Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
Essuula ey’Ekkumi n’Omusanvu
Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
Lwaki tusaanidde okusaba Katonda?
Kiki kye tuteekwa okukola Katonda okuwulira okusaba kwaffe?
Katonda addamu atya okusaba kwaffe?
1, 2. Lwaki tusaanidde okutwala okusaba ng’enkizo ey’ekitalo, era lwaki kitwetaagisa okumanya Baibuli ky’eyigiriza ku kusaba?
ENSI ntono nnyo bw’ogigeraageranya ku butonde bwonna. Mu butuufu, eri Yakuwa, “amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa.” (Zabbuli 115:15; Isaaya 40:15) Kyokka, Baibuli egamba: “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabi[ri]ra, bonna abamukaabi[ri]ra n’amazima. Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; era naawuliranga okukaaba kwabwe.” (Zabbuli 145:18, 19) Ekyo kirowoozeko! Omutonzi w’ebintu byonna ali kumpi naffe era atuwulira bwe ‘tumukowoola mu mazima.’ Nga tulina enkizo ey’ekitalo okutuukirira Katonda nga tuyitira mu kusaba!
2 Kyokka, bwe tuba twagala Yakuwa okuwulira okusaba kwaffe, tuteekwa okumusaba mu ngeri gy’ayagala. Okusobola okumusaba mu ngeri gy’ayagala tusaanidde okutegeera obulungi Baibuli ky’eyigiriza ku kusaba. Kikulu nnyo ffe okumanya Ebyawandiikibwa kye byogera ku nsonga eno, olw’okuba okusaba kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa.
LWAKI TUSAANIDDE OKUSABA YAKUWA?
3. Ensonga emu enkulu lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa y’eruwa?
3 Ensonga emu enkulu lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa Abafiripi 4:6, 7) Mazima ddala tetwandyagadde kusuula muguluka nteekateeka ennungi ennyo bw’etyo Omufuzi w’Obutonde Bwonna gy’atukoledde!
eri nti ye kennyini atukubiriza okumusaba. Ekigambo kye kitukubiriza nti: “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna, naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayirira awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N’emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.” (4. Mu ngeri ki okusaba Yakuwa obutayosa gye kinyweza enkolagana yaffe naye?
4 Ensonga endala lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa obutayosa eri nti bwe tusaba tunyweza enkolagana yaffe naye. Ab’omukwano aba nnamaddala teboogeraganya mu kiseera ekyo kyokka ng’omu alina kye yeetaaga okuva eri munne. Wabula, buli omu aba afaayo okumanya ebikwata ku munne, era omukwano gwabwe gwongera okunywera nga buli omu abuulira munne ebimuli ku mutima. Mu mbeera ezimu, bwe kityo bwe kiri ku bikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda. Akatabo kano kakuyambye okuyiga ebintu bingi Baibuli by’eyigiriza ku Yakuwa, engeri ze, Yakobo 4:8.
n’ebigendererwa bye. Oyize nti muntu wa ddala. Ng’oyitira mu kusaba, osobola okutegeeza Kitaawo ow’omu ggulu ebikuli ku mutima. Bw’osaba, weeyongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa.—BINTU KI BYE TUTEEKWA OKUTUUKIRIZA?
5. Kiki ekiraga nti Yakuwa tawuliriza kusaba kwonna?
5 Yakuwa awuliriza okusaba kwonna? Lowooza ku ekyo kye yagamba Abaisiraeri abeewaggula mu biseera bya Isaaya: “Bwe munaasabanga ebigambo ebingi, siiwulirenga: emikono gyammwe gijjudde omusaayi.” (Isaaya 1:15) N’olwekyo, ebintu ebimu bye tukola biyinza okuviirako Katonda obutawuliriza kusaba kwaffe. Katonda okusobola okuwuliriza okusaba kwaffe, tulina okutuukiriza by’atwetaagisa.
6. Kintu ki ekikulu kye tulina okuba nakyo Katonda okusobola okuwulira okusaba kwaffe, era kiki ekiraga nti tukirina?
6 Ekintu ekimu ekikulu ekyetaagisa kwe kuba n’okukkiriza. (Makko 11:24) Omutume Pawulo yawandiika: “Awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa, kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abebbulaniya 11:6) Okubeera n’okukkiriza okwa nnamaddala si kwe kumanya obumanya nti Katonda gy’ali era nti awuliriza era n’addamu okusaba. Okukkiriza kulina okweyolekera mu bikolwa byaffe. Engeri gye tweyisaamu buli lunaku erina okwoleka nti tulina okukkiriza.—Yakobo 2:26.
7. (a) Lwaki tusaanidde okussaamu Yakuwa ekitiibwa nga tumutuukirira mu kusaba? (b) Bwe tuba tusaba Katonda, tusobola tutya okwoleka obuwombeefu n’obwesimbu?
7 Yakuwa era ayagala abo abamutuukirira mu kusaba okubeera abawombeefu era abeesimbu. Ddala, tetusaanidde kwewombeeka nga twogera ne Yakuwa? Abantu bwe bafuna akakisa okwogerako ne kabaka oba n’omukulembeze omulala, boogera naye mu ngeri emuwa ekitiibwa nga bakimanyi nti ali mu kifo kya waggulu. Kati olwo, Zabbuli 138:6) Mu butuufu, ye “Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.” (Olubereberye 17:1) Bwe tuba tusaba Katonda, engeri gye tusabamu esaanidde okulaga nti tumanyi nti tuli ba wansi ku ye. Obuwombeefu ng’obwo bujja kutukubiriza okusaba okuva ku ntobo y’omutima gwaffe, nga twewala okuddiŋŋana ebigambo.—Matayo 6:7, 8.
tetwandiwadde Yakuwa ekitiibwa eky’amaanyi n’okusingawo nga tumutuukirira mu kusaba? (8. Tusobola tutya okukolera ku ekyo kye tusaba?
8 Ekintu ekirala Katonda ky’atwetaagisa okusobola okuwulira okusaba kwaffe, kwe kukolera ku bye tusaba. Yakuwa atusuubira okukolerera kye tusaba. Ng’ekyokulabirako, bwe tusaba nti ‘Otuwe emmere yaffe eya leero,’ tuba tulina okunyiikira okukola ennyo. (Matayo 6:11; 2 Abasessalonika 3:10) Bwe tusaba obuyambi okuvvuunuka obunafu obumu, tulina okwewala embeera yonna eyinza okutuleetera okukemebwa. (Abakkolosaayi 3:5) Ng’oggyeko ebintu bino ebikulu bye tusaanidde okutuukiriza, waliwo ebibuuzo ebikwata ku kusaba bye twetaaga okuddibwamu.
OKUDDAMU EBIBUUZO EBIMU EBIKWATA KU KUSABA
9. Tusaanidde kusaba ani, era nga tuyitira mu ani?
9 Tusaanidde kusaba ani? Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti “Kitaffe ali mu ggulu.” (Matayo 6:9) N’olwekyo, tuteekwa kusaba Yakuwa Katonda yekka. Kyokka, Yakuwa ayagala tutegeere ekifo ky’Omwana we eyazaalibwa omu yekka, Yesu Kristo. Nga bwe twayiga mu Ssuula 5, Yesu yatumibwa ku nsi aweeyo obulamu bwe ng’ekinunulo okusobola okutununula mu kibi n’okufa. (Yokaana 3:16; Abaruumi 5:12) Yalondebwa okuba Kabona Omukulu era Omulamuzi. (Yokaana 5:22; Abebbulaniya 6:20) N’olwekyo, Ebyawandiikibwa bitukubiriza okusaba nga tuyitira mu Yesu. Ye kennyini yagamba: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.” (Yokaana 14:6) N’olwekyo, okusaba kwaffe okusobola okuwulirwa, tuteekwa kusaba Yakuwa yekka nga tuyitira mu Mwana we.
10. Lwaki tewaliiwo ngeri yonna ey’enjawulo gye tulina kubaamu nga tusaba?
10 Waliwo engeri yonna ey’enjawulo gye tulina okubaamu nga tusaba? Nedda. Yakuwa talina ngeri yonna ya njawulo gy’ayagala tubeeremu nga tusaba. Baibuli eraga nti tusobola okusaba nga tuli mu ngeri ez’enjawulo. Tusobola okusaba nga tutudde, nga tukutamizza ku mutwe, nga tufukamidde, oba nga tuyimiridde. (1 Ebyomumirembe 17:16; Nekkemiya 8:6; Danyeri 6:10; Makko 11:25) Ekikulu, si ye ngeri gye tubeeramu, wabula embeera y’omutima ennungi. Bwe tuba tukola emirimu gyaffe, oba nga twolekaganye n’embeera enzibu eba ezzeewo amangu, tuyinza okusaba mu kasirise wonna we tuba tuli. Yakuwa awuliriza okusaba ng’okwo wadde ng’ababa batuliraanye bayinza obutamanya nti tusaba.—Nekkemiya 2:1-6.
11. Bintu ki ebitukwatako bye tusaanidde okusaba?
11 Biki bye tuyinza okuteeka mu kusaba kwaffe? Baibuli egamba bw’eti: “Bwe tusaba ekintu nga [Yakuwa] bw’ayagala, atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) N’olwekyo, tuyinza okusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo Katonda by’ayagala. Yakuwa ayagala tumusabe ebintu ebitukwatako kinnoomu? Awatali kubuusabuusa ayagala! Bw’osaba Yakuwa oba ng’ayogera ne mukwano gwo ow’oku lusegere. Tusobola ‘okutegeeza Yakuwa ebituli ku mitima.’ (Zabbuli 62:8) Tusaanidde okumusaba atuwe obuyambi bw’omwoyo omutukuvu olw’okuba gutuyamba okukola ekituufu. (Lukka 11:13) Ate era tusobola okumusaba atuwe obulagirizi tusobole okusalawo mu ngeri ey’amagezi n’okufuna amaanyi tusobole okwaŋŋanga ebizibu. (Yakobo 1:5) Bwe twonoona, tusaanidde okumusaba atusonyiwe ebibi okusinziira ku ssaddaaka ya Kristo. (Abeefeso 1:3, 7) Kya lwatu, tetusaanidde kusaba ebyo byokka ebitukwatako. Tusaanidde n’okusabira abantu abalala—ab’omu maka gaffe awamu ne basinza bannaffe.—Ebikolwa 12:5; Abakkolosaayi 4:12.
12. Tusobola tutya okukulembeza ebintu ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu mu kusaba kwaffe?
12 Ebintu ebikwata ku Yakuwa Katonda bye tusaanidde okukulembeza mu kusaba kwaffe. Tusaanidde okumutendereza n’okumwebaza olw’ebirungi byonna by’atukolera. (1 Ebyomumirembe 29:10-13) Yesu yatulekera essaala ey’okulabirako eri mu Matayo 6:9-13, era nga mwe yatuyigiririza okusaba nti, erinnya lya Katonda litukuzibwe. Ate era, yatugamba tusabe Obwakabaka bwa Katonda bujje era ne by’ayagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Oluvannyuma lw’okwogera ku bintu ebyo ebikulu ebikwata ku Yakuwa, Yesu yazzaako ebyo ebitukwatako. Mu ngeri y’emu, bwe tukulembeza ebyo ebikwata ku Katonda mu kusaba kwaffe, tuba tulaga nti tetulowooza bikwata ku ffe byokka.
13. Ebyawandiikibwa byogera ki ku buwanvu bw’okusaba okukkirizibwa?
13 Okusaba kwaffe kusaanidde kuba kuwanvu kwenkana wa? Tewaliiwo kipimo kyonna Baibuli ky’etuteerawo ku buwanvu bw’okusaba kwaffe, ka tube nga tusaba ku lwaffe oba nga tukiikirira abalala. Okusaba kuyinza okuba okumpimpi gamba nga tugenda okulya, oba okuwanvu ddala nga tweyabiza Yakuwa. (1 Samwiri 1:12, 15) Kyokka, Yesu yanenya abantu abaali beetwala okuba abatuukirivu, nga basaba essaala empanvu olw’okweraga eri abalala. (Lukka 20:46, 47) Essaala ng’ezo tezisanyusa Yakuwa. Ekikulu kwe kusaba okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwaffe. N’olwekyo, obuwanvu bw’okusaba kwaffe businziira ku ebyo bye tuba twetaaga era n’embeera gye tuba tulimu.
14. Baibuli eba etegeeza ki bw’etukubiriza ‘okusabanga obutayosa,’ era kiki ekituzzaamu amaanyi ku bikwata ku nsonga eno?
14 Tusaanidde kusaba emirundi emeka? Baibuli etukubiriza ‘obutakoowa kusabanga,’ ‘okunyiikiranga okusaba,’ Lukka 18:1; Abaruumi 12:12; 1 Abasessalonika 5:17) Kya lwatu, ebigambo bino tebitegeeza nti buli kiseera tulina okuba nga tusaba Yakuwa. Wabula, Baibuli etukubiriza okusaba obutayosa nga tumwebaza olw’ebirungi by’atukolera, era nga tumusaba okutuwa obulagirizi, okutubudaabuda, n’okutuzzaamu amaanyi. Tetuli basanyufu nnyo okumanya nti Yakuwa talina kkomo lyonna ly’atuteerawo ku buwanvu bw’okusaba kwaffe oba ku mirundi gye tusaanidde okumusaba? Bwe tuba nga ddala tusiima enkizo y’okusaba, tujja kusaba Kitaffe ow’omu ggulu emirundi mingi.
era ‘n’okusabanga obutayosa.’ (15. Lwaki tusaanidde okugamba nti “Amiina” nga tumaze okusaba oba ng’oyo abadde atukulembera mu kusaba amalirizza?
15 Lwaki tusaanidde okugamba nti “Amiina” oluvannyuma lw’okusaba? Ekigambo “amiina” kitegeeza nti “mazima ddala,” oba nti “kibeere bwe kityo.” Mu Byawandiikibwa mulimu ebyokulabirako ebiraga nti kisaana okugamba nti “Amiina” ku buli nkomerero y’okusaba. (1 Ebyomumirembe 16:36; Zabbuli 41:13) Bwe tugamba nti “Amiina” ku nkomerero y’okusaba kwaffe tuba tulaga nti byonna bye tusabye tubisabye mu bwesimbu. Bwe tugamba nti “Amiina” mu kasirise oba mu ddoboozi eriwulikika ng’oyo abadde atukulembera mu kusaba amalirizza, tuba tulaga nti tukkiriziganya ne by’asabye.—1 Abakkolinso 14:16.
ENGERI KATONDA GY’ADDAMU OKUSABA KWAFFE
16. Bukakafu ki bwe tulina ku bikwata ku kusaba?
16 Ddala Yakuwa addamu okusaba? Mazima ddala akuddamu! Tulina kwe tusinziira okuba abakakafu nti Oyo ‘Awulira okusaba’ addamu okusaba kw’obukadde n’obukadde bw’abantu abasaba mu bwesimbu. (Zabbuli 65:2) Yakuwa ayinza okuddamu okusaba kwaffe mu ngeri nnyingi.
17. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Katonda akozesa bamalayika be n’abaweereza be ab’oku nsi okuddamu okusaba kwaffe?
17 Yakuwa akozesa bamalayika be n’abaweereza be ab’oku Abebbulaniya 1:13, 14) Waliwo ebyokulabirako bingi eby’abantu abaasaba Katonda abayambe basobole okutegeera Baibuli, era mu bbanga ttono ne batuukirirwa omu ku baweereza ba Yakuwa. Ebyokulabirako ng’ebyo bikakasa nti bamalayika batuwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. (Okubikkulirwa 14:6) Okusobola okuddamu essaala ze tusaba nga tuli mu bwetaavu, Yakuwa ayinza okukozesa Mukristaayo munnaffe okutuyamba.—Engero 12:25; Yakobo 2:16.
nsi okuddamu okusaba kwaffe. (18. Yakuwa akozesa atya omwoyo gwe omutukuvu n’Ekigambo kye okuddamu okusaba kw’abaweereza be?
2 Abakkolinso 4:7) Emirundi mingi, Yakuwa addamu okusaba kwaffe ng’ayitira mu Baibuli, mw’atuweera obuyambi okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Tuyinza okufuna ebyawandiikibwa ebituyamba, nga tusoma Baibuli n’ebitabo eby’Ekikristaayo, gamba nga kino kyennyini. Okubuulirirwa kwe twetaaga tuyinza okukufuna okuva eri omukadde oba mu ebyo ebyogerwa mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo.—Abaggalatiya 6:1.
18 Yakuwa Katonda era akozesa omwoyo gwe omutukuvu n’Ekigambo kye, Baibuli, okuddamu okusaba kw’abaweereza be. Bwe tumusaba okutuyamba okwaŋŋanga ebigezo, addamu okusaba kwaffe ng’atuwa obulagirizi n’amaanyi okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu. (19. Kiki kye tusaanidde okumanya singa okusaba kwaffe kulabika ng’okutaddibwamu?
19 Yakuwa bw’alabika ng’aluddewo okuddamu okusaba kwaffe, kiba tekitegeeza nti alemeddwa bulemwa okukuddamu. Tusaanidde okukimanya nti Yakuwa addamu okusaba okusinziira ku bigendererwa bye ate era mu kiseera kye ekituufu. Amanyi bulungi ebyetaago byaffe okutusinga era n’engeri y’okubikolako. Emirundi mingi atuleka ne ‘tumusaba’ enfunda n’enfunda. (Lukka 11:5-10) Bwe tunyiikira okusaba kiba kiraga nti bye tusaba tubyetaagira ddala era nti tulina okukkiriza okwa nnamaddala. Ate era, Yakuwa ayinza okuddamu okusaba kwaffe mu ngeri gye tutayinza kutegeererawo mangu. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuddamu okusaba kwaffe nga twolekaganye n’ekizibu ekimu, nga takiggyawo, wabula ng’atuwa amaanyi okusobola okukigumira.—Abafiripi 4:13.
20. Lwaki tusaanidde okukozesa obulungi enkizo ey’ekitalo gye tulina ey’okusaba?
20 Nga tuli basanyufu nnyo okumanya nti Omutonzi w’obutonde bwonna ali kumpi n’abo bonna abamutuukirira mu kusaba! (Zabbuli 145:18) Ka tukozese bulungi enkizo eno ey’ekitalo ey’okusaba. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, Oyo Awulira okusaba.
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
▪ Okusaba Yakuwa obutayosa kituyamba okunyweza enkolagana yaffe naye. —Yakobo 4:8.
▪ Katonda okusobola okuwulira okusaba kwaffe, tusaanidde okuba abawombeefu, abeesimbu, era nga tulina okukkiriza.—Makko 11:24.
▪ Tuteekwa kusaba Yakuwa yekka okuyitira mu Mwana we.—Matayo 6:9; Yokaana 14:6.
▪ Yakuwa Oyo ‘Awulira okusaba,’ akozesa bamalayika be, abaweereza be ab’oku nsi, omwoyo gwe omutukuvu, n’Ekigambo kye okuddamu okusaba kwaffe.—Zabbuli 65:2.
[Ebibuuzo]
[Ebifaanany ebiri ku empapula 165]
‘Oyo eyakola eggulu n’ensi’ mwetegefu okuwulira okusaba kwaffe
[Ebifaanany ebiri ku empapula 171]
Katonda asobola okukuwuliriza buli lw’omusaba
Ekifaananyi ekiri ku lupapula 172, 173]
Ng’addamu okusaba kwaffe, Yakuwa asobola okukozesa Mukristaayo munnaffe okutuyamba