Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enzikiriza n’Obulombolombo Ebitasanyusa Katonda

Enzikiriza n’Obulombolombo Ebitasanyusa Katonda

Essomo 11

Enzikiriza n’Obulombolombo Ebitasanyusa Katonda

Nzikiriza ki n’obulombolombo ebikyamu? (1)

Abakristaayo bandikkirizza nti Katonda Tiriniti? (2)

Lwaki Abakristaayo ab’amazima tebakuza Ssekukkulu, Ppaasika, oba ennaku z’amazaalibwa? (3, 4)

Abafu basobola okulumya abalamu? (5) Yesu yafiira ku musalabba? (6) Okusanyusa Katonda kikulu kwenkana wa? (7)

1. Enzikiriza n’obulombolombo byonna si bikyamu. Naye Katonda tabisiima singa bisibuka mu ddiini ey’obulimba oba nga biwakanya Baibuli ky’eyigiriza.​—⁠Matayo 15:⁠6.

2. Tiriniti: Yakuwa Tiriniti​—⁠abantu basatu mu Katonda omu? Nedda! Yakuwa, Kitaffe, ye “Katonda omu ow’amazima.” (Yokaana 17:3; Makko 12:29) Yesu ye Mwana We omubereberye, era ali wansi wa buyinza bwa Katonda. (1 Abakkolinso 11:⁠3) Kitaffe asinga Omwana. (Yokaana 14:28) Omwoyo omutukuvu si muntu; maanyi ga Katonda agakola.​—⁠Olubereberye 1:2; Ebikolwa 2:⁠18.

3. Ssekukkulu ne Ppaasika: Yesu teyazaalibwa ku Ddesemba 25. Yazaalibwa awo nga Okitobba 1, ekiseera ky’omwaka abasumba we baabeereranga ebweru ekiro nga bakuuma ebisibo byabwe. (Lukka 2:​8-12) Yesu talagirangako Bakristaayo kukuza mazaalibwa ge. Wabula yagamba abayigirizwa be okujjukiranga okufa kwe. (Lukka 22:​19, 20) Ssekukkulu n’obulombolombo bwayo biva mu ddiini ez’edda ez’obulimba. Bwe kityo bwe kiri ne ku bulombolombo bwa Ppaasika, gamba ng’okukozesa amagi n’obumyu. Abakristaayo abaasooka tebaakuza Ssekukkulu oba Ppaasika era n’Abakristaayo ab’amazima ab’omu kiseera kino tebagikuza.

4. Amazaalibwa: Amazaalibwa abiri gokka agoogerwako mu Baibuli gaakuzibwa abantu abaali batasinza Yakuwa. (Olubereberye 40:​20-22; Makko 6:​21, 22, 24-27) Abakristaayo abaasooka tebaakuzanga mazaalibwa. Empisa y’okukuza amazaalibwa yava mu madiini ag’obulimba ag’edda. Abakristaayo ab’amazima bagaba ebirabo era ne basanyukira wamu mu biseera ebirala mu mwaka.

5. Okutya Abafu: Abafu tebalina kye bayinza kukola wadde okuwulira ekintu kyonna. Tetusobola kubayamba, era tebayinza kutulumya. (Zabbuli 146:4; Omubuulizi 9:​5, 10) Emmeeme efa; teyeeyongera kuba nnamu luvannyuma lwa kufa. (Ezeekyeri 18:⁠4) Naye oluusi n’oluusi, bamalayika ababi abayitibwa balubaale, beefuula okuba emyoyo gy’abafu. Obulombolombo bwonna obwekuusa ku kutya oba okusinza abafu bukyamu.​—⁠Isaaya 8:⁠19.

6. Omusalabba: Yesu teyafiira ku musalabba. Yafiira ku kikondo, oba empagi y’omuti. Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa “omusalabba” mu Baibuli nnyingi kitegeeza empagi emu bumu ey’omuti. Akabonero k’omusalabba kasibuka mu madiini ag’obulimba ag’edda. Omusalabba tegwakozesebwanga wadde okusinzibwa Abakristaayo abaasooka. N’olwekyo, olowooza kyandibadde kituufu okukozesa omusalabba mu kusinza?​—⁠Ekyamateeka 7:26; 1 Abakkolinso 10:⁠14.

7. Kiyinza okuba ekizibu ennyo okulekayo ezimu ku nzikiriza zino n’obulombolombo. Ab’eŋŋanda ne mikwano gyo bayinza okugezaako okukumatiza oleme kukyusa nzikiriza yo. Naye okusanyusa Katonda kikulu nnyo okusinga okusanyusa abantu.​—⁠Engero 29:25; Matayo 10:​36, 37.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Katonda si Tiriniti

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Ssekukkulu ne Ppaasika biva mu ddiini ez’obulimba ez’edda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Tewali nsonga yonna eyandituleetedde okusinza abafu oba okubatya