Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusalawo Kwo Okuweereza Katonda

Okusalawo Kwo Okuweereza Katonda

Essomo 16

Okusalawo Kwo Okuweereza Katonda

Oteekwa kukola ki okufuuka mukwano gwa Katonda? (1, 2)

Weewaayo otya eri Katonda? (1)

Wandibatiziddwa ddi? (2)

Osobola otya okufuna amaanyi osigale ng’oli mwesigwa eri Katonda? (3)

1. Okufuuka mukwano gwa Katonda oteekwa okumanya obulungi amazima ga Baibuli (1 Timoseewo 2:​3, 4), okukkiririza mu bintu by’oyize (Abaebbulaniya 11:6), okwenenya ebibi byo (Ebikolwa 17:​30, 31), era n’okukyuka okuva mu kkubo ly’obulamu bw’obaddemu. (Ebikolwa 3:19) Olwo okwagala kw’olina eri Katonda kwandikuleetedde okwewaayo gy’ali. Kino kitegeeza nti ng’oyitira mu kusaba okukwo ku bubwo ng’oli wekka, omutegeeza nti weewaddeyo gy’ali okukola by’ayagala.​—⁠Matayo 16:24; 22:⁠37.

2. Ng’omaze okwewaayo eri Katonda, osaanidde okubatizibwa. (Matayo 28:​19, 20) Okubatizibwa kumanyisa buli muntu nti weewaddeyo eri Yakuwa. N’olwekyo okubatizibwa kw’abo bokka abakulu ekimala okwesalirawo okuweereza Katonda. Omuntu bw’aba abatizibwa, omubiri gwe gwonna gulina okunnyikibwa mu mazzi okumala akaseera katono. *​—⁠Makko 1:​9, 10; Ebikolwa 8:⁠36.

3. Oluvannyuma lw’okwewaayo, Yakuwa akusuubira okutuukiriza ekisuubizo kyo. (Zabbuli 50:14; Omubuulizi 5:​4, 5) Omulyolyomi ajja kugezaako okukuziyiza okuweereza Yakuwa. (1 Peetero 5:⁠8) Naye tuukirira Katonda mu kusaba. (Abafiripi 4:​6, 7) Soma Ekigambo kye buli lunaku. (Zabbuli 1:​1-3) Nywerera ku kibiina. (Abaebbulaniya 13:17) Mu kukola bino byonna, ojja kufuna amaanyi okusigala ng’oli mwesigwa eri Katonda. Mu ngeri eno ojja kusobola okukola ebintu Katonda by’akwetaagisa emirembe gyonna!

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 2 Okubirizibwa okusoma akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, oba ekitabo ekirala ekikifaanana ekyakubibwa Watch Tower Bible and Tract Society, mu kweteekateeka okubatizibwa.