Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obunnabbi bwa Danyeri Kye Bwogera ku Kujja kwa Masiya

Obunnabbi bwa Danyeri Kye Bwogera ku Kujja kwa Masiya

Obunnabbi bwa Danyeri Kye Bwogera ku Kujja kwa Masiya

NNABBI Danyeri yaliwo emyaka egisukka mu 500 nga Yesu tannazaalibwa. Kyokka, Yakuwa yamubikkulira ebintu ebyandiyambye okumanya ekiseera Yesu lwe yandibadde afukibwako amafuta okusobola okuba Masiya, oba Kristo. Danyeri yagambibwa: “Manya otegeerere ddala nga kasooka ekiragiro kifuluma okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi okutuuka ku oyo afukibwako amafuta, omulangira, walibaawo ssabbiiti musanvu: era walibaawo ssabbiiti nkaaga mu bbiri.”​—Danyeri 9:25.

Okusobola okumanya ekiseera Masiya we yandijjidde, tuba tulina okusooka okumanya ekiseera we tulina okutandikira okubala. Okusinziira ku bunnabbi, ekiseera ekyo kitandikira ku ‘kufuluma kw’ekiragiro ky’okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi.’ ‘Ekiragiro kino kyafuluma’ ddi? Okusinziira ku Nekkemiya, omu ku abo abaawandiika Baibuli, ekiragiro ky’okuddamu okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi kyafuluma “mu mwaka ogw’amakumi abiri ogwa Alutagizerugizi kabaka.” (Nekkemiya 2:1, 5-8) Bannabyafaayo bakakasa nti 474 B.C.E. gwe mwaka Alutagizerugizi gwe yatandikiramu okufuga nga kabaka. N’olwekyo, omwaka ogwa 20 ogw’obufuzi bwe gwali 455 B.C.E. Ogwo nno gwe mwaka we tutandikira okubalirira ekiseera eky’okujja kwa Masiya okwogerwako mu bunnabbi bwa Danyeri.

Danyeri alaga ekiseera ekyandibadde kiyitawo ‘Masiya Omufuzi’ alabike. Obunnabbi bwe bwogera ku ‘ssabbiiti omusanvu ne ku ssabbiiti enkaaga mu ebbiri’​—awamu ze ssabbiiti nkaaga mu mwenda. Ekiseera kino kyenkana wa obuwanvu? Abavvuunuzi ba Baibuli bangi bagamba nti zino si ssabbiiti eza bulijjo ez’ennaku omusanvu, wabula ssabbiiti ez’emyaka. Kwe kugamba, buli ssabbiiti erimu emyaka musanvu. Ssabbiiti ez’engeri eno, Abayudaaya baali bazimanyi. Ng’ekyokulabirako, omwaka ogw’omusanvu gwabanga Ssabbiiti eri Abayudaaya. (Okuva 23:10, 11) N’olwekyo, ssabbiiti 69 ezoogerwako mu bunnabbi bwa Danyeri, buli emu erimu emyaka 7, gyonna awamu ne giba emyaka 483.

Kaakano tusobola okubalirira ekiseera Masiya we yalabikira. Bwe tubala emyaka 483 nga tutandikira mu 455 B.C.E., tutuuka ku mwaka 29 C.E. Ogwo gwe mwaka gwennyini Yesu gwe yabatirizibwamu era n’afuuka Masiya! * (Lukka 3:1, 2, 21, 22) Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli obwo tekutuzzaamu nnyo amaanyi?

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 2 Okuva mu 455 B.C.E. okutuuka mu 1 B.C.E. giri emyaka 454. Okuva mu 1 B.C.E. okutuuka mu 1 C.E. guli omwaka gumu (tewaaliwo mwaka gwa zeero). Ate, okuva mu 1 C.E. okutuuka mu 29 C.E. giri emyaka 28. Bwe tugatta emiwendo gino egy’emirundi esatu tufuna emyaka 483. Yesu ‘yattibwa’ mu 33 C.E., nga kino kyaliwo mu ssabbiiti eya 70. (Danyeri 9:24, 26) Laba akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri! essuula 11, ne Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, empapula 899-901. Byombi byakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku empapula 198]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

“SSABBIITI ENSANVU”

Emyaka 490

Ssabbiiti 7 Ssabbiiti 62 Ssabbiiti 1

(Emyaka 49) (Emyaka 434) (Emyaka 7)

455 406 ← B.C.E.  C.E. → 29 33 36

“Ekiragiro kifuluma Yerusaalemi Masiya Masiya Enkomerero ya . . . kiddamu okuzimbibwa ajja “azikirizibwa” ssabbiiti

okuzzaawo “ensanvu”

Yerusaalemi” ssabbiiti”