Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuwa Obulamu n’Omusaayi Ekitiibwa

Okuwa Obulamu n’Omusaayi Ekitiibwa

Essomo 12

Okuwa Obulamu n’Omusaayi Ekitiibwa

Obulamu twandibutunuulidde tutya? (1) okuggyamu embuto? (1)

Abakristaayo beekuuma batya obubenje? (2)

Kikyamu okutta ebisolo? (3)

Bikolwa ki ebimu ebitalaga kussa kitiibwa mu bulamu? (4)

Etteeka lya Katonda ku musaayi lye liruwa? (5)

Litwaliramu okuweebwa omusaayi? (6)

1. Yakuwa ye Nsibuko y’obulamu. Ebiramu byonna Katonda ye yabiwa obulamu. (Zabbuli 36:⁠9) Obulamu butukuvu eri Katonda. N’obulamu bw’omwana atannazaalibwa ali mu lubuto lwa nnyina bwa muwendo eri Yakuwa. Okutta omwana ng’oyo mu bugenderevu kikyamu mu maaso ga Katonda.​—⁠Okuva 21:​22, 23; Zabbuli 127:⁠3.

2. Abakristaayo ab’amazima beekuuma obubenje. Bakakasa nga emmotoka n’amaka gaabwe tebiyinza kusibukako bubenje. (Ekyamateeka 22:⁠8) Abaweereza ba Katonda tebateeka bulamu bwabwe mu kabi olw’okwagala okwesanyusamu obwesanyusa. N’olw’ensonga eyo tebenyigira mu mizannyo omuli ettemu egirumya abantu abalala mu bugenderevu. Beewala eby’amasanyu ebikubiriza ettemu.​—⁠Zabbuli 11:5; Yokaana 13:⁠35.

3. N’obulamu bw’ensolo butukuvu eri Omutonzi. Omukristaayo ayinza okutta ensolo okufuna emmere n’eby’okwambala oba olw’okwetaasa obulwadde oba akabi. (Olubereberye 3:21; 9:3; Okuva 21:28) Naye kiba kikyamu okuyisa obubi ensolo oba okuzitta olw’omuzannyo obuzannyo oba okwesanyusa.​—⁠Engero 12:⁠10.

4. Okunywa ttaaba, okugaaya betel nut, n’okukozesa amalagala agatamiiza olw’okwesanyusa tebikolebwa Bakristaayo. Ebikolwa bino bikyamu kubanga (1) bitufuula abaddu baabyo, (2) byonoona emibiri gyaffe, era (3) si biyonjo. (Abaruumi 6:19; 12:1; 2 Abakkolinso 7:⁠1) Kiyinza okuba ekizibu ennyo okulekayo emize gino. Naye tuteekwa okukikola tusobole okusanyusa Yakuwa.

5. Omusaayi nagwo mutukuvu mu maaso ga Katonda. Katonda agamba nti emmeeme, oba obulamu, buli mu musaayi. N’olwekyo kiba kikyamu okulya omusaayi. Era kikyamu okulya ennyama y’ensolo etaggiddwamu bulungi musaayi. Singa ensolo etugibwa oba efiira mu mutego, tesaanidde kuliibwa. Singa efumitibwa oba ekubibwa essasi, erina okuggibwamu mangu omusaayi bw’eba ey’okuliibwa.​—⁠Olubereberye 9:​3, 4; Eby’Abaleevi 17:​13, 14; Ebikolwa 15:​28, 29.

6. Kiba kikyamu okukkiriza okuweebwa omusaayi? Kijjukire nti, Yakuwa atwetaagisa okwewalira ddala omusaayi. Kino kitegeeza nti tetuteekwa kuyingiza mu mibiri gyaffe mu ngeri yonna musaayi gwa bantu balala wadde n’omusaayi gwaffe gwennyini oguba guterekeddwa. (Ebikolwa 21:25) N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima tebajja kukkiriza kuweebwa musaayi. Bajja kukkiriza engeri endala ez’obujjanjabi, gamba ng’okuweebwa ebitaliimu musaayi. Baagala okuba abalamu, naye tebajja kugezaako kuwonya bulamu bwabwe nga bamenya amateeka ga Katonda.​—⁠Matayo 16:⁠25.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

Okusanyusa Katonda, tuteekwa okwewala okuweebwa omusaayi, empisa ezitali nnyonjo, n’okuteeka obulamu bwaffe mu kabi