Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omulyolyomi y’Ani?

Omulyolyomi y’Ani?

Essomo 4

Omulyolyomi y’Ani?

Setaani Omulyolyomi​—⁠yava wa? (1, 2)

Setaani abuzabuza atya abantu? (3-7)

Lwaki wandiziyizizza Omulyolyomi? (7)

1. Ekigambo “omulyolyomi” kitegeeza omuntu oyo ayogera eby’obulimba ku muntu omulala. “Setaani” kitegeeza omulabe oba omuziyiza. Ebigambo bino bikozesebwa ku mulabe wa Katonda omukulu. Mu kusooka, yali malayika atuukiridde ng’ali wamu ne Katonda mu ggulu. Naye, oluvannyuma yeerowoozako nnyo ne yeegwanyiza okusinza Katonda kw’alinako obwannanyini.​—⁠Matayo 4:​8-10.

2. Malayika ono, Setaani, yayogera ne Kaawa ng’ayitira mu musota. Ng’amubuulira eby’obulimba, yamuleetera okujeemera Katonda. Mu ngeri eno Setaani yasoomooza ekyo ekiyitibwa “obufuzi” bwa Katonda, oba ekifo kye ng’oyo Ali Waggulu Ennyo. Setaani yaleetawo okubuusabuusa obanga Katonda afuga mu ngeri esaanira era ku lw’obulungi bw’abo b’Afuga. Setaani era yasoomooza obanga wandibaddewo omuntu yenna eyandinyweredde ku Katonda. Mu kukola kino, Setaani yeefuula omulabe wa Katonda. Eno ye nsonga lwaki ayitibwa Setaani Omulyolyomi.​—⁠Olubereberye 3:​1-5; Yobu 1:​8-11; Okubikkulirwa 12:⁠9.

3. Setaani agezaako okubuzabuza abantu bamusinze. (2 Abakkolinso 11:​3, 14) Engeri emu mw’abulizabuliza abantu ze ddiini ez’obulimba. Singa eddiini eyigiriza eby’obulimba ku Katonda, ddala eba etuukiriza kigendererwa kya Setaani. (Yokaana 8:44) Abo abali mu ddiini ez’obulimba bayinza okukkiriza n’obwesimbu nti basinza Katonda ow’amazima. Naye ddala baba baweereza Setaani. Ye ‘katonda ow’ensi eno.’​—⁠2 Abakkolinso 4:⁠4.

4. Eby’obusamize ye ngeri endala Setaani mw’ateekera abantu wansi w’obuyinza bwe. Bayinza okusaba balubaale okubakuuma, okulumya abalala, okulagula ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, oba okukola eby’amagero. Setaani ge maanyi amabi agali emabega w’ebikolwa bino byonna. Okusanyusa Katonda, tetuteekwa kuba na nkolagana yonna na bya busamize.​—⁠Ekyamateeka 18:​10-12; Ebikolwa 19:​18, 19.

5. Era Setaani abuzabuza abantu ng’ayitira mu kwenyumiririza ennyo mu langi era n’okusinza entegeka ez’eby’obufuzi. Abamu bawulira ng’eggwanga oba erangi yaabwe y’esinga ey’abalala. Naye kino si kya mazima. (Ebikolwa 10:​34, 35) Abamu batunuulidde entegeka ez’eby’obufuzi okugonjoola ebizibu by’abantu. Mu kukola kino, baba bagaana Obwakabaka bwa Katonda. Bwe bwokka obunaagonjoola ebizibu byaffe.​—⁠Danyeri 2:44.

6. Engeri endala Setaani gy’abuzabuzamu abantu kwe kubakema n’okwegomba okubi. Yakuwa atugamba okwewala ebikolwa ebibi kubanga amanyi nga bijja kutulumya. (Abaggalatiya 6:​7, 8) Abantu abamu bayinza okwagala obeegatteko mu bikolwa ng’ebyo. Kyokka jjukira nti oyo ayagala okole ebintu bino ye Setaani.​—⁠1 Abakkolinso 6:​9, 10; 15:⁠33.

7. Setaani ayinza okukozesa okuyigganyizibwa oba okuziyizibwa akulekese Yakuwa. Abamu ku baagalwa bo bayinza okunyiiga ennyo kubanga oyiga Baibuli. Abalala bayinza okukusekerera. Naye ani eyakuwa obulamu bw’olina? Setaani ayagala kukutiisatiisa olekere awo okuyiga ebifa ku Yakuwa. Tokkiriza Setaani kukuwangula! (Matayo 10:​34-39; 1 Peetero 5:​8, 9) Mu kuziyiza Omulyolyomi, oyinza okusanyusa Yakuwa era n’olaga ng’owagira obufuzi Bwe.​—⁠Engero 27:⁠11.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Eddiini ez’obulimba, eby’obusamize, ne mwoyo gwa ggwanga bibuzaabuza abantu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Ziyiza Setaani nga weeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa