Okusinza Katonda kw’Asiima
Essuula ey’Ekkumi n’Ettaano
Okusinza Katonda kw’Asiima
Amadiini gonna gasanyusa Katonda?
Tuyinza tutya okwawulawo eddiini ey’amazima?
Baani abasinza Katonda mu ngeri entuufu mu nsi leero?
1. Tunaaganyulwa tutya singa tusinza Katonda mu ngeri entuufu?
YAKUWA KATONDA atufaako nnyo era ayagala tuganyulwe mu bulagirizi bw’atuwa. Singa tumusinza mu ngeri entuufu, tujja kuba basanyufu era tujja kwewala ebizibu bingi mu bulamu. Ate era tujja kufuna emikisa n’obuyambi bwe. (Isaaya 48:17) Kyokka, waliwo amadiini mangi agagamba nti bye gayigiriza ku Katonda bituufu. Wadde kiri kityo, bye gayigiriza ku Katonda ky’ali n’ebyo by’atusuubira okukola, byawukana.
2. Tuyinza tutya okutegeera engeri entuufu ey’okusinzaamu Yakuwa, era kyakulabirako ki ekituyamba okutegeera kino?
2 Osobola otya okumanya engeri entuufu ey’okusinzaamu Yakuwa? Tekikwetaagisa kusooka kusoma na kugeraageranya njigiriza z’amadiini gonna. Kye weetaaga okukola kwe kuyiga ekyo ddala Baibuli ky’eyigiriza ku kusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, mu nsi nyingi, eriyo ssente ez’ebikwangala. Singa oweebwa omulimu gw’okuzaawula mu ssente entuufu, kiki kye wandikoze? Wandigezezzaako okumanya buli ssente ey’ekikwangala bw’efaanana? Nedda. Kyandibadde kya magezi okumanya obulungi ssente entuufu bwe zifaanana. Bw’omala okuzimanya, awo ojja kuba osobola okumanya ez’ekikwangala bwe zifaanana. Mu ngeri y’emu, bwe tutegeera eddiini entuufu, tuba tusobola okumanya n’ezo ez’obulimba.
3. Okusinziira ku Yesu, kiki kye tulina okukola bwe tuba twagala okusiimibwa Katonda?
Matayo 7:21-23) Okufaananako ssente ez’ekikwangala, amadiini ag’obulimba tegalina mugaso gwonna. Ate era n’ekisinga obubi, ga bulabe nnyo.
3 Kikulu okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima. Abantu bangi balowooza nti amadiini gonna gasanyusa Katonda, naye Baibuli teyigiriza bw’etyo. Ate era tekimala omuntu okugamba obugambi nti Mukristaayo. Yesu yagamba: “Buli muntu aŋŋamba nti mukama wange, mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala.” N’olwekyo, okusobola okusiimibwa Katonda, tuteekwa okumanya ky’ayagala era ne tukikola. Abo abatakola Katonda by’ayagala, Yesu yabayita “abakola eby’obujeemu.” (4. Makulu ki agali mu bigambo bya Yesu ebikwata ku makubo abiri, era buli limu lituusa wa?
4 Yakuwa ayagala abantu bonna abali ku nsi okufuna obulamu obutaggwaawo. Kyokka, okusobola okufuna obulamu obwo mu Lusuku lwa Katonda, tulina okusinza Katonda mu ngeri entuufu era n’okweyisa nga bw’ayagala. Eky’ennaku, abantu bangi ekyo tebaagala kukikola. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti: “Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi’ n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” (Matayo 7:13, 14) Eddiini ey’amazima esobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo. Kyokka, yo eddiini ey’obulimba ebatwala mu kuzikirira. Yakuwa tayagala muntu yenna kuzikirira, era eyo ye nsonga lwaki awa abantu bonna akakisa okuyiga ebimukwatako. (2 Peetero 3:9) N’olwekyo, engeri gye tusinzaamu Katonda esobola okutuleetera okufuna obulamu obutaggwaawo oba okubufiirwa.
ENGERI Y’OKWAWULAWO EDDIINI EY’AMAZIMA
5. Abo abali mu ddiini ey’amazima tubategeerera ku ki?
5 Ekkubo ‘erituusa mu bulamu’ tuyinza kulitegeerera ku ki? Yesu yagamba nti eddiini ey’amazima yandibadde Matayo 7:16, 17) Mu ngeri endala, abo abali mu ddiini ey’amazima twandibategeeredde ku ebyo bye bayigiriza ne ku nneeyisa zaabwe. Wadde tebatuukiridde era nga bakola ensobi, okutwalira awamu, abasinza ab’amazima bafuba okukola Katonda by’ayagala. Ka tulabe ebintu mukaaga ebiyinza okutuyamba okutegeera abo abali mu ddiini ey’amazima.
etegeererwa ku ngeri abo abagirimu gye beeyisaamu. Yagamba nti: “Mulibategeerera ku bibala byabwe.” Era n’agattako nti: “Buli muti omulungi, gubala ebibala ebirungi.” (6, 7. Abaweereza ba Katonda batwala batya Baibuli, era Yesu yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno?
6 Abaweereza ba Katonda bye bayigiriza babyesigamya ku Baibuli. Baibuli egamba: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.” (2 Timoseewo 3:16, 17) Omutume Pawulo yawandiikira Bakristaayo banne bw’ati: “Bwe mwaweebwa ffe ekigambo eky’okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda.” (1 Abassessalonika 2:13) N’olwekyo, ebyo ebiyigirizibwa n’ebyo ebikolebwa mu ddiini ey’amazima tebyesigamizibwa ku ndowooza za bantu oba ku bulombolombo. Byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, Baibuli.
7 Yesu Kristo yassaawo ekyokulabirako ekirungi nga yeesigamya by’ayigiriza ku Kigambo kya Katonda. Bwe yali ng’asaba Kitaawe ow’omu ggulu, yagamba: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:17) Yesu yali akkiririza mu Kigambo kya Katonda era buli kye yayigiriza kyali kituukagana bulungi nakyo. Yagambanga nti: “Kyawandiikibwa.” (Matayo 4:4, 7, 10) Oluvannyuma n’alyoka akijuliza. Mu ngeri y’emu leero, abantu ba Katonda tebayigiriza ndowooza zaabwe. Bakkiriza nti Baibuli Kigambo kya Katonda, era bye bayigiriza byonna babyesigamya ku ekyo kye kigamba.
8. Kiki ekizingirwa mu kusinza Yakuwa?
Matayo 4:10) N’olwekyo, abaweereza ba Katonda basinza Yakuwa yekka. Okusinza kuno kuzingiramu okutegeeza abantu erinnya lya Katonda ow’amazima era n’ekyo ky’ali. Zabbuli 83:18 lugamba: “Ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” Yesu yassaawo ekyokulabirako mu kuyamba abantu okutegeera erinnya lya Katonda, era kino kirabikira mu bigambo bye yayogera ng’asaba nti: “Njolesezza erinnya lyo [eri] abantu be wampa okubaggya mu nsi.” (Yokaana 17:6) Mu ngeri y’emu leero, abasinza ab’amazima bayigiriza abalala erinnya lya Katonda, ebigendererwa bye n’engeri ze.
8 Abo abali mu ddiini ey’amazima basinza Yakuwa yekka era bamanyisa erinnya lye. Yesu yagamba: “Osinzanga Mukama Katonda wo, era omuweerezanga yekka.” (9, 10. Mu ngeri ki Abakristaayo ab’amazima gye balagamu bannaabwe okwagala?
9 Abantu ba Katonda balagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala. Yesu yagamba: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Abakristaayo abaasooka baalina okwagala ng’okwo. Okwagala okwo kwe kuleetera abantu obutasosola balala olwa langi yaabwe oba eggwanga era kwe kubaleetera okubeera n’oluganda olwa nnamaddala. (Abakkolosaayi 3:14) Abo abali mu ddiini ey’obulimba tebalina kwagala ng’okwo. Ekyo tukitegeerera ku ki? Battiŋŋana olw’okuba si ba ggwanga limu. Abakristaayo ab’amazima tebeenyigira mu ntalo okutta Bakristaayo bannaabwe oba abantu abalala. Baibuli egamba: “Abaana ba Katonda n’abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we. . . . Tulina okwagalananga; si nga Kayini bwe yali ow’omubi n’atta muganda we.”—1 Yokaana 3:10-12; 4:20, 21.
10 Kya lwatu, ng’oggyeko okwewala okutta abantu abalala, okwagala okwa nnamaddala kuzingiramu ebintu ebirala bingi. Abakristaayo ab’amazima bakozesa ebiseera byabwe, Abebbulaniya 10:24, 25) Bayambagana mu biseera ebizibu era bayisa bulungi abantu abalala. Mu butuufu, bagoberera okubuulira kwa Baibuli okugamba: “Tubakolerenga obulungi bonna.”—Abaggalatiya 6:10.
amaanyi n’ebintu byabwe okuyamba n’okuzzaamu bannaabwe amaanyi. (11. Lwaki kikulu okukkiriza Yesu Kristo ng’oyo Katonda gw’akozesa okutulokola?
11 Abakristaayo ab’amazima bakkiriza nti Yesu Kristo Katonda gw’akozesa okutulokola. Baibuli egamba: “Tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w’eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.” (Ebikolwa 4:12) Nga bwe twalaba mu Ssuula 5, Yesu yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abantu abawulize. (Matayo 20:28) Ate era, Yesu, Katonda gw’alonze okubeera Kabaka w’Obwakabaka obw’omu ggulu obujja okufuga ensi yonna. Era Katonda ayagala tugondere Yesu era tugoberere ebyo bye yayigiriza bwe tuba ab’okufuna obulamu obutaggwaawo. Eyo ye nsonga lwaki Baibuli egamba: “Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.”—Yokaana 3:36.
12. Kiki ekizingirwa mu butaba ba nsi?
12 Abasinza ab’amazima si ba nsi. Bwe yali ng’awozesebwa mu maaso ga Piraato, omufuzi Omuruumi Yesu yagamba: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yokaana 18:36) Ka babe mu nsi ki, abagoberezi ba Yesu ab’amazima bali wansi w’Obwakabaka bwe obw’omu ggulu era eyo ye nsonga lwaki tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi bw’ensi eno. Tebeenyigira mu ntalo oba obukuubagano bwayo. Kyokka, abasinza ba Yakuwa tebalina gwe bagaana kwenyigira mu bya bufuzi, kukuba kalulu oba kwesimbawo. Wadde nga tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, bakwata amateeka. Lwaki? Kubanga Ekigambo kya Katonda kibalagira ‘okuwulira abakulu abafuga.’ (Abaruumi 13:1) Singa gavumenti ebalagira okukola ebintu ebikontana n’emisingi gya Katonda, abasinza ab’amazima bagoberera ekyokulabirako ky’abatume, abaagamba nti: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.”—Ebikolwa 5:29; Makko 12:17.
13. Abagoberezi ba Yesu ab’amazima batwala batya Obwakabaka bwa Katonda, era ekyo kibaleetera kukola ki?
13 Abagoberezi ba Yesu ab’amazima babuulira abantu nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu byabwe. Yesu yalagula: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu Matayo 24:14, NW) Mu kifo ky’okukubiriza abantu okulowooza nti abafuzi b’ensi be bajja okumalawo ebizibu byabwe, abagoberezi ba Yesu Kristo ab’amazima babuulira abantu nti Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu byabwe. (Zabbuli 146:3) Yesu yatuyigiriza okusaba gavumenti eyo ennungi ennyo ejje bwe yagamba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Ekigambo kya Katonda kyalagula nti Obwakabaka buno obw’omu ggulu “bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, [obuliwo kati] era bunaabeereranga emirembe gyonna.”—Danyeri 2:44.
okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (14. Olowooza ddiini ki etuukiriza ebisaanyizo byonna ebitusobozesa okwawulawo eddiini ey’amazima?
14 Okusinziira ku ebyo bye tumaze okwekenneenya, weebuuze: ‘Ddiini ki eyeesigamya enjigiriza zaayo ku Baibuli era emanyisa abantu erinnya lya Katonda? Ddiini ki eyoleka okwagala okwa nnamaddala, ekkiririza mu Yesu, etali kitundu kya nsi era ebuulira nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu? Mu ddiini zonna eziri mu nsi, ddiini ki ekola ebintu ebyo byonna?’ Obukakafu obuliwo bulaga nti be Bajulirwa ba Yakuwa bokka.—Isaaya 43:10-12.
KIKI KY’ONOOKOLA?
15. Kiki ekirala Katonda ky’ayagala tukole ng’oggyeko okukkiriza obukkiriza nti waali?
15 Okusobola okusanyusa Katonda, tekimala kukkiriza bukkiriza nti waali. Mu butuufu, Baibuli egamba nti ne balubaale bakkiriza nti Katonda waali. (Yakobo 2:19) Kyokka, tebakola by’ayagala era tabasiima. Okusobola okusiimibwa Katonda, tetulina kukoma ku kukkiriza bukkiriza nti waali naye era tulina n’okukola by’ayagala. Ate era tulina okwekutula ku ddiini ez’obulimba ne tunywerera ku ddiini ey’amazima.
16. Kiki kye tulina okukola ku bikwata ku ddiini ez’obulimba?
2 Abakkolinso 6:17; Isaaya 52:11) N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima beewala ekintu kyonna ekirina akakwate n’okusinza okw’obulimba.
16 Omutume Pawulo yagamba nti tulina okwewala eddiini ez’obulimba. Yagamba bw’ati: “Muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; nange ndibasembeza.” (17, 18. “Babulooni Ekinene” kye ki, era lwaki osaanidde ‘okukifulumamu’ mu bwangu ddala?
17 Baibuli ekyoleka bulungi nti amadiini ag’obulimba gonna kitundu kya “Babulooni Ekinene.” * (Okubikkulirwa 17:5) Erinnya eryo litujjukiza ekibuga Babulooni eky’edda, eddiini ez’obulimba gye zaatandikira oluvannyuma lw’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa. Enjigiriza nnyingi awamu n’ebintu ebirala ebikolebwa mu ddiini ez’obulimba byasibuka mu Babulooni eky’edda. Ng’ekyokulabirako, Ababulooni baasinzanga Tiriniti oba bakatonda basatu mu omu. Leero, enjigiriza enkulu mu ddiini nnyingi, y’eyo eya Tiriniti. Kyokka Baibuli eyigiriza nti waliwo Katonda omu yekka ow’amazima, Yakuwa, era nti Yesu Kristo ye Mwana we. (Yokaana 17:3) Ababulooni era baali bakkiriza nti omuntu alina emmeeme ewonawo ng’afudde era nti esobola okubonyaabonyezebwa. Leero amadiini mangi gayigiriza nti emmeeme tefa oba nti omwoyo gusobola okubonyaabonyezebwa mu muliro.
18 Okuva enzikiriza ezaali mu Babulooni eky’edda bwe zaasaasaanira mu bitundu bingi eby’ensi, kiba kituukirawo amadiini ag’obulimba okugayita Babulooni Ekinene. Era Katonda yalagula nti amadiini ag’obulimba ago gajja kuzikirizibwa mbagirawo. (Okubikkulirwa 18:8) Olaba ensonga lwaki kikulu okwekutula ku Babulooni Ekinene? Yakuwa Katonda ayagala ‘okifulumemu’ mangu ddala nga bwe kisoboka.—Okubikkulirwa 18:4.
19. Kiki ky’onoofuna bw’onooweereza Yakuwa?
Makko 10:28-30) Oboolyawo oluvannyuma lw’ekiseera, abo abaakwabulira olw’enzikkiriza zo, bajja kutegeera ekyo Baibuli ky’eyigiriza nabo batandike okusinza Yakuwa.
19 Olw’okuba osazeewo okwekutula ku ddiini ez’obulimba, abamu bayinza okukwabulira. Kyokka, singa oweereza Yakuwa ng’oli wamu n’abantu be, ojja kufuna emikwano emirala mingi n’okusinga ku egyo gye walina. Okufaananako abayigirizwa ba Yesu abaaleka ebintu bingi okusobola okumugoberera, naawe ojja kufuna baganda bo ne bannyoko bangi mu by’omwoyo. Ojja kufuuka kitundu ky’amaka ag’ensi yonna agalimu obukadde n’obukadde bw’Abakristaayo ab’amazima abajja okukulaga okwagala okwa nnamaddala. Ate era ojja kufuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo ‘mu nteekateeka y’ebintu ejja.’ (20. Ssuubi ki ery’omu biseera eby’omu maaso abo abali mu ddiini ey’amazima lye balina?
20 Baibuli eyigiriza nti Katonda ali kumpi okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi era nti mu kifo kyayo, azzeewo ensi empya ey’obutuukirivu efugibwa Obwakabaka bwe. (2 Peetero 3:9, 13) Ensi eyo ng’ejja kuba nnungi nnyo! Ate era mu nsi eyo empya ey’obutuukirivu mujja kubaamu eddiini emu yokka ey’amazima. Tekyandibadde kya magezi okubaako ky’okolawo kati osobole okwegatta ku kusinza okw’amazima?
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 17 Okumanya ensonga endala lwaki Babulooni Ekinene kikiikirira obwakabaka bw’amadiini ag’obulimba, laba ebiri ku lupapula 219-20.
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
▪ Waliwo eddiini emu yokka ey’amazima.—Matayo 7:13, 14.
▪ Eddiini ey’amazima esobola okutegeererwa ku njigiriza zaayo ne by’ekola.—Matayo 7:16, 17.
▪ Abajulirwa ba Yakuwa bali mu ddiini Katonda gy’asiima.—Isaaya 43:10.
[Ebibuuzo]
Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 147]
ABO ABASINZA KATONDA OW’AMAZIMA
▪ bye bayigiriza babyesigamya ku Baibuli
▪ basinza Yakuwa yekka era bamanyisa erinnya lye
▪ balagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala
▪ bakkiriza nti Yesu Katonda gw’akozesa okutulokola
▪ si ba nsi
▪ babuulira nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 150]
Bw’oweereza Yakuwa awamu n’abantu be, ojja kufuna emikwano emirala mingi okusinga egyo gy’onooba ofiiriddwa