Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebikolwa Katonda by’Akyawa

Ebikolwa Katonda by’Akyawa

Essomo 10

Ebikolwa Katonda by’Akyawa

Wanditutte otya ebintu Katonda by’agamba nti bibi? (1)

Kwetaba kwa ngeri ki okukyamu? (2)

Omukristaayo yanditunuulidde atya okulimba? (3) okukuba zzaala? (3) okubba? (3) ettemu? (4)

obusamize? (5) obutamiivu? (6)

Omuntu ayinza atya okwekutula ku bikolwa ebibi? (7)

1. Abaweereza ba Katonda baagala ebintu ebirungi. Naye era bateekwa okuyiga okukyawa ebibi. (Zabbuli 97:10) Ekyo kitegeeza okwewala ebikolwa ebyo Katonda by’akyawa. Ebimu ku bikolwa ebyo bye biruwa?

2. Obwenzi: Okwetaba nga tonnayingira bufumbo, obwenzi, okwetaba n’ensolo, okwetaba n’oyo gw’olinako oluganda, n’okulya ebisiyaga byonna bibi bya maanyi mu maaso ga Katonda. (Eby’Abaleevi 18:6; Abaruumi 1:​26, 27; 1 Abakkolinso 6:​9, 10) Singa omusajja n’omukazi abatali bafumbo babeera wamu, basaanidde okwawukana oba si kyo bafumbiriganwe mu mateeka.​—⁠Abaebbulaniya 13:⁠4.

3. Okulimba, Okukuba Zzaala, Okubba: Yakuwa Katonda tayinza kulimba. (Tito 1:⁠2) Abantu abaagala okusiimibwa mu maaso ge bateekwa okwewala okulimba. (Engero 6:​16-19; Abakkolosaayi 3:​9, 10) Buli ngeri yonna ey’okukuba zzaala erimu omululu. N’olwekyo Abakristaayo tebeetaba mu ngeri yonna ey’okukuba zzaala, gamba nga obululu, empaka z’embalaasi, ne kkalata. (Abaefeso 5:​3-5) Era Abakristaayo tebabba. Tebagula bibbe nga bakitegedde oba okutwala ebintu nga tebaweereddwa lukusa.​—⁠Okuva 20:15; Abaefeso 4:⁠28.

4. Obusungu, Ettemu: Obusungu bwe butafugibwa buyinza okuvaamu ettemu. (Olubereberye 4:​5-8) Omuntu akola eby’ekitemu tasobola kuba mukwano gwa Katonda. (Zabbuli 11:5; Engero 22:​24, 25) Kikyamu okuwoolera eggwanga oba okukola abalala ekibi olw’ekibi kye baba batukoze.​—⁠Engero 24:29; Abaruumi 12:​17-21.

5. Obufuusa n’Obusamize: Abantu abamu bakozesa amaanyi g’ebitonde eby’omwoyo okugezaako okuwonya endwadde. Abalala baloga abalabe baabwe balwale oba bafe. Amaanyi agali emabega w’ebikolwa bino byonna ye Setaani. N’olwekyo Abakristaayo tebateekwa kwenyigira mu bikolwa bino. (Ekyamateeka 18:​9-13) Okubeera okumpi ne Yakuwa bwe bukuumi obusingirayo ddala eri okulogebwa.​—⁠Engero 18:⁠10.

6. Obutamiivu: Si kikyamu okunywako ku wayini, bbiya, oba ebitamiiza ebirala. (Zabbuli 104:15; 1 Timoseewo 5:23) Naye okunywa ennyo n’obutamiivu bikyamu mu maaso ga Katonda. (1 Abakkolinso 5:​11-13; 1 Timoseewo 3:⁠8) Okunywa ekisukkiridde kiyinza okwonoona obulamu bwo n’amaka go. Era kuyinza okukuleetera okutwalirizibwa amangu okukemebwa okulala.​—⁠Engero 23:​20, 21, 29-35.

7. Abantu abakola ebyo Katonda by’agamba nti bibi “tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.” (Abaggalatiya 5:​19-21) Bw’oba nga ddala oyagala Katonda era ng’oyagala okumusanyusa, osobola okwekutula ku bikolwa bino ebibi. (1 Yokaana 5:⁠3) Yiga okukyawa ekyo Katonda ky’agamba nti kibi. (Abaruumi 12:⁠9) Kolagana n’abantu abalina empisa ez’okutya Katonda. (Engero 13:20) Bakristaayo banno abakuze mu by’omwoyo bayinza okuba ensibuko y’obuyambi. (Yakobo 5:14) Okusinga byonna, weesigame ku buyambi bwa Katonda ng’oyitira mu kusaba.​—⁠Abafiripi 4:​6, 7, 13.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20, 21]

Katonda akyawa obutamiivu, okubba, okukuba zzaala, n’ebikolwa eby’ettemu