Yiga Ebiri mu Kigambo Kya Katonda
Kiki Ekinaabaawo ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango?
Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako, era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu bino.
1. Olunaku olw’Okusalirako Omusango kye ki?
Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi ekiri ku ddyo, abantu bangi balowooza nti ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango, obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu bajja kutwalibwa mu maaso g’entebe ya Katonda basalirwe omusango okusinziira ku ebyo bye baakola. Balowooza nti abamu bajja kufuna empeera mu ggulu, ate abalala babonyaabonyezebwe mu muliro ogutazikira. Kyokka, yo Bayibuli eraga nti Yakuwa yassaawo olunaku olw’okusalirako omusango, asobole okuggyawo obutali bwenkanya obuli mu nsi. (Zabbuli 96:13) Katonda yalonda Yesu okuba Omulamuzi anaggyawo obutali bwenkanya n’okubonaabona.—Soma Isaaya 11:1-5; Ebikolwa 17:31.
2. Obutali bwenkanya bunaggibwawo butya ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango?
Adamu, omuntu eyasooka, bwe yajeemera Katonda yaleetera abantu bonna okusikira ekibi, okubonaabona, n’okufa. (Abaruumi 5:12) Okusobola okuggyawo obutali bwenkanya obwo, Yesu ajja kuzuukiza obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaafa. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti ekyo Yesu ajja kukikola mu Bufuzi bwe obw’emyaka olukumi.—Soma Okubikkulirwa 20:4, 11, 12.
Abo abanaazukizibwa bajja kusalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye banaakola nga bamaze okuyigirizibwa ebiri mu ‘mizingo’ egyogerwako mu Okubikkulirwa essuula 20, so si kusinziira ku ebyo bye baakola nga tebannafa. (Abaruumi 6:7) Omutume Pawulo yagamba nti, “abatuukirivu n’abatali batuukirivu” bajja kuzuukizibwa. Bajja kufuna akakisa okuyiga ebikwata ku Katonda.—Soma Ebikolwa 24:15.
3. Abantu baliganyulwa batya mu Lunaku olw’Okusalirako Omusango
Abo abaafa nga tebafunye kakisa kuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumuweereza, bajja kufuna akakisa ako. Abo abanaakola ebintu ebirungi bajja kuba ‘bazuukiridde obulamu.’ Kyokka abamu ku abo abanaazuukizibwa, bajja kugaana okuyiga ebikwata ku Katonda. Bo bajja kuba ‘bazuukiridde omusango.’—Soma Yokaana 5:28, 29; Isaaya 26:10; 65:20.
Olunaku olw’Okusalirako Omusango olujja okumala emyaka olukumi we lunaggweerako, Yakuwa ajja kuba amaze okuyamba abantu abawulize okufuuka abatuukiridde nga Adamu bwe yali. (1 Abakkolinso 15:24-28) Awatali kubuusabuusa abantu abawulize bajja kufuna enkizo ya maanyi nnyo. Mu myaka egyo olukumi, Sitaani Omulyolyomi ajja kuba asibiddwa mu bunnya; naye ku nkomerero yaagyo ajja kusumululwa. Wajja kubaawo okugezesebwa okusembayo era Sitaani ajja kuddamu okubuzaabuza abantu ng’ayagala okubaggya ku Yakuwa. Naye abo abanaagaana okugoberera Sitaani bajja kunyumirwa obulamu ku nsi emirembe gyonna.—Soma Isaaya 25:8; Okubikkulirwa 20:7-9.
4. Lunaku ki olulala olw’okusalirako omusango olujja okuganyula abantu?
Bayibuli era ekozesa ebigambo ‘olunaku olw’omusango’ ng’eyogera ku kuzikirizibwa kw’enteekateeka ya Sitaani eriwo. Okuzikirizibwa okwo kujja kujjira mu kiseera abantu kye batakusuubiriramu, nga bwe kyali mu kiseera kya Nuuwa, Amataba lwe gajja ne gazikiriza abantu bonna ababi. Mu kiseera ekitali kya wala, “abantu abatatya Katonda” bajja kuzikirizibwa, waddewo ensi empya “obutuukirivu mwe bulibeera.”—Soma 2 Peetero 3:6, 7, 13.