Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?
Essuula ey’Ekkumi n’Emu
Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?
Katonda y’aleetawo okubonaabona okuli mu nsi?
Nsonga ki eyabalukawo mu lusuku Adeni?
Katonda anaggyawo atya ebintu ebiviirako abantu okubonaabona?
1, 2. Bintu ki ebiviirako abantu okubonaabona leero, era kibaleetera kwebuuza bibuuzo ki?
OLUVANNYUMA lw’olutalo kasiggu mu nsi emu, enkumi n’enkumi z’abakazi n’abaana abaali bafiiridde mu lutalo olwo baaziikibwa mu ntaana emu ennene nga yeetooloddwa obusaalaba. Buli kasaalaba kaaliko ekibuuzo: “Lwaki?” Kino kye kibuuzo abantu kye batera okwebuuza bwe baba nga babonaabona awatali nsonga. Beebuuza ekibuuzo ekyo nga banakuwavu nnyo oluvannyuma lw’entalo, obutyabaga, endwadde, oba ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka okubattira abaagalwa baabwe, okusaanyawo amaka gaabwe, oba okubaleetera okubonaabona okw’engeri ezitali zimu. Baagala okumanya ensonga lwaki ebintu ng’ebyo bibatuukako.
2 Lwaki Katonda aleseewo okubonaabona? Bwe kiba nti Yakuwa Katonda alina amaanyi, okwagala, n’amagezi era nga wa bwenkanya, lwaki ensi ejjudde obukyayi n’obutali bwenkanya? Wali weebuzizzaako ebibuuzo ng’ebyo?
3, 4. (a) Kiki ekiraga nti tekiba kikyamu okubuuza ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona? (b) Yakuwa atunuulira atya obubi n’okubonaabona?
3 Kikyamu okubuuza nti lwaki Katonda aleseewo okubonaabona? Abamu balowooza nti okubuuza ekibuuzo ng’ekyo kiba kitegeeza nti balina okukkiriza kutono, oba nti baba tebawadde Kaabakuuku 1:3, Baibuli y’Oluganda eya 2003.
Katonda kitiibwa. Kyokka, bw’osoma Baibuli, olabamu abantu abaali abeesigwa era nga batya Katonda abaabuuza ekibuuzo ng’ekyo. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Kaabakuuku yabuuza bw’ati Yakuwa: “Ondekera ki okulaba ebitali bya bwenkanya, n’otunula obutunuzi ng’ebikyamu bikolebwa? Kubanga obunyazi n’obukambwe bye ndaba buli we ntunula.”—4 Yakuwa yanenya nnabbi Kaabakuuku olw’okubuuza ekibuuzo ng’ekyo? Nedda. Wabula, yassa mu Baibuli ebigambo ebyo Kaabakuuku bye yayogera. Ate era yamuyamba okutegeera bye yali tamanyi n’okweyongera okunyweza okukkiriza kwe. Naawe Yakuwa ayagala okukuyamba mu ngeri y’emu. Kijjukire nti Baibuli egamba nti, ‘atufaako.’ (1 Peetero 5:7) Katonda y’asinga abantu bonna okukyawa obubi n’okubonaabona kwe buleeta. (Isaaya 55:8, 9) Kati ate, lwaki waliwo okubonaabona kungi mu nsi?
LWAKI WALIWO OKUBONAABONA KUNGI?
5. Bintu ki ebitera okugambibwa abantu nga babannyonnyola ensonga lwaki waliwo okubonaabona kungi, naye Baibuli eyigiriza ki?
5 Abantu ab’amadiini ag’enjawulo bagenze eri abakulembeze n’abasomesa baabwe ab’eddiini okubabuuza ensonga lwaki waliwo okubonaabona kungi. Emirundi mingi, babagamba Yobu 34:10.
nti Katonda yakigenderera okubonaabona kubeewo era nti buli kimu ekibaawo aba yakiteekateeka dda, nga mw’otwalidde n’ebintu ebituleetera ennaku ey’amaanyi. Bangi bagambibwa nti amakubo ga Katonda tegategeerekeka oba nti y’aviirako abantu okufa—nga mw’otwalidde n’abaana—asobole okubeera nabo mu ggulu. Nga bw’oyize, Yakuwa Katonda tayinza n’omulundi n’ogumu okuleetawo obubi. Baibuli egamba: ‘Tekiyinzika n’akatono Katonda okukola obubi, era Omuyinza w’ebintu byonna tasobola kukola bitali bya butuukirivu.’—6. Lwaki abantu banenya Katonda olw’okubonaabona okuliwo mu nsi?
6 Omanyi ensonga lwaki abantu banenya Katonda olw’okubonaabona okuliwo mu nsi? Emirundi mingi banenya Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna kubanga balowooza nti y’afuga ensi eno. Tebamanyi mazima Baibuli g’eyigiriza ku nsonga eno. Wayiga mu Ssuula 3 ey’akatabo kano nti Omufuzi w’ensi eno ye Setaani Omulyolyomi.
7, 8. (a) Ensi eyoleka etya engeri z’omufuzi waayo? (b) Obutali butuukirivu bw’abantu, ‘n’ebintu ebigwawo obugwi’ biviirako bitya okubonaabona?
7 Baibuli ekyoleka kaati nti: ‘Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’ (1 Yokaana 5:19) Ekyo bw’okifumiitirizaako, tolaba nga ddala kituufu? Ebiriwo mu nsi byoleka engeri z’ekitonde eky’omwoyo ekyo ekitalabika ‘ekirimbalimba ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9) Setaani alina obukyayi bungi, mulimba, era mukambwe. Bwe kityo, ensi eri wansi w’obuyinza bwe, ejjudde obukyayi, obulimba n’obukambwe. Eno y’emu ku nsonga lwaki waliwo okubonaabona kungi.
8 Nga bwe kyayogerwako mu Ssuula 3, ensonga ey’okubiri lwaki waliwo okubonaabona eri nti, okuva abantu bwe baajeema mu lusuku Adeni, baafuuka abatatuukiridde era aboonoonyi. Abantu aboonoonyi batera okulwanira obuyinza, era kino kireetawo entalo, effugabbi, n’okubonaabona. (Omubuulizi 4:1; 8:9) Ensonga ey’okusatu eviirako okubonaabona bye ‘bintu ebigwawo obugwi.’ (Omubuulizi 9:11) Olw’okuba ensi teri wansi wa bufuzi bwa Yakuwa, abantu bayinza okubonaabona olw’okubeera mu kifo ekikyamu mu kiseera ekikyamu.
9. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa alina ensonga lwaki akyaleseewo okubonaabona?
9 Kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Katonda si y’aleetawo okubonaabona. Si y’avunaanyizibwa ku ntalo, obumenyi bw’amateeka, effugabbi, oba obutyabaga bw’omu butonde, ebiviirako abantu okubonaabona. Wadde kiri kityo, twetaaga okumanya ensonga lwaki Yakuwa aleseewo okubonaabona. Okuva bw’ali Omuyinza w’Ebintu Byonna, asobola okukuggyawo. Naye lwaki tabaako ky’akolawo? Olw’okuba alina okwagala nga bwe twayiga, ateekwa okuba ng’alina ensonga ennungi lwaki akyaleseewo okubonaabona.—1 Yokaana 4:8.
ENSONGA ENKULU EYABALUKAWO
10. Kubuusabuusa ki Setaani kwe yaleetawo, era mu ngeri ki?
10 Okusobola okutegeera ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona, ka tuddireyo ddala ku kiseera okubonaabona lwe kwatandika. Setaani bwe yaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Yakuwa, waliwo ensonga enkulu ennyo eyabalukawo. Setaani teyabuusabuusa nti Yakuwa wa maanyi. Akimanyi bulungi nti amaanyi ga Yakuwa tegaliiko kkomo. Wabula, Setaani yaleetawo okubuusabuusa obanga Yakuwa y’agwanidde okufuga. Mu kuyita Yakuwa omulimba ataagaliza birungi abo b’afuga, Setaani yagamba nti Yakuwa mufuzi mubi. (Olubereberye 3:2-5) Setaani yagamba nti abantu bandibadde bulungi nga tebafugibwa Katonda. Mu kwogera bw’atyo yali awakanya obufuzi bwa Yakuwa, oba obwannannyini bw’alina ku kufuga obutonde bwonna.
11. Lwaki Yakuwa teyazikiririzaawo abajeemu abaali mu Adeni?
11 Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa. Mu kukola ekyo baalinga abagamba nti: “Tetwetaaga Yakuwa kuba Mufuzi waffe. Tusobola okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu.” Yakuwa yandigonjodde atya ensonga eno? Yandimanyisizza atya ebitonde bye ebitegeera nti abajeemu abo baali bakyamu, Olubereberye 1:28) Bulijjo Yakuwa atuukiriza ebigendererwa bye. (Isaaya 55:10, 11) Ng’oggyeko ekyo, okuzikiriza abajeemu abaali mu Adeni tekyandigonjodde nsonga eyabalukawo ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa.
era nti obufuzi bwe bwe businga obulungi? Omuntu ayinza okugamba nti Katonda yandizikirizza abajeemu abo n’addamu buto okutonda. Kyokka, Yakuwa yali yayogera dda ekigendererwa kye eky’ensi okujjula abaana ba Adamu ne Kaawa era ng’ayagala babeere mu nsi efuuliddwa olusuku lwe. (12, 13. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki Yakuwa akkirizza Setaani okufuuka omufuzi w’ensi eno, era n’ensonga lwaki alese abantu okwefuga bokka.
12 Lowooza ku kyokulabirako kino. Ka tugambe nti omusomesa alagirira abayizi engeri y’okukolamu ennamba emu enzibu. Naye omuyizi omu omugezi kyokka nga mujeemu agamba nti engeri omusomesa gy’akolamu ennamba eyo si ntuufu. Ng’agezaako okulaga nti omusomesa mukyamu, omuyizi ono omujeemu agamba nti amanyi engeri entuufu ey’okukolamu ennamba eyo. Abayizi abamu balowooza nti mutuufu, era nabo bajeema. Kiki omusomesa kye yandikoze? Singa agoba abajeemu abo mu kibiina, abayizi abalala
banaatunuulira batya ensonga eyo? Tebaalowooze nti muyizi munnaabwe oyo n’abo abamwegasseeko be batuufu? Ate era abayizi abalala bayinza obutaddamu kuwa musomesa oyo kitiibwa, nga balowooza nti abadde atya butyi okumwanika nti mukyamu. Omusomesa oyo ky’akola, awa omuyizi oyo omujeemu omukisa okulaga ekibiina engeri gy’ayinza okukolamu ennamba eyo.13 Yakuwa akoze ng’omusomesa oyo. Kijjukire nti abajeemu abaali mu Adeni si be bokka abaali bakwatibwako. Obukadde n’obukadde bwa bamalayika baali balaba ebigenda mu maaso. (Yobu 38:7; Danyeri 7:10) Engeri Yakuwa gye yandikuttemu ensonga eyo, yandibaddeko eky’amaanyi ky’ekola ku bamalayika abo ate n’oluvannyuma ku bantu. Kati olwo Yakuwa yakola atya? Akkirizza Setaani alage engeri gy’ayinza okufugamu abantu. Ate era, Katonda alese abantu okwefuga bokka nga bali wansi w’obulagirizi bwa Setaani.
14. Yakuwa okusalawo okuleka abantu okwefuga bokka kinaakakasa ki?
14 Omusomesa gwe twogeddeko mu kyokulabirako aba akimanyi nti omuyizi oyo omujeemu n’abo abamwegasseeko bakyamu. Ate era akimanyi nti ekibiina kyonna kijja kutegeera ani mutuufu singa awa abajeemu abo akakisa okukakasa kye bagamba. Singa abajeemu abo balemererwa okulaga nti kye boogera kituufu, abayizi abeesimbu bajja kukitegeera nti omusomesa waabwe ye yekka asaanidde okubayigiriza. Tebajja kwemulugunya singa oluvannyuma omusomesa agoba abajeemu abo mu kibiina. Mu ngeri y’emu, Yakuwa akimanyi nti abantu abeesigwa ne bamalayika tebajja kusigalamu kakunkuna bwe banaalaba nga Setaani ne bajeemu banne balemereddwa okukakasa ekyo kye baayogera era nga n’abantu tebasobodde kwefuga mu ngeri ennungi. Okufaananako Yeremiya, bajja kukakasa nti ebigambo bino bituufu: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamya ebigere bye.”—Yeremiya 10:23.
LWAKI AKULESEEWO OKUMALA EKISEERA KIWANVU?
15, 16. (a) Lwaki Yakuwa aleseewo okubonaabona okumala ekiseera kiwanvu? (b) Lwaki Yakuwa taziyiza bintu bibi, gamba ng’obumenyi bw’amateeka?
15 Naye, lwaki Yakuwa aleseewo okubonaabona okumala ekiseera kiwanvu? Era lwaki taziyiza bintu bibi kubaawo? Okufuna eky’okuddamu, weetegereze ebintu bibiri omusomesa oli mu kyokulabirako by’atandikoze. Ekisooka, teyandigaanye muyizi oyo omujeemu okuwa obukakafu ku ekyo ky’agamba. Eky’okubiri, omusomesa oyo teyandiyambye ku mujeemu oyo ng’awa obukakafu obulaga nti ky’ayogedde kituufu. Mu ngeri y’emu, lowooza ku bintu bibiri Yakuwa by’asazeewo obutakola. Ekisooka, tagaanye Setaani n’abo abali ku ludda lwe okugezaako okulaga nti batuufu. N’olwekyo kibadde kyetaagisa okuleka ekiseera okuyitawo. Mu nkumi n’enkumi z’emyaka egiyiseewo, abantu bagezezzaako okwefuga bokka nga bakozesa enfuga ez’enjawulo. Baleeseewo enkulaakulana ya maanyi mu bya sayansi ne mu bintu ebirala, naye obutali bwenkanya, obwavu, obumenyi bw’amateeka n’entalo byeyongera bweyongezi. Kati nno kyeraze bulungi nti obufuzi bw’abantu bulemereddwa.
16 Eky’okubiri, Yakuwa tayambye ku Setaani kufuga nsi eno. Singa Katonda yali wa kuziyiza obumenyi bw’amateeka, ekyo kyandibadde tekiraga nti awagira abajeemu abo? Katonda yandibadde taleetera bantu kulowooza nti oboolyawo basobola okwefuga bokka ne batatuukibwako kabi konna? Singa Yakuwa yali wa kukola bw’atyo, yandibadde awagira obulimba. Kyokka, ‘Katonda tayinza kulimba.’—Abebbulaniya 6:18.
17, 18. Kiki Yakuwa ky’ajja okukola obubi bwonna obuleeteddwa obufuzi bw’abantu n’ebyo Setaani by’akoze?
17 Ate kiri kitya ku bintu ebibi ebikoleddwa okuva obujeemu lwe bwatandikibwawo? Tulina okukijjukira nti Yakuwa ye muyinza w’ebintu byonna. N’olwekyo, asobola era ajja kuggyawo ebyo byonna ebiviirako abantu okubonaabona. Nga bwe twayiga, ensi ejja kufuulibwa Olusuku lwa Katonda embeera embi ziviirewo ddala. Olw’okukkiririza mu kinunulo 1 Yokaana 3:8) Bino byonna Yakuwa ajja kubikola mu kiseera ekituufu. Tuli basanyufu nti tayanguye kubaako ky’akolawo ne kitusobozesa okuyiga amazima n’okumuweereza. (2 Peetero 3:9, 10) Mu kiseera kino, Katonda abadde anoonya abasinza abeesigwa era ng’abayamba okugumiikiriza okubonaabona kwe boolekagana nakwo mu nsi eno embi.—Yokaana 4:23; 1 Abakkolinso 10:13.
kya Yesu, tujja kusobola okuggibwako ebyo byonna ebireetebwa ekibi, ate kwo okufa kujja kuggibwawo okuyitira mu kuzuukira. Bwe kityo, Katonda ajja kukozesa Yesu ‘okumalawo ebikolwa by’Omulyolyomi.’ (18 Abamu bayinza okwebuuza nti, Okubonaabona kuno kwonna kwandibadde tekuziyiziddwa singa Katonda yatonda Adamu ne Kaawa nga tebayinza kumujeemera? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, weetaaga okujjukira ekirabo eky’omuwendo ennyo Yakuwa ky’akuwadde.
ONOOKOZESA OTYA EKIRABO KATONDA KY’AKUWADDE?
19. Kirabo ki eky’omuwendo ennyo Yakuwa ky’atuwadde, era lwaki twandikisiimye nnyo?
19 Nga bwe kyayogerwako mu Ssuula 5, abantu baatondebwa nga balina eddembe ly’okwesalirawo. Okimanyi nti ekyo kirabo kya muwendo nnyo? Katonda yatonda ebisolo bingi nnyo era bigoberera bugoberezi amagezi agaabitonderwamu. (Engero 30:24) Abantu nabo balina ebyuma bye bakoze ebitalina busobozi bwa kwesalirawo. Twandibadde basanyufu singa Katonda yatutonda mu ngeri eyo? N’akatono. Tuli basanyufu olw’okuba tulina eddembe ery’okwesalirawo kye twagala, obulamu bwe twagala okutambuliramu, abantu be twagala okuba mikwano gyaffe, n’ebirala bingi. Twagala okuba n’eddembe ly’okwesalirawo era Katonda ayagala tulikozese.
20, 21. Tuyinza tutya okukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo mu ngeri esingayo okuba ey’omuganyulo, era lwaki twandikoze bwe tutyo?
20 Yakuwa ayagala tumuweereze awatali kukakibwa. (2 Abakkolinso 9:7) Ng’ekyokulabirako: Kiki ekisinga okusanyusa omuzadde—omwana amugamba nti “nkwagala” olw’okuba waliwo omuntu omulala amugambye okwogera bw’atyo, oba omwana oyo akyogera okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwe? Kati ekibuuzo kiri nti, Onookozesa otya eddembe ery’okwesalirawo Yakuwa ly’akuwadde? Setaani, Adamu, ne Kaawa, baalikozesa bubi nnyo . Beesamba Yakuwa Katonda. Ggwe onneeyisa otya?
21 Osobola okukozesa ekirabo ekyo eky’eddembe ery’okwesalirawo mu ngeri esingayo okuba ey’omuganyulo. Oyinza okwegatta ku bukadde n’obukadde bw’abo abasazeewo okudda ku ludda lwa Yakuwa. Basanyusa Katonda kubanga bakyoleka nti Setaani mulimba era nti alemereddwa okufuga obulungi. (Engero 27:11) Naawe osobola okukola bw’otyo ng’olondawo okutambuza obulamu bwo mu ngeri entuufu. Kino kijja kunnyonnyolebwa mu ssuula eddako.
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
▪ Katonda si y’aleetawo embeera embi ku nsi.—Yobu 34:10.
▪ Mu kuyita Katonda omulimba era nti alina ebirungi by’amma abo b’afuga, Setaani yaleetawo okubuusabuusa obanga Yakuwa y’agwanidde okufuga.—Olubereberye 3:2-5.
▪ Yakuwa ajja kukozesa Omwana we, Omufuzi w’Obwakabaka bwe, okuggyawo okubonaabona kwonna n’ebyo bye kuleeseewo.—1 Yokaana 3:8.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 107]
Yakuwa ajja kuggyawo okubonaabona kwonna
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 110]
Omuyizi aba amanyi bingi okusinga omusomesa we?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 113]
Katonda ajja kukuyamba okugumiikiriza okubonaabona