Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?

Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?

Essomo 5

Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?

Lwaki Yakuwa yatonda ensi? (1, 2)

Lwaki kaakano ensi si lusuku lwa Katonda? (3)

Kiki ekirituuka ku bantu ababi? (4)

Mu biseera eby’omu maaso, kiki Yesu ky’alikolera abalwadde? abakaddiye? abafu? (5, 6)

Okusobola okufuna emikisa egy’omu biseera eby’omu maaso, weetaaga kukola ki? (7)

1. Yakuwa yatonda ensi eno abantu basobole okunyumirwa okugibeerako emirembe gyonna. Yayagala ensi ebeerengako abantu abatuukirivu era abasanyufu. (Zabbuli 115:16; Isaaya 45:18) Ensi tegenda kuzikirizibwa; ejja kubaawo emirembe gyonna.​—⁠Zabbuli 104:5; Omubuulizi 1:⁠4.

2. Nga Katonda tannakola muntu, yalonda akatundu akatono ku nsi n’akafuula olusuku olulungi. N’aluyita olusuku Adeni. Muno mwe yateeka omusajja n’omukazi abaasooka, Adamu ne Kaawa. Kyali kigendererwa kya Katonda bazaale abaana bajjuze ensi yonna. Mpola mpola bandifudde ensi yonna olusuku lwa Katonda.​—⁠Olubereberye 1:28; 2:​8, 15.

3. Adamu ne Kaawa baayonoona bwe bamenya etteeka lya Katonda mu bugenderevu. Olwo Yakuwa n’abagoba mu lusuku Adeni. Olusuku lwa Katonda balufiirwa. (Olubereberye 3:​1-6, 23) Naye Yakuwa teyeerabidde kigendererwa kye eri ensi eno. Asuubiza okugifuula olusuku lwe, abantu mwe banaabeeranga emirembe gyonna. Kino anaakikola atya?​—⁠Zabbuli 37:⁠29.

4. Nga ensi eno tennafuuka lusuku lwa Katonda, abantu ababi bateekwa okuggibwawo. (Zabbuli 37:38) Kino kiribaawo ku Kalumagedoni, olutalo lwa Katonda olw’okukomya obubi. Ekiriddirira, Setaani alisibibwa okumala emyaka 1,000. Kino kitegeeza nti tewalisigalawo babi kwonoona nsi. Bantu ba Katonda bokka be baliwonawo.​—⁠Okubikkulirwa 16:​14, 16; 20:​1-3.

5. Olwo Yesu Kristo alifuga nga Kabaka w’ensi eno okumala emyaka 1,000. (Okubikkulirwa 20:⁠6) Mpola mpola aliggyawo ekibi okuva mu birowoozo byaffe n’emibiri gyaffe. Tulifuuka abantu abatuukiridde nga Adamu ne Kaawa bwe baali nga tebannaba kwonoona. Olwo nno tewalibaawo bulwadde, kukaddiwa na kufa. Abalwadde baliwonyezebwa, abakadde balidda buto.​—⁠Yobu 33:25; Isaaya 33:24; Okubikkulirwa 21:​3, 4.

6. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, abantu abeesigwa balikola okufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda. (Lukka 23:43) Era, obukadde n’obukadde bw’abafu balizuukira ne baba balamu ku nsi. (Ebikolwa 24:15) Singa balikola ekyo Katonda ky’abeetaagisa, balyeyongera okubeera ku nsi emirembe gyonna.​—⁠Yokaana 5:​28, 29; Okubikkulirwa 20:​11-15.

7. Mu ngeri eno ekigendererwa kya Katonda eri ensi kirituukirira. Wandyagadde obe n’omugabo mu mikisa gino egy’omu biseera eby’omu maaso? Bwe kiba bwe kityo, weetaaga okweyongera okuyiga ku Yakuwa n’okugondera by’akwetaagisa. Okubeerawo mu nkuŋŋaana mu Kingdom Hall y’Abajulirwa ba Yakuwa eri mu kitundu kyo kijja kukuyamba okukola ekyo.​—⁠Isaaya 11:9; Abaebbulaniya 10:​24, 25.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Olusuku lwa Katonda lwe twafiirwa

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]

Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, ensi erifuulibwa olusuku lwa Katonda