli egamba nti: “Bwe watabaawo kuteesa enteekateeka zigootaana.” (Engero 15:22, NW) Bwe kiba nti okuteesa kwali kwetaagibwa nga abaana bakyali bato, kuba kwetaagisa nnyo n’okusingawo mu myaka gy’obutiini​—abavubuka we babeerera awaka ebiseera ebitono nga ebiseera ebisinga babimala na mikwano gyabwe ab’oku ssomero oba bannaabwe abalala. Bwe watabaawo kuteesa​—empuliziganya ennungi era ey’obwesimbu wakati w’abazadde n’abaana​—abatiini bayinza okufuuka ng’abantu abatali ba waka. Kati olwo emikutu gy’empuliziganya giyinza gitya okukuumibwa nga miggule?

5. Abatiini bakubirizibwa kuba na ndowooza ki ku by’empuliziganya ne bazadde baabwe?

5 Bombi abatiini n’abazadde balina okutuukiriza kye bateekeddwa okukola. Kituufu, abavubuka bayinza okukisanga nga kizibu okwogera ne bazadde baabwe okusinga bwe kyali nga bakyali bato. Wadde kiri kityo, tujjukire nti “okuluŋŋamya okw’amagezi nga kubuze, abantu bagwa: naye mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.” (Engero 11:14) Ebigambo bino bikwata ku bonna, abato n’abakulu. Abavubuka abalaba kino bajja kukitegeera nti bakyetaaga obulagirizi obw’amagezi, okuva bwe boolekaganye n’ebizibu ebisingako ku ebyo bye baalina emabega. Bateekwa okukimanya nti bazadde baabwe abakkiriza balina ebisaanyizo eby’okubawa amagezi kubanga be babasinga okuba n’obumanyirivu mu bulamu era bakiraze nti babafaako nnyo okumala emyaka mingi. N’olwekyo, mu kiseera kino eky’obulamu bwabwe, abavubuka ab’amagezi tebajja kwesala ku bazadde baabwe.

6. Ndowooza ki abazadde ab’amagezi era abaagazi gye baba nayo ku by’empuliziganya n’abaana baabwe abatiini?

6 Empuliziganya ennungi etegeeza nti omuzadde ajja kufuba okuwuliriza ng’omuvubuka alina ky’ayagala okumutegeeza. Bw’oba oli muzadde, kakasa nti otaddewo empuliziganya ennungi. Kino kiyinza obutaba kyangu. Baibuli egamba nti waliwo “ekiseera eky’okusirikiramu, n’ekiseera eky’okwogereramu.” (Omubuulizi 3:7) Singa omwana wo omutiini awulira nga kye kiseera okwogera, kiyinza okuba nga kye kiseera ggwe okusirika. Wandiba ng’ekiseera ekyo obadde ogenda kwesomesa, kuwummulako, oba okukola emirimu gy’omu nnyumba. Wadde kiri bwe kityo, singa omwana wo ayagala okwogera naawe, gezaako okukyusaamu ku ntegeka zo owulirize. Singa tokola bw’otyo, olulala ayinza obutagerezaako ddala. Jjukira ekyokulabirako kya Yesu. Lumu yali ategese kuwummulako. Naye abantu bwe beekuluumululira w’ali okumuwuliriza, eby’okuwummula yabivaako n’atandika okubayigiriza. (Makko 6:30-34) Abatiini abasinga obungi bakimanyi nti bazadde baabwe tebalina biseera, naye beetaaga okukakasibwa nti bazadde baabwe bajja kubayamba we babeetaagira. N’olwekyo, beera mwetegefu okuyamba omwana wo era laga okutegeera.

7. Abazadde beetaaga kwewala ki?

7 Gezaako okujjukira bwe kyali bwe wali omuvubuka, era saagasaagako nabo! Abazadde balina okusanyukira awamu n’abaana baabwe. Abazadde bwe babaako n’ebiseera eby’eddembe, babikozesa batya? Bwe baba nga bulijjo baagala kukozesa ebiseera byabwe eby’eddembe nga bakola ebintu ebitenyigirwamu ba mu maka bonna, abaana baabwe abatiini bajja kukiraba mangu. Singa abavubuka bafuna endowooza nti bannaabwe ku ssomero babalowoozaako nnyo okusinga bazadde baabwe, bajja kwesanga mu bizibu.

EBY’OKWOGERAKO

8. Obwesigwa, okukola n’amaanyi, n’empisa ennungi biyinza bitya okuyigirizibwa abaana?

8 Singa abazadde tebayigirizanga baana baabwe kubeera beesigwa na kukola na maanyi, bateekwa buteekwa okukikola mu myaka gy’obutiini. (1 Abassessalonika 4:11; 2 Abassessalonika 3:10) Era balina okukakasa nti abaana baabwe bakkiriza n’omutima gwabwe gwonna nti kikulu okutambulira mu mpisa ennongoofu. (Engero 20:11) Omuzadde abayamba kinene okutegeera ensonga zino okuyitira mu kyokulabirako kye. Ng’abaami abatali bakkiriza bwe bayinza okuwangulwa “awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe,” n’abavubuka nabo bayinza okuyiga emisingi emituufu okuyitira mu mpisa z’abazadde baabwe. (1 Peetero 3:1) Kyokka, ekyokulabirako ku bwakyo tekimala, okuva abaana era lwe boolekaganye n’ebyokulabirako ebibi bingi n’ebisikiriza bingi ebweru w’amaka. N’olwekyo, abazadde abafaayo, beetaaga okutegeera endowooza abaana baabwe abavubuse gye balina ku ebyo bye balaba ne bye bawulira, era kino kijja kwetaagisa okunyumya okw’amakulu.​—Engero 20:5.

9, 10. Lwaki abazadde basaanidde okukakasa nti bayigiriza abaana baabwe ku by’okwetaba, era bayinza kukikola batya?

9 Kino bwe kiri naddala bwe kituuka ku nsonga ezikwata ku by’okwetaba. Abazadde, muwulira ensonyi okwogera n’abaana bammwe ku by’okwetaba? Wadde nga kikukwasa ensonyi, fuba okukikola, kubanga abaana bo abato mazima ddala bajja kuyiga ebintu ebyo okuva ku muntu mulala. Bw’otoobeeko ky’obayigiriza, ani amanyi eby’obulimba bye banaagambibwa? Mu Baibuli, eby’okwetaba Yakuwa abyogerako kaati, n’abazadde bandikoze bwe batyo.​—Engero 4:1-4; 5:1-21.

10 Kirungi nnyo nti Baibuli erimu obulagirizi obukwata ku nsonga ez’eby’okwetaba, era Watchtower Society efulumizza ebitabo bingi ebiyamba ebiraga nti obulagirizi buno bukyakola ne mu nsi ey’akakyo kano. Lwaki tokozesa buyambi buno? Ng’ekyokulabirako, lwaki tokubaganya birowoozo ne muwala wo oba mutabani wo ku ssuula ezikwata ku nsonga eyo mu kitabo Questions ­Young People Ask​Answers That Work? Omuzingo 1 ne 2. Ebirungi ebinaavaamu biyinza okukwewuunyisa.

11. Ngeri ki esingayo obulungi abazadde gye bayinza okuyigirizaamu abaana baabwe okuweereza Yakuwa?

11 Nsonga ki esinga obukulu abazadde n’abaana gye bandinyumizzaako? Omutume Pawulo agyogerako bwe yawandiika: “[Abaana bammwe] mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” (Abeefeso 6:4) Abaana balina okweyongera okuyiga ku Yakuwa. Naddala, beetaaga okuyiga okumwagala, era basaanye okwagala okumuweereza. Ne mu kino balina bingi bye basobola okuyiga okuva ku kyokulabirako kyammwe. Singa abavubuka bakiraba nti abazadde baabwe baagala Katonda ‘n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna, n’amagezi gaabwe gonna’ era nga kino kivuddemu ebibala ebirungi mu bulamu bw’abazadde baabwe, nabo bayinza okukola kye kimu. (Matayo 22:37) Mu ngeri y’emu, singa abavubuka balaba nga bazadde baabwe balina endowooza esaanira ku bikwata ku by’okufuna, nga bakulembeza Obwakabaka bwa Katonda, bajja kuyambibwa okukulaakulanya endowooza y’emu.​—Omubuulizi 7:12; Matayo 6:31-33.

Okuyiga kwa Baibuli obutayosa kikulu eri amaka

12, 13. Bintu ki ebirina okujjukirwa okusobola okuba n’okuyiga kw’amaka okulungi?

12 Okuyiga kwa Baibuli okw’amaka okwa buli wiiki kuyamba nnyo mu kuyigiriza abavubuka eby’omuwendo eby’eby’omwoyo. (Zabbuli 119:33, 34; Engero 4:20-23) Kikulu nnyo okuba n’okuyiga ng’okwo obutayosa. (Zabbuli 1:1-3) Abazadde n’abaana baabwe basaanidde okukimanya nti okuyiga kw’amaka kwe kukulembera ebirala ne biryoka bigoberera, so si kukulembeza bintu birala. Ate era, endowooza entuufu yeetaagibwa okuyiga kw’amaka okusobola okuba okw’omuganyulo ddala. Taata omu yagamba: “Ekyama kiri mu mukubiriza okussaawo embeera ennungi, kyokka nga ya kitiibwa, mu kiseera eky’okuyiga kw’amaka​—bonna ne baba nga beewulira eddembe kyokka nga bassaamu okuyiga okwo ekitiibwa. Okupimapima okutuufu kuyinza obutaba kwangu kutuukako, era emirundi mingi abavubuka bajja kwetaaga okutereezebwa mu ndowooza zaabwe. Singa ebintu tebigenda bulungi omulundi gumu oba ebiri, tolekulira era gezaako omulundi omulala.” Taata y’omu ono yagamba nti mu kusaba kwe nga tebannatandika kuyiga kwabwe, yasabanga Yakuwa abayambe bonna okufuna endowooza entuufu.​—Zabbuli 119:66.

13 Okukubiriza okuyiga kw’amaka buvunaanyizibwa bw’abazadde abakkiriza. Kituufu nti abazadde abamu bayinza obutaba basomesa balungi, era kiyinza okubabeerera ekizibu okunyumisa okuyiga kw’amaka. Wadde kiri bwe kityo, bw’oba oyagala abaana bo abatiini “mu bikolwa ne mu mazima,” ojja kwagala okubayamba mu ngeri ey’obuwombeefu era ey’obwesimbu okukula mu by’omwoyo. (1 Yokaana 3:18) Olumu n’olumu bayinza okwemulugunya, naye bajja kutegeera nti obagaaliza birungi byereere.

14. Ekyamateeka 11:18, 19 ziyinza zitya okugobererwa ku bikwata ku kuyigiriza abatiini eby’omwoyo?

14 Okuyiga kw’amaka si gwe mulundi gwokka lw’oyinza okwogera ku nsonga enkulu ez’eby’omwoyo. Okyajjukira ekiragiro kya Yakuwa eri abazadde? Yagamba: “Kale mutereke ebigambo byange ebyo mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; era munaabisibanga okuba akabonero ku mikono gyammwe, era binaabanga eby’oku kyenyi wakati w’amaaso gammwe. Era munaabiyigirizanga abaana bammwe, nga mubinyumya, bw’onootuulanga mu nnyumba yo era bw’onootambulanga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga.” (Ekyamateeka 11:18, 19; era laba Ekyamateeka 6:6, 7.) Kino tekitegeeza nti buli kiseera abazadde bateekwa kuba nga babuulira baana baabwe. Naye omutwe gw’amaka omwagazi alina okuba obulindaala buli kiseera okukozesa buli kakisa akabaawo okuzimba ab’omu maka ge mu by’omwoyo.

OKUKANGAVVULA N’OKUWA EKITIIBWA

15, 16. (a) Okukangavvula kye ki? (b) Ani avunaanyizibwa okukangavvula, era ani alina obuvunaanyizibwa obw’okulaba nti kugobererwa?

15 Okukangavvula kwe kuyigiriza okutereeza, era kubaamu empuliziganya. Okukangavvula okusingira ddala kitegeeza kutereeza so si kubonereza​—wadde ng’okubonereza kuyinza okwetaagisa. Abaana bo beetaaganga okukangavvulwa nga bakyali bato, ne kaakano nga bavubuse, bakwetaaga, kabekasinge n’okusingawo. Abavubuka ab’amagezi kino bakitegeera bulungi.

16 Baibuli egamba nti: “Omusirusiru anyooma okubuulirira [“okukangavvula,” NW] kwa kitaawe: naye oyo assaayo omwoyo eri okunenya afuna obutegeevu.” (Engero 15:5) Tuyiga bingi okuva mu kyawandiikibwa kino. Kiraga nti okukangavvula kulina okuweebwa. Omuvubuka tajja ‘kussaayo mwoyo eri kunenya’ kutamuweereddwa. Yakuwa obuvunaanyizibwa bw’okukangavvula abuteeka ku bazadde, naddala ku taata. Kyokka, buvunaanyizibwa bwa muvubuka okuwuliriza okukangavvulwa okwo. Ajja kuyiga ebisingawo era ajja kukola ensobi ntono singa afaayo ku kukangavvulwa okw’amagezi okumuweebwa kitaawe ne nnyina. (Engero 1:8) Baibuli egamba: “Obwavu n’ensonyi biriba by’oyo agaana okubuulirirwa [“okukangavvulwa,” NW]: naye assaayo omwoyo eri okun[e]nyezebwa alissibwamu ekitiibwa.”​—Engero 13:18.

17. Mu ngeri ki abazadde gye beetaaga obutagwa lubege nga bakangavvula?

17 Mu kukangavvula abavubuka, abazadde tebalina kugwa lubege. Bandyewaze okunonooza ennyo buli kantu ne batuuka okunyiiza abaana baabwe, oboolyawo ne kireetera abaana baabwe obuteekakasa. (Abakkolosaayi 3:21) Naye ate abazadde tebasaanidde kwekkiriranya ne balemwa okuwa abaana baabwe okutendekebwa okwetaagisa. Okwekkiriranya ng’okwo kuyinza okuba okw’akabi. Engero 29:17 lugamba: “Buuliriranga omwana wo, anaakuwanga okuwummula; weewaawo, anaasanyusanga emmeeme yo.” Kyokka, olunyiriri 21 lugamba: “Alera omuddu we nga yeekanasa okuva mu buto bwe, alimufuukira omwana [“atasiima,” NW] ku nkomerero.” Newakubadde olunyiriri luno lwogera ku muddu, ebigambo ebyo bikwata ne ku mwana yenna mu maka.

18. Okukangavvula kwoleka ki, era kiki ekyewalibwa abazadde bwe bawa okukangavvula mu ngeri etagudde lubege?

18 Mu butuufu, okukangavvula okusaanira buba bukakafu obulaga okwagala kw’omuzadde eri omwana we. (Abebbulaniya 12:6, 11) Bw’oba oli muzadde, okimanyi nti kizibu okukangavvula mu ngeri esaana era etagudde lubege. Olw’okwagala okukuuma emirembe, kiyinza okulabika ng’ekisingako obwangu okuleka omuvubuka ow’emputtu okukola ky’ayagala. Kyokka, omuzadde akola bw’atyo oluvannyuma lwa byonna ajja kukungulamu amaka agatafugika.​—Engero 29:15; Abaggalatiya 6:9.

OKUKOLA N’OKUZANNYA

19, 20. Abazadde bayinza batya okukwata ensonga y’okwesanyusaamu kw’abaana baabwe abavubuse mu ngeri ey’amagezi?

19 Mu biseera eby’edda abaana baasuubirwanga okuyambako awaka oba mu nnimiro. Kaakano abavubuka bangi balina ebiseera bingi eby’eddembe. Entegeka ey’eby’obusuubuzi etaddewo enkuyanja y’ebintu ebisobola okukolebwa mu biseera ebyo eby’eddembe. Ate okwo bw’ogattako nti emitindo gya Baibuli egy’empisa ennungi ensi eginyoomoola, ng’olwo omaze okuzuula awasibuka obuzibu.

20 N’olwekyo, omuzadde ow’amagezi atwala obuvunaanyizibwa okusalawo eky’enkomerero ku bikwata ku by’okwesanyusaamu. Kyokka, teweerabira nti omuvubuka agenda akula. Buli mwaka oguddawo, ajja kwagala okuyisibwa ng’omuntu omukulu. N’olwekyo, omuvubuka gye yeeyongera okukula kiba kya magezi omuzadde okumuwa eddembe erisingako mu kulondawo eby’okwesanyusaamu by’ayagala​—kasita by’alonda biba nga byoleka okukulaakulana mu by’omwoyo. Ebiseera ebimu, omuvubuka ayinza okulonda obubi mu by’ennyimba, emikwano, n’ebirala. Kino bwe kibaawo, kisaanidde okuteesebwako n’omuvubuka oyo asobole okulondawo by’ayagala mu ngeri esingako obulungi mu biseera eby’omu maaso.

21. Okupima n’obwegendereza ekiseera ekimalibwa mu kwesanyusaamu kukuuma kutya abatiini?

21 Kiseera kyenkana wa ekyandiweereddwa eby’okwesanyusaamu? Mu nsi ezimu abatiini bawubisiddwa okulowooza nti balina kuba nga benyigira mu bya kwesanyusaamu buli kiseera. N’olw’ensonga eyo omuvubuka ayinza okukola entegeka abe ng’ava ku “kikujjuko” ekimu okudda mu kirala. Abazadde balina okumuyigiriza nti ebiseera bisaanidde okuweebwayo ne ku bintu ebirala, gamba eri ab’omu maka, okwesomesa yekka, okukolagana n’abantu abakuze mu by’omwoyo, enkuŋŋaana z’Ekikristaayo, n’emirimu egy’awaka. Kino kijja kukugira “eby’amasanyu ag’omu bulamu buno” okuzisa Ekigambo kya Katonda.​—Lukka 8:11-15, NW.

22. Okwesanyusaamu kusaanidde kugendere wamu na kintu ki mu bulamu bw’omutiini?

22 Kabaka Sulemaani yagamba: “Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n’okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu. Era buli muntu okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.” (Omubuulizi 3:12, 13) Yee, mu bulamu mubaamu okusanyuka. Naye era mubaamu n’okukola ennyo. Abatiini bangi leero tebamanyi ssanyu liri mu kukola nnyo oba enneewulira ennungi efunibwa mu kwaŋŋanga ekizibu n’okigonjoola. Abamu tebaweereddwa kakisa kuyiga mulimu gusobola kubayimirizaawo mu biseera eby’omu maaso. Kuno kusoomooza kwa maanyi eri omuzadde. Onookakasa nti omwana wo afuna akakisa ako? Singa oyigiriza omwana wo omutiini obukulu bw’okukola ennyo n’essanyu erikulimu, ajja kufuna endowooza entuufu eneemuleetera emiganyulo mu bulamu bwe.

OKUVA MU BUTIINI N’AFUUKA OMUNTU OMUKULU

Abaana bo balage okwagala n’okusiima

23. Abazadde bayinza batya okuzzaamu abaana baabwe abatiini amaanyi?

23 Ne bw’oba ofunye ebizibu n’omwana wo omutiini, ekyawandiikibwa kino kiba kikyali kya mazima: “Okwagala tekuggwaawo.” (1 Abakkolinso 13:8) Tolekera awo kumulaga kwagala kw’olina. Weebuuze, ‘Njozayoza buli mwana olw’obuwanguzi bw’aba atuuseeko mu kwaŋŋanga ebizibu oba okuvvuunuka enkonge? Nkozesa buli kakisa akabaawo okulaga okwagala n’okusiima eri abaana bange, ng’akakisa ako kakyaliwo?’ Wadde nga wayinza okubaawo obutategeeragana, abatiini bwe bamanya nti obaagala, nabo bajja kukulaga okwagala.

24. Mu kutwalira awamu, musingi ki ogw’omu Byawandiikibwa ogukola mu kukuza abaana, naye kiki ekirina okujjukirwa?

24 Kya lwatu nti abaana bwe banaafuuka abantu abakulu bajja kuba nga beesalirawo bokka ebintu ebikulu ennyo. Oluusi abazadde bayinza obutaagala kisaliddwawo. Kiba kitya singa omwana waabwe asalawo okulekera awo okuweereza Yakuwa Katonda? Kino kiyinza okubaawo. N’abamu ku baana ba Yakuwa kennyini ab’omwoyo baagaana okubuulirirwa okuva gy’ali ne bajeema. (Olubereberye 6:2; Yuda 6) Abaana tebali nga kompyuta, ezisobola okuweebwa ebiragiro ne zikolera ddala bye twagala. Bitonde ebirina eddembe ery’okwesalirawo, era bavunaanyizibwa eri Yakuwa olw’ebyo bye baba basazeewo. Wadde kiri bwe kityo, Engero 22:6 lusigala nga lutuufu mu kugamba nti: “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.”

25. Ngeri ki esinga obulungi abazadde gye balagamu okusiima kwabwe eri Yakuwa olw’enkizo yaabwe ey’obuzadde?

25 N’olwekyo, abaana bo balage okwagala kungi. Kola kyonna ky’osobola okugoberera emisingi gya Baibuli mu kubakuza. Bateerewo ekyokulabirako ekirungi eky’empisa Katonda z’ayagala. Mu ngeri eno onooba owadde abaana bo omukisa ogusingayo obulungi okukula babe abantu ab’obuvunaanyizibwa abatya Katonda. Eno ye ngeri esingayo obulungi abazadde gye balagamu okusiima kwabwe eri Yakuwa olw’enkizo gye balina ey’okubeera abazadde.