Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusemberera Katonda mu Kusaba

Okusemberera Katonda mu Kusaba

Essomo 7

Okusemberera Katonda mu Kusaba

Lwaki kikulu okusabanga obutayosa? (1)

Tusaanidde kusaba ani, era tutya? (2, 3)

Bintu ki bye tusaanidde okusaba? (4)

Osaanidde kusaba ddi? (5, 6)

Katonda awuliriza okusaba kwonna? (7)

1. Okusaba kuba kwogera ne Katonda mu buwombeefu. Osaanidde okusaba Katonda obutayosa. Mu ngeri eno owulira ng’oli kumpi naye nga bw’oba eri mukwano gwo nfiirabulago. Yakuwa mukulu nnyo era wa maanyi, kyokka awuliriza okusaba kwaffe! Osaba Katonda obutayosa?​—⁠Zabbuli 65:2; 1 Abasessalonika 5:⁠17.

2. Okusaba kitundu kya kusinza kwaffe. Bwe kityo, tusaanidde kusaba Yakuwa Katonda yekka. Yesu bwe yali ku nsi, yasabanga Kitaawe yekka so si muntu mulala yenna. Twandikoze kye kimu. (Matayo 4:10; 6:⁠9) Kyokka, okusaba kwaffe kwonna kwandiyise mu linnya lya Yesu. Kino kiraga nti tuwa ekifo kya Yesu ekitiibwa era nti tukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kye.​—⁠Yokaana 14:6; 1 Yokaana 2:​1, 2.

3. Bwe tuba tusaba tusaanye okwogera eri Katonda okuviira ddala mu mutima gwaffe. Tetwandisabye nga tusinziira ku ebyo bye twakwata mu mutwe oba nga tusoma busomi okuva mu kitabo ky’essaala. (Matayo 6:​7, 8) Tuyinza okusaba mu ngeri yonna gye tubaamu eweesa ekitiibwa, ekiseera kyonna, era mu kifo kyonna. Katonda awulira n’ebisabibwa mu kasirise mu mutima gwaffe. (1 Samwiri 1:​12, 13) Kirungi okufuna ekifo ekisirifu awatali bantu bwe tuba tusaba ku bwaffe.​—⁠Makko 1:⁠35.

4. Bintu ki bye tuyinza okusaba? Ekintu kyonna ekiyinza okukwata ku mukwano gw’olina naye. (Abafiripi 4:​6, 7) Okusaba okulabirwako kulaga nti twandisabye ebikwata ku linnya Yakuwa n’ebigendererwa bye. Era tuyinza n’okusaba atuwe ebyetaago byaffe eby’omubiri, atusonyiwe ebyonoono byaffe, n’okutuyamba okuziyiza okukemebwa. (Matayo 6:​9-13) Mu kusaba kwaffe twandibadde tetwefaako ffekka. Twandisabye ebyo byokka ebituukana ne Katonda by’ayagala.​—⁠1 Yokaana 5:⁠14.

5. Oyinza okusaba buli lw’owulira nga omutima gwo gwagala okwebaza oba okutendereza Katonda. (1 Ebyomumirembe 29:​10-13) Osaanidde okusaba bw’oba n’ebizibu era nga okukkiriza kwo kugezesebwa. (Zabbuli 55:22; 120:⁠1) Kisaanira okusaba nga tonnalya. (Matayo 14:19) Yakuwa atukubiriza okusaba “buli kiseera.”​—⁠Abaefeso 6:⁠18.

6. Naddala twetaaga okusaba bwe tuba tukoze ekibi ekinene. Mu biseera ng’ebyo tusaanidde okwegayirira Yakuwa atusaasire era atusonyiwe. Bwe twatula ebibi byaffe gy’ali ne tukola kyonna ekisoboka obutabiddamu, Katonda aba “mwetegefu okusonyiwa.”​—⁠Zabbuli 86:⁠5, NW; Engero 28:13.

7. Yakuwa awuliriza kusaba kwa batuukirivu bokka. Katonda okusobola okuwulira okusaba kwo, oteekwa okuba ng’ogezaako nga bw’osobola okugondera amateeka ge. (Engero 15:29; 28:⁠9) Oteekwa okuba omuwombeefu ng’osaba. (Lukka 18:​9-14) Kikwetaagisa okufubirira ekyo ky’osaba. Bwe kityo ojja kukakasa nti olina okukkiriza era nti otegeereza ddala ekyo ky’osabye. Olwo Yakuwa lw’ajja okuddamu okusaba kwo.​—⁠Abaebbulaniya 11:⁠6.