Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okutegeera “Babulooni Ekinene”

Okutegeera “Babulooni Ekinene”

Okutegeera “Babulooni Ekinene”

EKITABO ky’Okubikkulirwa kirimu ebigambo ebirina amakulu ag’akabonero. (Okubikkulirwa 1:1) Ng’ekyokulabirako, kyogera ku mukazi alina erinnya “Babulooni Ekinene” ku kyenyi kye. Omukazi ono agambibwa okuba ng’atudde ku “bibiina n’amawanga.” (Okubikkulirwa 17:1, 5, 15) Okuva bwe wataliiwo mukazi ayinza kukola ekyo, Babulooni Ekinene kiteekwa okuba nga kya kabonero. Kati olwo, omwenzi ono ow’akabonero akiikirira ki?

Mu Okubikkulirwa 17:18, omukazi y’omu ow’akabonero ayogerwako nga “[e]kibuga ekinene ekirina obwakabaka ku bakabaka b’ensi.” Ekigambo ‘ekibuga’ kitegeeza ekibiina ky’abantu ekitegeke obulungi. Okuva ‘ekibuga ekinene’ kino bwe kirina obuyinza ku “bakabaka b’ensi,” omukazi ayitibwa Babulooni Ekinene ateekwa okuba ekibiina eky’amaanyi ennyo eky’ensi yonna. N’olwekyo, kituukirawo okukiyita obwakabaka obw’ensi yonna. Bwakabaka bwa kika ki? Obwakabaka obw’eddiini. Weetegereze engeri ebyawandiikibwa ebimu ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa gye bitusobozesa okutegeera kino.

Obwakabaka buyinza okuba obw’eby’obufuzi, obw’eby’obusuubuzi oba obw’eby’eddiini. Omukazi ayitibwa Babulooni Ekinene si bwakabaka bwa bya bufuzi kubanga Ekigambo kya Katonda kigamba nti “bakabaka b’ensi,” oba bannabyabufuzi, ‘beenda’ naye. Obwenzi bwe, bwoleka omukago gw’akoze n’abafuzi b’ensi eno era kino kiraga ensonga lwaki ayitibwa “omwenzi omukulu.”​—Okubikkulirwa 17:1, 2; Yakobo 4:4.

Babulooni Ekinene tekisobola kuba bwakabaka bwa bya busuubuzi kubanga “abatunzi,” abakiikirira enteekateeka y’eby’obusuubuzi, bajja kukuba ebiwoobe nga kizikirizibwa. Mu butuufu, bakabaka b’ensi n’abatunzi boogerwako ng’abatunuulira Babulooni Ekinene nga bali “wala.” (Okubikkulirwa 18:3, 9, 10, 15-17) N’olwekyo, kituukirawo okugamba nti Babulooni Ekinene si bwakabaka bwa bya bufuzi oba bwa bya busuubuzi wabula bwa bya ddiini.

Ekirala ekiraga nti Babulooni Ekinene bwakabaka bwa ddiini kye kyawandiikibwa ekigamba nti abuzaabuza amawanga gonna ‘n’obulogo’ bwe. (Okubikkulirwa 18:23) Okuva obulogo obw’engeri yonna bwe bukubirizibwa emyoyo emibi, tekyewuunyisa nti Baibuli eyita Babulooni Ekinene “ekisulo kya balubaale.” (Okubikkulirwa 18:2; Ekyamateeka 18:10-12) Obwakabaka buno era bwogerwako ng’obuziyiza eddiini ey’amazima era obuyigganya “bannabbi n’abatukuvu.” (Okubikkulirwa 18:24) Mu butuufu, Babulooni Ekinene kikyayira ddala eddiini ey’amazima ne kituuka n’okuyigganya era n’okutta “abajulirwa ba Yesu.” (Okubikkulirwa 17:6) N’olwekyo, omukazi ono ayitibwa Babulooni Ekinene akiikirira obwakabaka bw’eddiini ez’obulimba eziri mu nsi yonna, eziwakanya Yakuwa Katonda.