Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mikayiri Malayika Omukulu y’Ani?

Mikayiri Malayika Omukulu y’Ani?

Mikayiri Malayika Omukulu y’Ani?

MALAYIKA ayitibwa Mikayiri tayogerwako nnyo mu Baibuli. Kyokka buli lw’ayogerwako aba alina ky’akola. Ekitabo kya Danyeri, kiraga nga Mikayiri alwanyisa bamalayika ababi, mu bbaluwa ya Yuda alagibwa nga alina obutategeeragana ne Setaani, ate mu kitabo ky’Okubikkulirwa, alagibwa ng’alwanyisa Omulyolyomi ne badayimooni be. Olw’okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, n’okulwanyisa abalabe ba Katonda, Mikayiri atuukana n’amakulu g’erinnya lye eritegeeza nti “Ani Ali nga Katonda”? Naye, Mikayiri ono y’ani?

Oluusi, abantu batuumibwa amannya agassuka mu limu. Ng’ekyokulabirako, Yakobo era yali amanyiddwa nga Isiraeri, ate omutume Peetero era yali amanyiddwa nga Simooni. (Olubereberye 49:​1, 2; Matayo 10:2) Mu ngeri y’emu, Baibuli eraga nti Mikayiri lye linnya lya Yesu. Erinnya eryo lye yali ayitibwa nga tannajja ku nsi ate era lye yayitibwa ng’azzeeyo mu ggulu. Ka tulabe ensonga okuva mu Byawandiikibwa kwe tusinziira okugamba bwe tutyo.

Malayika Omukulu. Ekigambo kya Katonda kyogera ku Mikayiri “malayika omukulu.” (Yuda 9) Mu Baibuli, malayika omu yekka y’ayitibwa “malayika omukulu.” Yesu ayogerwako nga malayika omukulu. Nga lwogera ku Mukama waffe Yesu Kristo eyazuukizibwa, 1 Abasessalonika 4:​16 lugamba: “Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’okwogerera waggulu n’eddoboozi lya malayika omukulu.” Eddoboozi lya Yesu wano lyogerwako ng’erya malayika omukulu. N’olwekyo, ekyawandiikibwa kino kiraga nti Yesu kennyini ye Mikayiri malayika omukulu.

Omukulu w’Eggye. Baibuli egamba nti ‘Mikayiri ne bamalayika be baalwana n’ogusota ne bamalayika baagwo.’ (Okubikkulirwa 12:7) N’olwekyo, Mikayiri ye Mukulembeze w’eggye lya bamalayika abeesigwa. Ate era ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku Yesu ng’Omukulembeze wa bamalayika abeesigwa. (Okubikkulirwa 19:14-​16) Ate era, omutume Pawulo ayogera ku “Mukama waffe Yesu” ne ‘bamalayika be ab’amaanyi.’ (2 Abasessalonika 1:7) N’olw’ekyo, Baibuli eyogera ku Mikayiri ne ‘bamalayika be,’ era n’eyogera ne ku Yesu ne ‘bamalayika be.’ (Matayo 13:41; 16:27; 24:31; 1 Peetero 3:22) Okuva Ekigambo kya Katonda bwe kitalaga nti waliwo eggye lya bamalayika abeesigwa lya mirundi ebiri, kwe kugamba, ng’erimu likulemberwa Mikayiri, ate ng’eddala likulemberwa Yesu, kiba kituufu okugamba nti Mikayiri ye Yesu Kristo ng’ali mu kifo kye eky’omu ggulu. *

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 1 Ebirala ebiraga nti Mikayiri ye Mwana wa Katonda, bisangibwa mu kitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, empapula 393-4, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.