Katonda y’Ani?
Essomo 2
Katonda y’Ani?
Katonda ow’amazima y’ani, era erinnya lye y’ani? (1, 2)
Alina mubiri gwa ngeri ki? (3)
Engeri ze ezisinga obukulu ze ziruwa? (4)
Twandikozesezza ebifaananyi n’obubonero nga tumusinza? (5)
Ngeri ki ebbiri ze tuyinza okuyigiramu ebikwata ku Katonda? (6)
1. Abantu basinza ebintu bingi. Naye Baibuli etutegeeza nti waliwo Katonda omu yekka ow’AMAZIMA. Yatonda buli kintu kyonna ekiri mu ggulu ne ku nsi. Olw’okuba ye yatuwa obulamu, ye Yekka gwe tusaanidde okusinza.—1 Abakkolinso 8:5, 6; Okubikkulirwa 4:11.
2. Katonda alina ebitiibwa bingi naye alina erinnya limu lyokka. Erinnya eryo ye YAKUWA. Mu Baibuli ezisinga obungi, erinnya lya Katonda lyaggibwamu era mu kifo kyalyo ne muteekebwamu ebitiibwa, MUKAMA oba KATONDA. Naye Baibuli bwe yawandiikibwa, erinnya Yakuwa lyalimu emirundi nga 7,000!—Okuva 3:15; Zabbuli 83:18.
3. Yakuwa alina omubiri, naye tegulinga gwaffe. “Katonda mwoyo,” Baibuli Yokaana 4:24, NW) Omwoyo ngeri ya bulamu eya waggulu ennyo okusinga gye tulina. Tewali muntu yali alabye Katonda. Yakuwa abeera mu ggulu, naye asobola okulaba ebintu byonna. (Zabbuli 11:4, 5; Yokaana 1:18) Ate, gwo omwoyo omutukuvu kye ki? Si muntu nga Katonda. Wabula ge maanyi ga Katonda agakola.—Zabbuli 104:30.
bw’egamba. (4. Baibuli etutegeeza engeri za Yakuwa. Eraga nga engeri ze ezisinga obukulu kwe kwagala, obwenkanya, amagezi n’obuyinza. (Ekyamateeka 32:4, NW; Yobu 12:13; Isaaya 40:26; 1 Yokaana 4:8) Baibuli era etutegeeza nti musaasizi, wa kisa, asonyiwa, mugabi, era mugumiikiriza. Ffe, ng’abaana abawulize, twandigezezzaako okumufaanana.—Abaefeso 5:1, 2.
5. Twandivuunamidde oba twandisabye ebifaananyi oba obubonero mu kusinza kwaffe? Nedda! (Okuva 20:4, 5) Yakuwa agamba nti tuteekwa kusinza ye yekka. Tagenda kugabana kitiibwa kye na mulala yenna oba ekintu ekirala kyonna. Ebifaananyi tebirina maanyi ga kutuyamba.—Zabbuli 115:4-8; Isaaya 42:8.
6. Tuyinza tutya okumanya Katonda obulungi? Engeri emu kwe kutunuulira ebintu bye yatonda n’okulowooza ennyo ku bye bitutegeeza. Ebitonde bya Katonda bitulaga nti alina amaanyi n’amagezi mangi nnyo. Tulaba okwagala kwe mu byonna by’akoze. (Zabbuli 19:1-6; Abaruumi 1:20) Engeri endala mwe tuyigira ku Katonda kwe kuyiga Baibuli. Mu yo atubuulira ebisingawo ku ngeri ze nga Katonda. Era atubuulira ebikwata ku bigendererwa bye ne by’ayagala tukole.—Amosi 3:7; 2 Timoseewo 3:16, 17.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Tuyiga ku Katonda okuva ku bitonde n’okuva mu Baibuli