Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Kristo y’Ani?

Yesu Kristo y’Ani?

Essomo 3

Yesu Kristo y’Ani?

Lwaki Yesu ayitibwa Omwana wa Katonda “omubereberye” (1)

Lwaki ayitibwa “Kigambo”? (1)

Lwaki Yesu yajja ku nsi ng’omuntu? (2-4)

Lwaki yakola ebyamagero? (5)

Kiki Yesu ky’anaakola mu biseera eby’omu maaso awo? (6)

1. Yesu yali abeera mu ggulu ng’omuntu ow’omwoyo nga tannaba kujja ku nsi. Kye kitonde kya Katonda ekyasooka, era kyava ayitibwa Omwana wa Katonda “omubereberye.” (Abakkolosaayi 1:15; Okubikkulirwa 3:14) Yesu ye Mwana yekka Katonda gwe yeetondera kennyini. Yakuwa yakozesa Yesu nga tannaba kufuuka muntu nga “omukoza” we mu kutonda ebintu ebirala byonna mu ggulu ne ku nsi. (Engero 8:​22-31; Abakkolosaayi 1:​16, 17) Era Katonda yamukozesa nga omwogezi We omukulu. Eno ye nsonga lwaki Yesu ayitibwa “Kigambo.”​—⁠Yokaana 1:​1-3; Okubikkulirwa 19:⁠13.

2. Katonda yatuma Omwana We ku nsi ng’ateeka obulamu bwe mu lubuto lwa Malyamu. Olw’ensonga eno Yesu teyalina kitaawe muntu. Eno ye nsonga lwaki teyasikira kibi kyonna oba obutali butuukirivu. Katonda yatuma Yesu ku nsi lwa nsonga ssatu: (1) Okutuyigiriza amazima agakwata ku Katonda (Yokaana 18:37), (2) okukuuma obugolokofu obutuukiridde, ng’atuteerawo ekyokulabirako eky’okugoberera (1 Peetero 2:21), ne (3) okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka okutusumulula okuva mu kibi n’okufa. Lwaki kino kyali kyetaagisa?​—⁠Matayo 20:⁠28.

3. Olw’obutagondera tteeka lya Katonda, omuntu eyasooka, Adamu yakola ekyo Baibuli ky’eyita “ekibi.” Bwe kityo Katonda yamusalira ekibonerezo kya kufa. (Olubereberye 3:​17-19) Yali takyatuukana na mitindo gya Katonda, n’olwekyo yali takyali mutuukirivu. Mpola mpola yakaddiwa era n’afa. Adamu yasikiza abaana be bonna ekibi. Eno ye nsonga lwaki naffe tukaddiwa, tulwala, era ne tufa. Omuntu yandirokoleddwa atya?​—⁠Abaruumi 3:23; 5:⁠12.

4. Yesu yali muntu atuukiridde nga Adamu. Kyokka, obutafaanana Adamu, Yesu yagondera Katonda mu ngeri etuukiridde wadde mu kugezesebwa okusingirayo ddala. N’olwekyo yali asobola okuwaayo obulamu bwe obw’omuntu obutuukiridde okusasula ekibi kya Adamu. Kino Baibuli ky’eyogerako nga “ekinunulo.” Mu ngeri eno abaana ba Adamu bandisobodde okusumululwa okuva mu kibonerezo eky’okufa. Abo bonna abakkiririza mu Yesu bayinza okusonyiyibwa ebibi byabwe ne bafuna obulamu obutaggwaawo.​—⁠1 Timoseewo 2:​5, 6; Yokaana 3:16; Abaruumi 5:​18, 19.

5. Yesu bwe yali ku nsi yawonya abalwadde, yaliisa abalumwa enjala, era yakkakkanya omuyaga. Yazuukiza n’abafu. Lwaki yakola ebyamagero? (1) Yasaasira abantu abaali babonaabona, era yayagala okubayamba. (2) Ebyamagero bye yakola byakakasa nti yali Mwana wa Katonda. (3) Byalaga ebyo by’anaakolera abantu abawulize bw’anaaba afuga ensi nga Kabaka.​—⁠Matayo 14:14; Makko 2:​10-12; Yokaana 5:​28, 29.

6. Yesu yafa Katonda n’amuzuukiza ng’ekitonde eky’omwoyo, era n’addayo mu ggulu. (1 Peetero 3:18) Kaakano, Katonda amaze okumufuula Kabaka. Mangu ddala Yesu ajja kuggyawo obubi bwonna n’okubonaabona okuli ku nsi eno.​—⁠Zabbuli 37:​9-11; Engero 2:​21, 22.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Obuweereza bwa Yesu bwalimu okuyigiriza, okukola ebyamagero, era n’okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe