Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Eno
Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Eno
Brocuwa eno etegekeddwa okuyigiramu Baibuli. Eneekozesebwa etya? Eno ye nteekateeka gye tukukubiriza okugoberera: Ku ntandikwa ya buli ssomo, waliwo ebibuuzo. Oluvannyuma lwa buli kibuuzo, ojja kusangawo ennamba eteekeddwa wakati w’obubonero bubiri ekulaga obutundu omusangibwa eby’okuddamu. Sooka kusoma bibuuzo. Birowoozeeko. Oluvannyuma soma buli kitundu, era okebere n’ebyawandiikibwa mu Baibuli yo. Bw’oba omazeeko essomo, ddayo ku bibuuzo era gezaako okujjukira Baibuli bw’eddamu buli kibuuzo. Bw’onooba omazeeko brocuwa yonna, ddamu wejjukanye ebibuuzo byonna.