Buuka ogende ku bubaka obulimu

Omuliro Ogutazikira Kye Kimu Ku Bintu Ebyoleka Obwenkanya Bwa Katonda?

Omuliro Ogutazikira Kye Kimu Ku Bintu Ebyoleka Obwenkanya Bwa Katonda?

Omuliro Ogutazikira Kye Kimu Ku Bintu Ebyoleka Obwenkanya Bwa Katonda?

Wali olabyeko omuntu ng’abonyaabonyezebwa? Ka tusuubire nti tomulabangako. Kinakuwaza nnyo okulaba omuntu ng’abonyaabonyezebwa. Ate olowooza otya ku ekyo ekigambibwa nti Katonda abonyaabonya abantu? Olowooza Katonda ayinza okukola ekintu ng’ekyo? Kyokka, enjigiriza ey’omuliro ogutazikira eyigirizibwa mu madiini mangi, eraga nti ekyo Katonda ky’akolera ddala.

Kuba akafaananyi ng’omuntu akalangibwa mu kkalaayi ennene eri ku muliro. Mu bulumi obungi yeegayirira okusaasirwa, naye tewali n’omu awuliriza. Akalangibwa buli lunaku awatali kusiriikirizaamu!

K’abe nga yazza musango ki, tewandimukwatiddwa ekisa? Olowooza otya ku oyo awadde ekiragiro ky’okukalanga omuntu oyo? Ddala aba alina okwagala? N’akatono! Omuntu alina okwagala aba wa kisa era nga musaasizi. Taata omwagazi ayinza okubonereza abaana be naye tayinza kubabonyaabonya!

Kyokka, amadiini mangi gayigiriza nti Katonda abonyaabonya aboonoonyi mu muliro ogutazikira. Gagamba nti ekyo kyoleka obwenkanya bwa Katonda. Bwe kiba ng’ekyo kituufu, ani yatonda ekifo ekyo eky’okubonyaabonyezaamu abantu emirembe gyonna? Era ani avunaanyizibwa ku kubonyaabonya abantu abakibeeramu? Eky’okuddamu kiba kyeyoleka kaati. Bwe kiba nti ekifo ng’ekyo gye kiri, Katonda y’aba yakitonda, era nga y’avunaanyizibwa ku kubonyaabonya ababeerayo.

Ekyo osobola okukikkiriza? Baibuli * egamba nti: “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Bwe kiba nti abantu banakuwala okulaba ng’omuntu abonyaabonyezebwa, olwo Katonda ow’okwagala gwe twandisuubidde okubonyaabonya abantu? Mu butuufu nedda!

Enjigiriza Etayoleka Bwenkanya

Kyokka, bangi bakkiriza nti ababi bagenda mu muliro ogutazikira era ne babonyaabonyezebwa emirembe gyonna. Kya magezi okukkiririza mu njigiriza eno? Abantu bawangaala emyaka 70 oba 80. Omuntu ne bw’aba nga yakola ebibi eby’amaanyi obulamu bwe bwonna, kyandibadde kya bwenkanya okumubonyaabonya emirembe gyonna? Nedda. Tekyandibadde kya bwenkanya okubonyaabonya omuntu emirembe gyonna olw’ebibi bye yakola mu myaka emitono egy’obulamu bwe.

Ani amanyi ekibaawo nga tufudde? Katonda yekka y’ayinza okututegeeza ekituufu ekikwata ku nsonga eno era akitutegeezezza okuyitira mu Kigambo kye, Baibuli, ekyogeddwako waggulu. Bw’eti Baibuli bw’egamba: “[Ng’ensolo] bw’efa, [n’omuntu] bw’afa bw’atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu; . . . Bonna bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate.” (Omubuulizi 3:19, 20) Wano omuliro ogutazikira tegwogerwako. Abantu badda mu nfuufu, kwe kugamba, bwe bafa baba tebakyaliwo.

Omuntu okusobola okubonyaabonyezebwa, aba alina okuba ng’ategeera. Abafu bategeera? Nedda. “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.” (Omubuulizi 9:5) Olw’okuba abafu, “tebaliiko kye bamanyi,” tebasobola kulumwa nga bookebwa mu muliro.

Enjigiriza ey’Akabi

Abamu bagamba nti enjigiriza ey’omuliro ogutazikira ya mugaso, k’ebe ntuufu oba nkyamu. Lwaki? Bagamba nti ekugira abantu okukola obubi. Ekyo kituufu? Tuyinza okwebuuza nti, obuzzi bw’emisango mu bitundu abantu gye bakkiririza mu muliro ogutazikira, buli ku kigero kya wansi okusinga mu bitundu ebirala? N’akatono! Mu butuufu, enjigiriza eyo ya kabi. Omuntu akkiriza nti Katonda abonyaabonya abantu ayinza okutunuulira okubonyaabonya abalala ng’ekintu ekibi? Tasobola n’akatono! Abo abakkiririza mu katonda omukambwe, batera okuba abakambwe nga katonda waabwe.

K’ebe ngeri ki omuntu gy’atunuuliramu ensonga eno, tasobola kukkiriza nti eriyo ekifo awali omuliro ogutazikira. Enjigiriza eno terina makulu. Mu mbeera ey’obuntu kinakuwaza nnyo okulaba omuntu nga abonyaabonyezebwa. Ate era, Ekigambo kya Katonda tekigamba nti ekifo ng’ekyo gye kiri. Omuntu bw’afa, “adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.”​—Zabbuli 146:4.

Kibonerezo Ki Kye Tufuna olw’Ekibi?

Ekyo kitegeeza nti tetubonerezebwa olw’ebibi byaffe? Nedda, si bwe kiri. Katonda waffe omutukuvu abonereza aboonoonyi naye tababonyaabonya. Era aboonoonyi bwe beenenya abasonyiwa. Kibonerezo ki kye tufuna olw’ekibi? Baibuli etuwa eky’okuddamu ekitegeerekeka obulungi. Egamba: “Empeera y’ekibi kwe kufa.” (Abaruumi 6:23) Obulamu kirabo okuva eri Katonda. Bwe twonoona tuba tetukyagwanira kufuna kirabo ekyo, era tufa.

Oyinza okwebuuza: ‘Ekyo kiyinza kitya okuba eky’obwenkanya ng’ate buli muntu afa?’ Tufa olw’okuba fenna tuli boonoonyi. Mu butuufu, tewali n’omu agwanira kufuna bulamu. “Nga ku bw’omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.”​—Abaruumi 5:12.

Kati oyinza okuba nga weebuuza: ‘Bwe kiba nti fenna twonoona era nga tufa, lwaki twandifubye okweyisa obulungi? Kirabika omuntu omubi ayisibwa mu ngeri y’emu ng’oyo agezaako okuweereza Katonda.’ Naye si bwe kiri. Wadde nga fenna tuli boonoonyi, Katonda asonyiwa abo abeenenya mu bwesimbu era ne bagezaako okukyusa amakubo gaabwe. Atuwa empeera bwe tufuba ‘okukyusa endowooza yaffe’ ne tukola ebirungi. (Abaruumi 12:2) Ensonga ezo ezoogeddwako waggulu ze tusinziirako okuba n’essuubi ery’ekitalo.

Empeera y’Okukola Ebirungi

Bwe tufa tuba tetukyaliwo. Naye ekyo tekitegeeza nti teri ssuubi lyonna. Yobu omusajja omwesigwa yali amanyi nti bwe yandifudde yandigenze mu ntaana (emagombe). Naye weetegereze engeri gye yasabamu Katonda: “Singa onkwese mu magombe, singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita, singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n’onjijukira! Omuntu bw’afa aliba mulamu nate? . . . Wandimpise, nange nandikuyitabye.”​—Yobu 14:13-15.

Yobu yali akkiriza nti bwe yandibadde omwesigwa okutuusa okufa, Katonda yandimujjukidde n’amuzuukiza. Kino abaweereza ba Katonda bonna ab’edda baali bakikkiriza. Yesu kennyini yakikakasa bwe yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi [lya Katonda], ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n’abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.”​—Yokaana 5:28, 29.

Okuzuukira kulibaawo ddi? Okusinziira ku Baibuli, kunaatera okubaawo. Obunnabbi bwa Baibuli bulaga nti, mu 1914 ensi eno yayingira mu ‘nnaku zaayo ez’oluvannyuma.’ (2 Timoseewo 3:1) Ku lunaku bangi lwe bayita ‘enkomerero y’ensi,’ Katonda ajja kuggyawo obubi era asseewo ensi empya enaabeera wansi w’obufuzi obw’omu ggulu.​—Matayo, essuula 24; Makko, essuula 13; Lukka, essuula 21; Okubikkulirwa 16:14.

Ekinaavaamu y’ensi erabika obulungi ennyo ng’eriko abantu abagezezzaako okuweereza Katonda mu bwesimbu. Abantu ababi tebajja kwokebwa muliro, naye tebajja kuba na mugabo mu Lusuku lwa Katonda olujja. Tusoma bwe tuti mu Zabbuli 37:10, 11: “[O]mubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo. Naye abawombeefu balisikira ensi: era banaasanyukiranga emirembe emingi.”

Bino byonna birooto bulooto? Nedda, bisuubizo bya Katonda. Tusoma bwe tuti mu Baibuli: “Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n’abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Okkiriza ebigambo ebyo? Osaanidde okubikkiriza. Ekigambo kya Katonda bulijjo kituukirira. (Isaaya 55:11) Tukukubiriza okweyongera okuyiga ebikwata ku bigendererwa bya Katonda eri abantu. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kusanyuka okukuyamba. Bw’oba oyagala bakuyambe, tukusaba okuwandiika ng’okozesa emu ku ndagiriro zino wammanga.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 6 Okusinziira ku Basiraamu, Baibuli erimu ebitabo ebimanyiddwa nga Tawuleeti, Zabbuli, n’Enjiri. Ennyiriri ezitakka wansi wa 64 mu Kolaani zigamba nti ebitabo bino Kigambo kya Katonda, era nti kikulu okubisoma n’okukolera ku biragiro ebibirimu. Abantu abamu bagamba nti Tawuleeti, Zabbuli, n’Enjiri, bikyusiddwakyusiddwamu. Abo aboogera bwe batyo balinga abagamba nti Katonda tayinza kukuuma Kigambo kye.