Obulamu bw’Amaka Obusanyusa Katonda
Essomo 8
Obulamu bw’Amaka Obusanyusa Katonda
Omusajja alina kifo ki mu maka? (1)
Omusajja asaanidde kuyisa atya mukazi we? (2)
Buvunaanyizibwa ki taata bw’alina? (3)
Omukazi alina kifo ki mu maka? (4)
Katonda yeetaagisa ki abazadde era n’abaana? (5)
Baibuli erina ndowooza ki ku kwawukana n’okugattululwa mu bufumbo? (6, 7)
1. Baibuli egamba nti omusajja gwe mutwe gw’amaka ge. (1 Abakkolinso 11:3) Omusajja ateekwa kuba na mukazi omu yekka. Basaanidde okuba mu bufumbo obutuufu obukkirizibwa mu mateeka.—1 Timoseewo 3:2; Tito 3:1.
2. Omusajja asaanidde okwagala mukazi we nga bwe yeeyagala. Asaanidde okumuyisa mu ngeri Yesu gy’ayisaamu abagoberezi be. (Abaefeso 5:25, 28, 29) Tateekwa kukuba mukazi we oba okumuyisa obubi mu ngeri yonna. Wabula, yandimuwadde ekitiibwa.—Abakkolosaayi 3:19; 1 Peetero 3:7.
3. Taata asaanidde okukola ennyo okulabirira ab’omu maka ge. Ateekwa okufunira mukazi we n’abaana emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Era taata ateekwa okuwa ab’omu maka ge ebyetaago eby’omwoyo. (1 Timoseewo 5:8) Y’atwala obukulembeze mu kuyamba ab’omu maka ge okuyiga ebikwata ku Katonda n’ebigendererwa Bye.—Ekyamateeka 6:4-9; Abaefeso 6:4.
4. Omukazi asaanidde okuba omuyambi omulungi eri bbaawe. (Olubereberye 2:18) Asaanidde okuyamba bbaawe mu kuyigiriza n’okugunjula abaana baabwe. (Engero 1:8) Yakuwa yeetaagisa omukazi okulabirira amaka ge n’okwagala. (Engero 31:10, 15, 26, 27; Tito 2:4, 5) Asaanidde okuwa bbaawe ekitiibwa.—Abaefeso 5:22, 23, 33.
5. Katonda yeetaagisa abaana okugondera bazadde baabwe. (Abaefeso 6:1-3) Asuubira abazadde okuyigiriza n’okuwabula abaana baabwe. Abazadde kibeetaagisa Ekyamateeka 11:18, 19; Engero 22:6, 15) Abazadde tebateekwa kukangavvula baana baabwe mu ngeri ya bukambwe.—Abakkolosaayi 3:21.
okuwaayo ebiseera okubeera n’abaana baabwe okuyiga nabo Baibuli, nga bafaayo ku byetaago byabwe eby’eby’omwoyo n’enneewulira zaabwe ez’omunda. (6. Singa wabaawo obutategeeragana wakati w’abafumbo, bandigezezzaako okugoberera okubuulirira kwa Baibuli. Baibuli etukubiriza okulaga okwagala era n’okusonyiwa. (Abakkolosaayi 3:12-14) Ekigambo kya Katonda tekisemba kwawukana ng’engeri y’okugonjoolamu ebizibu ebitonotono. Naye omukazi ayinza okusalawo okuleka bbaawe singa (1) aba agaanyi bugaanyi okulabirira ab’omu maka ge, (2) mukambwe nnyo ne kiba nti obulamu bwe buli mu kabi, oba (3) okuziyiza okw’ensusso kw’ataddewo tekusobozesa mukazi we kusinza Yakuwa.—1 Abakkolinso 7:12, 13.
7. Abafumbo bateekwa okuba abeesigwa buli omu eri munne. Obwenzi kiba kibi mu maaso ga Katonda ne mu maaso ga munno mu bufumbo. (Abaebbulaniya 13:4) Okwetaba n’omuntu omulala ebweru w’obufumbo ye nsonga yokka mu Byawandiikibwa eyinza okusinziirwako okugattululwa mu bufumbo n’oba wa ddembe okuyingira obufumbo obulala. (Matayo 19:6-9; Abaruumi 7:2, 3) Yakuwa akyayira ddala ekikolwa eky’abantu okugattululwa awatali nsonga yonna ya mu Byawandiikibwa ate ne bafumbiriganwa n’omuntu omulala.—Malaki 2:14-16.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]
Katonda asuubira abazadde okuyigiriza abaana baabwe n’okubawabula
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Taata omwagazi alabirira ab’omu maka ge mu by’omubiri ne mu by’omwoyo