Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuyamba Abalala Okukola Katonda by’Ayagala

Okuyamba Abalala Okukola Katonda by’Ayagala

Essomo 15

Okuyamba Abalala Okukola Katonda by’Ayagala

Lwaki obuulira abalala ebintu by’oyiga? (1)

Ani gw’oyinza okubuulira ku mawulire amalungi? (2)

Kiki enneeyisa yo ky’eyinza okukola ku balala? (2)

Ddi lw’osobola okubuulirira awamu n’ekibiina? (3)

1. W’otuukidde wano oyize ebintu bingi ebirungi okuva mu Baibuli. Okumanya kuno kwandikuleetedde okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo. (Abaefeso 4:​22-24) Okumanya ng’okwo kwetaagisa okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 17:⁠3) Kyokka n’abalala beetaaga okuwulira amawulire amalungi basobole okulokolebwa. Abakristaayo ab’amazima bonna bateekwa okubuulira abalala. Kiragiro kya Katonda.​—⁠Abaruumi 10:10; 1 Abakkolinso 9:16; 1 Timoseewo 4:⁠16.

2. Oyinza okutandika ng’obuulira abo abakuli okumpi ku bintu ebirungi by’oyiga. Bibuulire ab’omu maka go, mikwano gyo, b’osoma nabo, ne b’okola nabo. Ba wa kisa era mugumiikiriza ng’obabuulira. (2 Timoseewo 2:​24, 25) Kijjukire nti abantu batunuulira nnyo empisa z’omuntu okusinga bwe bawuliriza by’ayogera. N’olwekyo empisa zo ennungi ziyinza okusikiriza abalala okuwuliriza obubaka bw’obabuulira.​—⁠Matayo 5:16; 1 Peetero 3:1, 2, 16.

3. Ekiseera kiyinza okutuuka n’oba ng’otuukiriza ebisaanyizo by’okutandika okubuulirira awamu n’ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu kitundu ky’olimu. Lino ddaala kkulu mu kukulaakulana kwo. (Matayo 24:14) Nga kyandibadde kya ssanyu bwe wandisobodde okuyamba omuntu omulala okufuuka omuweereza wa Yakuwa n’afuna obulamu obutaggwaawo!​—⁠1 Abasessalonika 2:​19, 20.