Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola Otya Okuzuula Eddiini ey’Amazima?

Osobola Otya Okuzuula Eddiini ey’Amazima?

Essomo 13

Osobola Otya Okuzuula Eddiini ey’Amazima?

Amadiini gonna gasanyusa Katonda, oba emu yokka? (1)

Lwaki waliwo amadiini mangi ageeyita Amakristaayo? (2)

Osobola otya okwawulawo Abakristaayo ab’amazima? (3-7)

1. Yesu yatandikawo eddiini emu ey’Obukristaayo obw’amazima. N’olwekyo leero wateekwa okubeerawo ekibiina kimu kyokka eky’amazima ekisinza Yakuwa Katonda. (Yokaana 4:​23, 24; Abaefeso 4:​4, 5) Baibuli eyigiriza nti abantu batono nnyo abali mu kkubo effunda erigenda mu bulamu.​—⁠Matayo 7:​13, 14.

2. Baibuli yalagula nti oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, enjigiriza enkyamu n’ebikolwa ebitali bya Kikristaayo byandisensedde ekibiina Ekikristaayo. Abantu bandisenzesenze abakkiriza okubagoberera mu kifo ky’okugoberera Kristo. (Matayo 7:​15, 21-23; Ebikolwa 20:​29, 30) Eno ye nsonga lwaki tulaba amadiini mangi ag’enjawulo ageeyita Amakristaayo. Tusobola tutya okwawulawo Abakristaayo ab’amazima?

3. Akabonero akasinga obukulu ak’Abakristaayo ab’amazima kwe kuba nga ddala baagalana bokka na bokka. (Yokaana 13:​34, 35) Tebayigirizibwa kulowooza nti basinga abantu ab’amawanga amalala oba ab’erangi endala. Era tebayigirizibwa kukyawa bantu abava mu nsi endala. (Ebikolwa 10:​34, 35) N’olwekyo tebeetaba mu ntalo. Abakristaayo ab’amazima buli omu ayisa munne ng’ow’oluganda.​—⁠1 Yokaana 4:​20, 21.

4. Akabonero akalala ak’eddiini ey’amazima kwe kuba nti abo abagirimu bawa Baibuli ekitiibwa. Bagitwala okuba Ekigambo kya Katonda era bakkiriza ky’egamba. (Yokaana 17:17; 2 Timoseewo 3:​16, 17) Batwala Ekigambo kya Katonda okuba ekikulu okusinga endowooza oba obulombolombo bw’abantu. (Matayo 15:​1-3, 7-9) Bagezaako okugoberera Baibuli mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. N’olwekyo teboogera kino ate ne bakola ekirala.​—⁠Tito 1:​15, 16.

5. Era eddiini ey’amazima eteekwa okussa ekitiibwa mu linnya lya Katonda. (Matayo 6:⁠9) Yesu yategeeza abalala erinnya lya Katonda, Yakuwa. Abakristaayo ab’amazima bateekwa okukola kye kimu. (Yokaana 17:​6, 26; Abaruumi 10:​13, 14) Bantu ki mu kitundu ky’olimu abategeeza abalala erinnya lya Katonda?

6. Abakristaayo ab’amazima bateekwa okubuulira ku Bwakabaka bwa Katonda. Yesu bw’atyo bwe yakola. Yayogeranga ku Bwakabaka buli kiseera. (Lukka 8:⁠1) Yalagira abagoberezi be okubuulira obubaka bwe bumu mu nsi yonna. (Matayo 24:14; 28:​19, 20) Abakristaayo ab’amazima bakkiriza nti Bwakabaka bwa Katonda bwokka bwe bujja okuleeta emirembe egya nnamaddala n’obutebenkevu ku nsi eno.​—⁠Zabbuli 146:​3-5.

7. Abayigirizwa ba Yesu tebateekwa kuba kitundu kya nsi eno embi. (Yokaana 17:16) Tebenyigira mu bya bufuzi bwa nsi na nkaayana zaayo. Beewala empisa, ebikolwa, n’endowooza ez’akabi ebicaase ennyo mu nsi. (Yakobo 1:27; 4:⁠4) Osobola okwawulawo ekibiina ky’eddiini ekiri mu kitundu ky’olimu ekirina obubonero buno obw’Obukristaayo obw’amazima?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 2627]

Abakristaayo ab’amazima, baagalana, bawa Baibuli ekitiibwa, era babuulira ku Bwakabaka bwa Katonda