Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Essomo 6

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Obwakabaka bwa Katonda buli ludda wa? (1) Kabaka waabwo y’ani? (2) Waliwo abalala abafugira awamu ne Kabaka oyo?

Bwe kiba bwe kityo, bali bameka? (3)

Kiki ekiraga nga tuli mu nnaku za nkomerero? (4)

Obwakabaka bwa Katonda bulikolera ki abantu mu biseera eby’omu maaso? (5-7)

1. Bwe yali ku nsi, Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka eba gavumenti ekulemberwa kabaka. Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya njawulo. Eri mu ggulu era ejja kufuga ensi yonna. Ejja kutukuza erinnya lya Katonda. Erireetera Katonda by’ayagala okukolebwa mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.​—⁠Matayo 6:​9, 10.

2. Katonda yasuubiza nti Yesu alifuuka Kabaka w’Obwakabaka Bwe. (Lukka 1:​30-33) Yesu bwe yali ku nsi, yakiraga nga yandibadde Mufuzi wa kisa, mwenkanya, era mutuukirivu. Bwe yaddayo mu ggulu, teyatuuzibwa ku ntebe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda amangu ago. (Abaebbulaniya 10:​12, 13) Mu 1914, Yakuwa yawa Yesu obuyinza bwe Yali amusuubizza. Okuva olwo, Yesu abadde afugira mu ggulu nga Kabaka eyatongozebwa Yakuwa.​—⁠Danyeri 7:​13, 14.

3. Yakuwa era alonze abamu ku basajja n’abakazi abeesigwa okuva ku nsi bagende mu ggulu. Balifugira wamu ne Yesu nga bakabaka, abalamuzi, era bakabona b’abantu. (Lukka 22:​28-30; Okubikkulirwa 5:​9, 10) Bano abalifugira awamu naye mu Bwakabaka bwe Yesu yabayita “ekisibo ekitono.” Bali 144,000.​—⁠Lukka 12:32; Okubikkulirwa 14:​1-3.

4. Amangu ddala nga Yesu yaakafuuka Kabaka, yasuula Setaani ne bamalayika be ababi okuva mu ggulu okwolekera awali ensi. Eno ye nsonga lwaki ebintu byonoonese nnyo ku nsi okuva 1914. (Okubikkulirwa 12:​9, 12) Entalo, enjala, endwadde, n’okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka​—⁠bino byonna kitundu kya “kabonero” akalaga nti Yesu afuga era nga embeera zino ziri mu nnaku zaazo ezisembayo.​—⁠Matayo 24:​3, 7, 8, 12; Lukka 21:​10, 11; 2 Timoseewo 3:⁠1-5.

5. Mangu Yesu ajja kusalira abantu omusango, ng’abaawula ng’omusumba bw’ayawula endiga okuva mu mbuzi. “Endiga” beebo abaliba beeraze okuba abantu be abeesigwa. Balifuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. “Embuzi” beebo abaliba bagaanye Obwakabaka bwa Katonda. (Matayo 25:​31-34, 46) Mu biseera ebitali bya wala, Yesu ajja kuzikiriza bonna abafaananyizibwa embuzi. (2 Abasessalonika 1:​6-9) Singa oyagala okuba emu ku ‘ndiga’ za Yesu, olina okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka n’okukolera ku ebyo by’oyiga.​—⁠Matayo 24:⁠14.

6. Kaakano ensi egabanyiziddwamu amawanga mangi. Buli limu lirina gavumenti yaalyo. Amawanga gano gatera okulwanagana. Naye Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo gavumenti z’abantu zonna. Bwe bujja okuba gavumenti yokka efuga ensi yonna. (Danyeri 2:44) Olwo tewalibaawo ntalo, bumenyi bwa mateeka, na ttemu. Abantu bonna baliba bumu era mu mirembe.​—⁠Mikka 4:​3, 4.

7. Mu bufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, abantu abeesigwa balifuuka batuukirivu, n’ensi yonna erifuuka lusuku lwa Katonda. Ku nkomerero y’emyaka olukumi, Yesu aliba amaze okukola buli kimu Katonda kye yamugamba. Olwo aliddiza Kitaawe Obwakabaka. (1 Abakkolinso 15:24) Lwaki tobuulira mikwano gyo n’abaagalwa bo ku ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bulikola?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Wansi w’obufuzi bwa Yesu tewalibaawo nate bukyayi oba kyekubiira